Gavumenti esazeewo okukyuusa enteekateeka ya NAADS okussibwa mu minisitule ekola ku byobulimi.
Enteekateeka eno ebadde yetongodde era nga yetwaala mu buli kimu
Minisita w’obulimu Tress Bucyanayandi agamba nti gano geegamu ku makubo gebakutte okubbulula enteekateeka eno obutafa ttoge
Bucyanayandi era atangazizza era amaggye tegajja kuyingira mu nzirukanya ya mirimu nga gakulondoola bulondoozi.
Abamu ku bagoba ba boda boda mu Kampala baweze okusimbira ekkuuli omusolo omujja KCCA gyetegeka okubasolozamu.
Mumusolo oguletebwa KCCA abagoba ba Boda Boda bakusasula emitwalo 25000 buli mwezi eri KCCA eza sticker.
Abamu ku bagoba ba boda boda bagamba nti ensmbi zino yingi nyo ate nga KCCA teyabebuzizako.
Bbo aba kansala mu KCCA bawadde endowooza za njawulo ku…
Minisita akola ku by’obulambuzi mu ggwanga Maria Mutagamba yefudde ku nsonga z’okukyuusa mu luyimba lw’eggwanga
Omwezi oguwedde Mutagamba yalangirira enteekateeka z’okukyusa oluyimba luno okussaamu kyeyayita ebinnonnoggo kyokka nga bangi bakiwakanya
Mutagamba ng’ayogerako eri bannamawulire , agambye nti kati bakutunuulira ngeri yakwagazisaamu abantu oluyimba luno.
Essuubi ly’okutaasa bannayuganda abasalirwa akalabba mu ggwanga lya China lizze lisebengerera
Minisita wa mateeka Kahinda Otafire agambye nti tebalina kyakukola ku mbeera eno.
Ono agamba nti bakyayogereza gavumenti ya China ku kuzza abantu bano ku butaka babonerezebwe wano kyokka nga tekibadde kyangu era eby’okubajjako emisango bbyo bizibu ddala nandiki okuba nga tebisoboka
Asabye ababaka mu palamenti okufuba okulaba…
Omubaka omukyala owe Kibaale Robinah Nabbanja akulukusizza amaziga ng’ategeeza babaka banne byeyayitamu abeekalakaasi bwebamukubye engumi
Nabbanja yakubwa bweyali akkakkanya abasuubuzi b’ebirime abaali beekalakaasa e Kibaale
Omubaka ono olwaleero ayitiddemu palamenti byeyayitamu wakati mu maziga n’asaba abamukuba babonerezebwe
Omubaka wabula ekisinze okumuluma nti bamukuba poliisi etunula nga terina kyeyakola kumutaasa
Abasuubuzi bano baali beekalakaasa nga bawakanya emisolo egibassibwaako.
Eyali omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule ekola ku gavumenti ez’ebitundu John Kashaka asibiddwa emyaka 10 n’ennaku 10.
Ogumuvunaanibwa kwezibika nsimbi za kugula bugaali bumaanyi ga kifuba obwaali obwa ssentebe b’ebyaalo.
Omulamuzi Catherine Mpagi Bamugemereirwe agambye nti Kashaka era tajja kuddamu kuweebwa mulimu mu gavumenti
Kashaka alangiddwa okuzza
Kashaka ne banne abalala bataano beekobaana nebayisa obuwumbi 4 mu kkampuni emanyiddwa nga…
Akulira ettendekero lya Uganda Management Institute Deo Lukoji Bbosa aguddwako emisango gy’okufiiriza ettendekero lino obukadde obusoba mu 200 , bweyekobaan nebane okubulankanya ensimbi z’esomero
Getufunye goole nga ono okukwatibwa bweyewadeyo yekka mu mikono gya police
Kigambibwa nti ababiri bano beewa ssente z’okugula emmotoka, ne ssente z’obusiimo obwenjawulo mungeri eye’ekyeyononero.
Wabula omulamuzi wa kkooti ewozesa abakenuzi Sarah Langa ono…
Agava e mbale gooleka nga essomero elyaakute omuliro abaana basatu nebafiirawmu bwerigadwa.
Abakulira essomero lino elya Mbale comprehensive ss nga bali wamu ne poliisi ,basazewo baligale wiiki namba nga n’okunonyereza bwekukyagenda maaso ku kiki ekyaviiriddeko omuliro guno saako n’okwongera okubudabuda abayizi abaafunye ensisi
Olunaku olw’eggulo ebiwoobe byasanikidde essomero lino oluvanyuma lw’omuliro okukwata ekimu ki bisulo by’abayizi i…
Kampala capital city authority evuddeyo n’amateeka amakakali kyokka nga gano galiko n’emisolo eri abanagamenya.
Okukuba engombe wekitetaagisa kati osasula emitwalo 3 ate okusimba awantu emmotoka n’olwaawo nga tolina ky’okola era osasula emitwalo 3.
Okuwanda mu kibuga osasula emitwalo 3 , okufuuwa sigala mu kifo webatamunyweera nakyo kya mitwalo esatu ate okutikkira ebweru wa paaka omuntu asasula emitwalo…
Akulira abasawo b’ekinnansi Sylvia Namutebi ng’ono amanyiddwa nnyo nga maama fiina alebuukana na gwakweyita na ky’atali.
Waliwo ekibinja ky’abasawo b’ekinansi nga kiri wansi wa Uganda Neddagala Lyayo ekigenz mu palamenti nga kyesamba maama fina era nebawakanya n’ebirowoozo byeyawaayo ku kusaddaaka n’okuwamba abaana.
Bano bakulembeddwaamu Margaret Kyomuhnagi abalumiriza nti maama fina ssiyemukulembeze waabwe