Amawulire
Etteeka ku bisiyaga teryetaagisa
Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu basimbye nakakongo nti etteeka ly’ebisiyaga teryetagisa. Kino kiddiridde ababaka okutandika okukungaanya emikono okuddamu okuyisa etteeka eddala oluvanyuma lw’eryasooka kkooti etaputa ssemateeka okuligoba nti ababaka baali tebawera okuliyisa. Abalwanirizi b’eddembe bano bagamba singa etteeka lino liddamu okuyisibwa mu mbeera gyerilimu,lyakusattirira eddembe ly’obuntu. Omukwanaganya […]
Ba kansala batabuse ku loodimeeya
Waliwo ba kansala mu KCCA abaddukidde mu palamenti nga beemulugunya ku kya loodimeeya obutaba mu ofiisi Nga bakulembeddwaamu kansala Bernard Luyiga, ba kansala bano bategeezezza ng’empereeza y’emirimu mu kibuga bweyesibye olwa loodimeeya obutabaawo Luyiga agambye nti Kati emyezi mukaaga nga tebalina kyebakola ate nga n‘obutabawo […]
Ababaka bakubaganye empawa ku musolo gwa boda
Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akakola ku nsonga z’abakozi ba gavumenti bakubaganye enpawa ku ky’abagoba ba bodaboda okuwa omusolo Ng’alabiseeko mu kakiiko kano, minisita wa gavumenti ez’ebitundu Adolf Mwesigye agambye nti yadde waliwo amaloboozi agasaba nti aba piki basaabye okusasula omusolo kiyinza okukosa emirimu […]
Abe Kasokoso babigudde
Wabaluseewo olutalo oluggya ku ttaka lye Kasokoso kireka Ettaka eryogerwaako liweza acre 292 nga lino aba National Housing bagamba lyaabwe kyokka nga n’abaliriko balumiriza nti lyaabwe Ababaka ba palamenti abatuula ku bakiiko akakola ku by’obuzimbi olwaleero bakitegeddeko nti aba National housing ettaka baaligula okuva ku […]
Abaazimba ku ggaali y’omukka ne wansi w’amasanyalaze bakaaba
Akulira oluvuganya gavumenti mu palamenti avumiridde engeri KCCA gy’esenguddemu abantu abasenga mu luguudo lw’eggaali y’omukka. KCCA ssabbiiti ewedde yatandika okusengula abo bonna abasenga mita 30 okuva ku luguudo lw’eggaali y’omukka era nga bangi balozezza klu bukambwe Wafula Oguttu agamba nti ekikolwa kino ssi kyabuntu bulamu […]
Ebya Mobile mane bigenze mu kkooti
Olutalo lw’okugyako aba Mobile Money omusolo lutuuse mu kkooti. Minisita w’ebyenfuna Maria Kiwanuka akubiddwa mu mbuga z’amateeka lwakutandika kujja musolo ku mobile Money abamuwawabidde kyebagamba nti kimenya mateeka g’ebyenfuna. Joshua Tumwiine nga ono mukugu era yebuzibwako ku by’omusolo anenya Kiwanuka okubinika omusolo guno ogwa 10% […]
Laddu ekubye bana- omu afudde
E sembabule entiisa ebutikidde abatuuze oluvanyuma lwa laddu okukuba omwana n’akalirawo. Bbo 3 batwaliddwa mu ddwaliro nga bali bubi. Omugenzi ategerekese nga Shadrack Ebbo, nga abalumiziddwa kuliko Joshua Muwanguzi ne Maria Keziyah. Maama w’omugenzi Margret Nantongo agamba mutabaniwe yakubiddwa laddu mu nkuba eyabadde efudemba. Omu […]
Ogwe Bundibuggyo guzzeemu
Okuwulira omusango gw’abantu abateberezebwa okulumba nebatta abantu mu bitundu bye Bundibuggyo kukyagenda maaso nga bano bali 52 okuli n’abakulembeze b’obusinga bwe Rwenzululu 6. Okuwulira omusango guno kwali kwayimirizibwa omwezi oguwedde nga abamu ku bavunaanwa baagala kuwolerezebwa bannamateeka baabwe ssaako n’okuwakanya eky’okuvunanaibwa mu kkooti y’amaggye. Omwogezi […]
Gavumenti tannasalawo ku ssabalamuzi
Ofiisi ya ssabawolereza wa gavumenti tenasalawo ku ky’okujulira oluvanyuma lwa kkooti okugaana Benjamin Odoki okuweebwa ekifo ky’obwa ssabalamuzi bw’eggwanga. Ssabawolereza wa gavumenti Peter Nyombi agamba akyekeneneya mbeera olwo kwanasinziira okusalawo eky’okuzzaako. Wabula Nyombi acoomedde omu ku balamuzi Remmy Kasule eyamulangidde obutawabula pulezidenti kimala ku bya […]
KCCA eyagazaaki amasomero g’eddiini- DP
Ekibiina kya DP kitadde ku ninga kitongole kya KCCA kyenyonyoleko lwaki bakyalemedde ebyapa by’amasomero gonna agali ku musingi gw’ediini gebaagala okukulakulanya. KCCA yawandikira amasomero gano gonna nga egasaba ebyapa byaago nga tebanatandika ku nteekateeka z’okukulakulanya amasomero gano. Bwabadde ayogerako eri bannamawulire olunaku olwaleero, ssabawandiisi w’ekibiina […]