Poliisi yenyamidde olw’obubenje obufuuse baanabaliwo ku luguudo oluva e masaka okudda e Kampala nga banji obulamu babulese awo.
Kino kiidiridde akabenje k’olunaku olw’eggulo akaagudde ku luguudo lw’e Masaka ne katta abantu 3 n’okulumya 14.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Buganda Philip Mukasa agamba oluguudo luno lukyakolebwa nga era mu biseera by’enkuba luserera nnyo olwo nerufuuka akattiro.
Agamba…
Ssenkagale w’ekibiina kya DP Norbert Mao addusiddwa mu ddwaliro lye Nairobi nga olubuto n’okulumizibwa mu kifuba bimubala embiriizi.
Mao yafunywe okulumizibwa kuno nga ali mu lukungaana olumu wali mu disitulikiti ye Gulu naddusibwa mu ddwaliro lya Lacor gyeyagyiddwa okutwalibwa e Nairobi okwongera okwekebejebwa.
Kati ssabawandiisi w’ekibiina kino Mathius Nsubuga agamba embeera y’omukulembeze waabwe egenda edda mu nteeko.
Abayisiraamu basabiddwa okuzuukuka ekiro basabe mu nnaku zino ekkumi ezisembayo naddala mu nnaku z’ensusuuba
Mu nnaku zino ekkumi ekiro ekitukuvu ekimanyiddwa nga Laitulqadir wekibeererawo era ng’okusinziira ku Quran, buli ayimirira ku musaalo n’asaba Allah we afuna ky’ayagala.
Imam w’omuzikiti wa Bilal e Bwaise Sheikh Muhammad Mayambala agamba nti kadde ka kusaba kisonyiwo.
Omulambo gwa mutabani w’omuyimbi Juliana Kanyomozi tukitegeddeko nti bikyuseemu nga gwakutuuka olunaku lw’enkya
Keron Kabugo yafudde olunaku lwajjo oluvanyuma lw’okuziyira
Enteekateeka efulumiziddwa ab’omumaka eraga nti olwaleero wagenda kubaawo olumbe mu maka ga Juliana e Lungujja n’ebbuga mu maka ga jjajja w’omugenzi olunaku lw’enkya
Ku lw'okusatu, omulambo gwakubeera mu maka ga Juliana E Lungujja, ku lw'okuna gubeera ewa Jjajja…
Eyali omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule ya gavumenti ez’ebitundu John Kashaka ajulidde.
Ng’ayita mu bannamateeka abakulembeddwaamu Nsubuga Mubiru Kashaka aawakanya eky’okusingibwa omusango n’ekibonerezo ekyamuweebwa
Kashaka n’abalala bataano basingisibwa emisango gy’okwezibika ensimbi z’obugaali
Baweebwa ebibonerezo eby’enjawulo nga biva ku kwebaka e Luzira okumala emyezi abiri okutuuka ku myaka 13 ate nga balina n’okuzza ensimbi zino nga tebannaba kuyimbulwa.
Ekibiina ekigatta abagoba ba mmotoka , ab’obugaali n’abo bonna abali mu mulimu gw’entambula y’olukale mu kibuga bawadde KCCA omwezi gumu okutereeza entambula.
Bano batuuzizza olukiiko lwaabwe ku ofiisi z’ekibiina kya COFTU mu kampala mwebalombojjedde ennaku gyebayitamu okukolera mu kibuga.
Akulira ekibiina kya COFTU nga kino kigatta bibiina bya bakozi, Sam Lyomoki agamba nti abantu bangi balemeseddwa ekibuga…
Poliisi e Kalangala ekutte basajja baayo babiri abagambibwa okutta omuntu atalina musango
Bino bibadde ku kyaalo Buswa e Bujumba ku bizinga bye Kalangala.
Owa bodaboda y’asoose okuloopa nti bamubbyeeko piki era poliisi mu kukwata abateberezebwa okubeera ababbi ekubye amasasi mu bbanga okukkakka ng’esse salumaanya.
Aduumira poliisi ye Kalangala, Samuel Mission agamba nti omugenzi etegerekese nga Emanuel Munono, ate…
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti amakubo Buganda mw’ejja ensimbi gakyali mafunda.
Katikkiro okwongera bino abadde mu lukiiko lwa Buganda oluyisiza embalirira y’omwaka gwa 2014/15 ng'eno ya buwumbi 7.
Wabula Katikiro agambye nti kwenyamiza okulaba nga Buganda eyakamala emyaka egyisoba mu 1000, terina makubo galeeta nsimbi gamala songa yetaaga okukola emirimu mingi omuli okulwanyisa obwavu,…
Minisitule y’ebyobulamu eyongedde okunyweeza ensalo za Uganda ne Congo okutangira obulwadde bwa Ebola okutuuka mu Uganda
Atwala ebyobulamu mu bitundu bya wansi mu minisitule y’ebyobulamu, Dr. Anthony Mbonye agamba nti era bamaze okulagira abakulira amalwaliro agali ku nsalo ya Uganda ne Congo okubategeeza amangu ddala nga balina kyebekengedde
Obulwadde bwa Ebola okuva e Congo bwabulabe ddala era…
Omulamuzi awulira omusango gw’ettemu oguvunaanibwa omukyala eyatomera bba n’amutta olwaleero atuuseeko mu maka awali akabenje kano mu maka g’omugenzi e Bugoloobi
Omulamuzi Duncan Gaswaga ng’ali wamu n’abakozi mu kkooti, omwogezi w’amakomera Frank Baine nebannamateeka z’omukyala ono kko n’ab’oludda lw’omusajja abadde agenze kulaba engeria kabenje gyekaliiwo
Ofiisi eyakola ku musnago guno John Bosco Munaku ategeezezza omulamuzi nti omulambop…