Banka ya DFCU emaze okweddiza banka ya Global Trust
Kiddiridde banka y’eggwanga okulangirira nga bw’eggadde banka eno kubanga ebadde ekola esala era ebadde yakatta obuwumbi 60 bukyanga etandikibwaawo.
Gavana wa banka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti abantu ababadde bakozesa banka eno kati bakusobola okukozesa akawunta zaabwe okuva ssabbiiti ejja nga bakozesa DFCU.
Bbo abalina amabanja mu Global Trust…
Poliisi e Buikwe eriko abasawo b’ekinansi 2 bekutte ku bigambibwa nti baasaddaase omwana.
John Kisawuzi ne Ben Ssekamwa kigambibwa nti nga 14 omwezi guno baawamba Jimmy Luyinda ow’emyaka 17 nga mutabani wa Ssango Luyinda omuvuzi wa bodaboda ku kyaalo Luleega nebamusaddaaka.
Oluvanyuma omulambo gw’omwana ono gwaasuliddwa mu kasiko kumpi n’amaka ga jajjawe gwabadde abeera naye Tereeza Namutebi…
Basatu ku bayizi abakubiddwa laddu e Bushenyi bali mu mbeera mbi nga era ssaala zokka.
Olunaku olw’eggulo abayizi 8 aba Buramba Primary School e Bushenyi- Iskhaka bafiiriddewo oluvanyuma lwokukubwa laddu.
Bbo 17 baatwaliddwa mu ddwaliro lya Kampala International University Teaching Hospital okwabadde n’omusomesa waabwe nga bali bubi kati 3 kubano bali ku ssaala yenyini.
Okusinziira ku akulira essomero…
Abayimbi , abakulu mu gavumenti, n’abantu abalala balaze omuyimbi Juliana Kanyomozi omukwano bwebeyiye mu bunji ku Kanisa All Saints e Nakasero okusabira mutabani we kati omugenzi Keron Raphael Kabugo.
Okusaba kutandise ku ssaawa 3 ez’okumakya nga era e kanisa ekubyeko bugule. Bwabadde ayogerako eri abakungubazi abazze okumunakuwalirako, Juliana ategezezza nga bweyagumye kubanga Katonda eyamuwa omwana ono…
Laddu esse abayizi munaana ab'essomero lya Burambi primary school.
Essomero lino lisangibwamu disitulikiti ye Ishaka .
RDC we Bushenyi, Hajji Isaac Kawooya agambye nti akabenje kano kabaddewo mu kaseera k'olukuba olutonnye akawungeezi ka leero.
Kawooya wabula agambye nti ekibenyamizza kwekulaba nga essomero lino teririna buuma bukwata laddu
Yye akulira essomero lino, Peace Kyobutungi agambye nti abaana abafudde bategerekese nga…
Abasawo mu ggwanga lya Buyindi baliko omuvubuka w’emyaka 17 gwebakudde amannyo agawerera ddala 232.
Okukola kino abasawo bamaze essaawa musanvu nga balongoosa omuvubuka ono.
Ashik Gavai yatwaliddwa mu ddwaliro ng’oluba lwe lwonna luzimbye nga n’obulumi bw’alimu buzibu era nga kino akibaddeko okumala emyezi 18.
Abasawo bagamba nti kino tekirabikalabika kyokka nga bakitadde ku Muntu okumera amannyo Amangi awalina…
Poliisi esabye ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi okwewala okweyingizi mu nsonga z’okunonyereza ku ttemu eryakolebwa mu bitundu bye Kannungu n’bitundu ebiriranyewo.
Olunaku olw’eggulo ssabaminisita John Patrick Mbabazi yasinzidde mu parliament naalumiirizza ssenkaggale wa poliisi Gen Kale kaihura ,okulagira basajja be okukwata abalonzi be mu bitundu bye Kanungu , poliisi yyo byeyegaana.
Tuwayizaamu n’amyuka omwogezi wa police…
Omuduumizi wa poliisi mu kampala n'emiriraano Andrew Felix Kaweesi alagidde abaddukanya ebibanda ebitunda emotoka mu kampala okukomya omuze gw’okukozesa bakayungiruzi , b’agamba nti badda kubaguzi nebabanyagako ensimbi zaabwe.
Kaweesi agamba nti emisango nkumu gyetuumye mu poliisi ez’enjawulo, ng’abaguzi bawawaabira bakayungirizi ababaguza emotoka , kyokka bwebamala nebadduka n’ensimbi , okukakkana nga bananyini bibanda bawambye motoka zino
Kaweesi alagidde…
Ssabasajja Kabaka awerezza obubaka obukungubagira omugenzi Keron Kabugo mutabani wa Juliana Kanyomozi.
Abutisse Katikkiro Charles Peter Mayiga asaasidde bazadde b'omwana kyokka n'abasaba bagume kuba mukama y'asalawo.
Yye Jjajja w'omwana, Kabugo Misuseera agambye nti wabaddewo okusika omuguwa ku ky'okulwaawo okuziika omwana ono kyokka nga yamaze n'akkiriza asule ennaku bbiri mu maka ge kubanga bakadde be babadde bakolerera yye…
Mu ggwanga lya Somalia Maziga nga waliwo omuyimbi nakinku era omubaka wa palamenti akubiddwa amasasi agamuttiddewo.
Saado Ali Warsame attiddwa abakwatammundu abayise mu kibuga ekikulu Mogadishu nga bawandagaza amasasi.
Tekinnakakasibwa ani akoze obulumbaganyi buno kyokka ng’aba kabinja ka Alshabab beebazze batta abayimbi ne bannabyabufuzi