Amawulire

Bukenya awakanyiza ebyokuwebwa akasiimo

Ali Mivule

July 29th, 2014

No comments

Ababaka ba paliyamenti abatuula ku kakiiko akakola ku nsonga z’abakozi ba gavumenti, batabukidde abakungu okuva mu minisitule ekola kunsonga z’abakozi  era nebabalagira okuzaayo ekiwandiiko kyebabadde bareese, ng’entabwe evudde kumivuyo degyisangiddwa mu mirimu gyabwe. Ababaka bano bakulembeddwamu omubaka Florence Kintu ne Betty Nambooze. Ekisinze okutabula ababaka […]

Munna Uganda yessozze oluzzanya oluddirira olwakamalirizo

Ali Mivule

July 29th, 2014

No comments

Okuvaako mu kibuga Glasgow ekya Scotland, ewali emizanyo gy’amawanga agali amatwaale ga Bungereza, munna Uganda omukubi w’ebikonde Mike Sekabembe  ayiseemu okugenda kuluzanya oludako . Ono okuyitamu, kidiridde okuwutula munne okuvva mu gwanga lya Ghana, bwebabade bavuganya mubuzito obwa super heavy weight. Kaakati ono singa asukka […]

Kooti enkulu eyimiriza okugoba abantu ku leerwe

Ali Mivule

July 29th, 2014

No comments

Kooti enkulu e Nakawa eyimiriza ekitongole kya KCCA okugenda mu maaso n’okumenya enyumba z’abantu abazimba mu ttaka lya leerwe. Kino kidiridde abantu bano okwemulugunya eri kooti ngabayita mu banamateeka ba Caleb Alaka and company advocates ngabagamba nti KCCA ebamenya mu bukyamu. Akolanga omuwandiisi wa Kooti […]

poliisi eyodde 100

Ali Mivule

July 29th, 2014

No comments

  E wandegeya poliisi eyodde abantu 100, nga bano kigambibwa nti bebabadde benyigira mu kutigomya ebitundu bye wandegeya kko n’emirirano. Bano baakukunuddwa mu bitundu nga kikoni, Mulago mukadde, Katanga, Makerere n’ebirara. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirano Patrick onyango, ategezezza nti bano baasangidwa n’ebikozesebwa okuli […]

Abakozi ba Air-Uganda bakyaali ku katebe

Ali Mivule

July 29th, 2014

No comments

Abakozi ba kamuni y’enyonyi ya Air Uganda bakujira nga balindamu ennaku 90 okulaba oba gavumenti enaddamu okukiriza kampuni eno okuddamu okukakalabya egyaayo. Abakozi 230 kati bali ku katebe oluvanyuma lw’ekitongole ekikola ku by’embuuka by’enyonyi okufuna alipoota nti kampuni eno yali  tegoberera mateeka g’ambuuka za nyonyi […]

Odoki aluyiseeko nate- omusango gwe gwongezeddwaayo

Ali Mivule

July 29th, 2014

No comments

Okumanya oba eyali ssabalamuzi w’eggwanga  Benjamin Odoki anadda mu ofiisi kukyakandaliridde. Kino kiddiridde Kkooti etaputa ssemateeka okwongezaayo okuwulira okwemulugunya Kw’omubaka wa bavubuka mu bugwanjuba bw’eggwanga Gerald  Karuhanga awakanya Odoki okuddamu okuweebwa omulimu nga ate atuusizza emyaka egiwumula. Okuwulira omusango guno kubadde kusuubirwa olunaku olwaleero wabula […]

Aba Shia Eid bagikutte leero

Ali Mivule

July 29th, 2014

No comments

Nga abayisiraamu abasinga bakyebajagala masala ga Eid, bbo ab’ekiwayi kyabasiraamu abashia okuva e Mayuge Eid eyaabwe bagikuza leero. Omukulembeze waabwe Abdul Karim Muwaya agamba bbo tebaalabye mwezi ku ssande kale nga bbo Eid eyaabwe ya leero. Bano era bagamba nti kikyaam okusibulukuka ng’omwezi tegunnalabikako era […]

Abayizi bayooleddwa lwa kwekalakaasa

Ali Mivule

July 29th, 2014

No comments

Poliisi eyodde abayizi b’ettendekero ly’e Makerere ababadde bajikubye ekimooni nebekalakaasiza mu kibangirizi kya ssemateeka. Bano baagala abakulira ettendekero lino okwongera amaanyi mu mpeereza y’emirimu nga bagamba basasula fiizi nyingi naye nga tebaweerezebwa nga bwekisaanidde. Bano babadde bambadde obujoozi obutekeddwako ebigambo by’ekibiina  kya  Liberation front. Bano […]

Ettofaali Entebbe- obukadde obusoba mu 40 busondeddwa

Ali Mivule

July 25th, 2014

No comments

Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga nate azeemu okukubiriza abazadde okusomesa abaana bawe olwo ebiseera babwe eby’omumaaso bibeera bitangaavu. Katikiro okwongera bino abadde ku somero lya Entebbe  Senior Secondary  school wakati mu kusonda ettafaali. Katkiro agambye nti abaana abayivu ate ngabakurizidwa mu mpiisa enungi bebagenda […]

Uwera yatta bba- Gavumenti

Ali Mivule

July 25th, 2014

No comments

Oludda oluwaabi lusabye  kooti enkulu mu kampala okusingisa omusango gw’ettemu omukyala eyatomera bba n’amutta. Jaqulie Uwera Nsenga yatomera bba n’amutta era ng’oludda oluwaabi lulumiriza nti yakigenderera yadde nga yye avunaanibwa agamba nti teyagenderera. Nga bakulembeddwaamu Suzan Okalany, bannamateeka ba gavumenti bawaddeyo obujulizi obulaga nti Uwera […]