Poliisi efafaganye n’abatuuze b’omu ndeeba abaasengulwa okuva mu ggaali y’omukka.
Kiddiridde abantu bano okwekalakaasa nga bakulembeddwaamu omubaka John Ken Lukyamuzi era ng’ono wetwogerera ng’akwatiddwa
Bano babadde balwana lutalo nga ne kkooti eyongezaayo eby’okusengula abantu bano okutuuka nga 12 omwezi guno.
Amyuka omuwandiisi wa kkooti enkulu Flavia Nassuuna y’ayongezzaayo okuwa obudde munnamateeka w’abantu bano obudde okuddamu KCCA ku kwemulugunya
Kiddiridde…
Ab’obuyinza e Masaka bagadde essomero lya St Jude Secondary School.
Ebisulo bibiri byebyayidde nga n’abayizi abawera bazirise nga balabye omuliro guno.
Akulira essomero lino Lukwago Mbaga bakkiriziganyizza okuggala essomero lino okusobozesa okunonyereza okugenda mu maaso
Mbaga agamba nti munaana ku bayizi abasoba mu kkumi abazirise bbo baddusiddwa mu ddwaliro.
Mbaga agambye nti bamaze okulagira abazadde okukima abaana baabwe nga…
Gavumenti mu ggwanga lya Liberia eragidde nti abantu bonna abafa obulwadde bwa Ebola bookyebwe
Kiddiridde abantu abasinga okugaana okwewala abafudde obulwadde buno ekibwongedde okubuna
Mu ggwanga lya Nigeria nno era obulwadde buno butuuse nga waliwo omusawo abufunye
Obulwadde bwa luno bwebwakasinga okuba obubi era nga busse abawera
Benjamin Odoki eby’okuddamu okubeera Ssabalamuzi w’eggwanga abifuuye mu ngombe.
Abalamuzi bana ku bataano mu kkooti etaputa ssemateeka basazeewo nti ono okuddamu okugonomolwako ogufo guno eba nsobi era Kulinyirira ssemateeka.
Abalamuzi bano okuli Solome Barungi Bbosa, Eldad Mwangusha, Lilian Tibatemwa ne Remmy Kasule bonna bakkiriziganyizza nga Mukulu Odoki bweyatuusa dda emyaka 70 egy’okuwumula kale nga tasaana kudda ku…
Poliisi ekedde kulwanagana n’abavubuka abakedde okugumba ku kibumbe ky’obwetwaaze wali ku speke road nga bemulugunya ku bbula ly’emirimu mu ggwanga.
Bano babadde bakutte ebipande ebivumirira gavumenti gyebalumiriza obutabafaako.
Abasoba mu 10 bakwatiddwa nga bano babadde bakaalakaala ne sanduke y’abafu nga bakumye n’ekyooto okukungunbaga
Bino webigyidde nga abavubuka ababiri abaakukusa obubizzi okubuyingiza palamenti okuli Norman Tumuhimbise ne Robert Mayanja…
Bannadiini baweze okwongera okulwanyisa ebisiyaga wadde nga kooti ettaputa ssemateeka yasazeewo nti etteka ery’ebisiyaga lyayisibwa mu bukyaamu.
Abalamuzi 5 nga bakulembeddwa akola nga ssabalamuzi Steven Kavuma, bonna bassiza kimu nti sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga teyalina buyinza kuyisa tteeka kubanga palamenti teyalina babaka bamala.
Abalamuzi era basazeewo nti ekikolwa kya sipiikakyamenya ssemateeka wamu n’amateeka agafuga palamenti.
Omwogezi w’essaza…
Ekitongole kya Kampala capital city authority kisanyizzaawo obuyumba obwazimbibwa ku makubo okuva e e Bakuli okutuuka e Kasubi ku masiro ne ku luguudo lwa Makerere hill road.
Obuyumba obumenyeddwa kuliko amabaala, obuymba bwa chapatti, wamu n’obuyumba obulala.
Ye atekeratekera ekitongole kya KCCA Joel Kiggwe agambye nti kino kikoleddwa okugaziya enguudo zino.
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ategeezezza nga bw'agenda okwebuuza ku kabondo k’ababaka ba NRM ku nsalawo ya kkooti ku tteeka ly’ebisiyaga.
Olunaku lwajjo abalamuzi 5 nga bakulembeddwa akola nga ssabalamuzi Steven Kavuma, bonna bassiza kimu nti sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga teyalina buyinza kuyisa tteeka kubanga palamenti teyalina babaka bamala.
Abalamuzi era basazeewo nti ekikolwa kya sipiika…
Poliisi eyodde abayizi b’amattendekero agawaggulu abasoba mu 30 lwakwekalakaasa nga bagamba ensimbi ezibawolebwa okweyongerayo okusoma zamunyoto.
Bano nga begatira mu kibiina kyaabwe ekibataba mu ggwanga, balumbye ofiisi za minisitule y’ebyenjigiriza nga bagamba engabanya y’ensimbi zino yakwatibwa bubi.
Wano poliisi nga ekulembeddwamu aduumira poliisi ya CPS Dennis Namuwoza webayoledde lwakuletawo kakyankalano ku ofiisi zino
Gavumenti etandise okunonyereza ku bigambibwa nti waliwo abeezibika foomu z’okwewandiisa
Kiddiridde foomu zino okubula ku ssaawa envanyuma nga kati abawandiisa batundantunde
Atwaala enteekateeka y’okuwandiisa abantu gen Aronda Nyakairima agambye nti bakubisa foomu ezimala nga tekisoboka nti ziweddeyo
Ono asabye omuntu yenna gwebaguza foomu okuwaaba mu bwangu ddala
Wabula Nyakairima agambye nti nsalessale w’okuwandiisa akoma nga 11 omwezi guno yadde…