Abasomesa abakolera mu masomero agaddukanyizibwa KCCA bongedde okutabuka nga bataddewo nsalessale wa nnaku 3 okufuna omusaala ssinga bigaana bakussa wansi ennoni.
Kino bakituseeko mu lukiiko lwebatuddemu n’abakulu mu KCCA olunaku lwaleero
Abasomesa bano obutawukanako na basawo bagamba nti tebannafuna misaala kati emyezi esatu ate nga tebalina kunyonyolwa kwonna
Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti bakakafu nti ensonga…
Abatunda emichomo ku makubo nebiribwa ebirala babayimiriza mu kibuga kye Kakiri okumala ebbanga eritali ggere.
Kino kikoleddwa okulaba nti bonna bazooka kuwandiisibwa n’okwekebejjebwa okulaba nti tebafuuka ate ba bulabe eri abantu beebaguza ebintu byaabwe.
Akulembedde ekibinja kyabasawo okuyimiriza abantu bano, Emmanuel Batemyetto agambye nti kibadde kizibunnyo okumanya ani yaani mu kale ng’okwewala ebizibu kuyimiriza bonna babawandiise buto.
Abavubuka…
Alipoota efulumiziddwa eraga nti ku buli bavubi ekkumi b’osanga , bana ku bbo babeera n’obulwadde bwa Mukenenya.
Okunonyereza kuno kukoleddwa ekibiina kya International Organization for Migration, nga kituuse mu disitulikiti mukaaga okuli Apac, Wakiso, Kasese, ne Masaka.
Bangi kyeyolese nti abavubi bano bakimanyi nti siriimu atta kyokka bwebatuuka mu bikolwa ssibwebeyisa
Omu ku banonyereza abakulu Dr. Bernadette Ssebaduka…
Akeediimo k’abasawo mu malwaliro ga KCCA kayingidde olunaku olwokubiri nga era abalwadde bakyakonkomadde awatali basawo babajanjaba.
Kanaluzaana, misaala kulwayo
Wano ku ddwaliro lya Kisenyi abasawo batudde ku bifuji balasa luboozi awatali kufa ku balwadde abasinda era nga bwekyabadde olunaku olw’eggulo abakyala b’embuto bebasinze okubonabona.
E Kawala embeera yeemu ne kuddwaliro lya Kiswa.
Olunaku olw’eggulo aba KCCA basuubizza okusasula emisaala…
Wabaddewo katemba wano ku luguudo lwa industrial area abagoba ba bodaboda bwebatabukidde omukazi agambibwa okubba essimu yamunaabwe oluvanyuma lw’okumutwala mu loogi besanyusemu.
Rashid Tumuhebwa y’atabukidde omukazi ono atategerekese manya ng’amulumiriza okubba essimu ye bweyabadde agenze okunaaba.
Omukazi abadde tasiba zikweya yerwanyeeko okukkakana nga engoye z’omusajja aziyuzizza nga agamba nti ono yamusuubizza okumusasula emitwalo 5 wabula oluvanyuma lw’okwesanyusamu …
Okuwulira omusango gwabo abavunanibwa okulumba ekitundu kye Rwenzori nebatta abawerako kuddamu leero maaso ga ssentebe wa kkooti y’amaggye Maj Gen Levy Karuhanga.
Olunaku olweggulo abantu 132 beebaleteddwa mu kkooti wabula olw’obudde obutamala, 125 bokka bebalabiseeko maaso ga Kkooti y’amagye wabula nga mpaawo musango gwonna gwabasomeddwa.
Bano bonna baasindikiddwa ku alimanda mu komera lye Katojo mu disitulikiti ye …
Abayizi basatu ku ssomero lya comprehensive high school e Mbale bafiiridde mu muliro ogukutte ekisulo ky'abayizi.
Abayizi bano babadde basigadde mu kisulo nga balwadde.
Abafudde kuliko aba siniya esooka babiri n'omulala wa siniya y'okubiri.
Omwogezi wa poliisi mu buvanjuba bw'eggwanga Diana Nandawula agamba nti ekivuddeko omuliro tekinnaba kutegerekeka kyokka ng'okunonyereza kugenda mu maaso.
E Kibaale abasuubuzi b’ebirime bakakkanye ku mubaka omukyala akiikirira disitulikiti eno Robinah Nabbanja nebamukuba nga ekyokutale nga bano babadde bekalakaasa lwa misolo
Agavaayo gooleka nga police bwekozesezza omukka ogubalagala okutaasa omubaka ono kubasuubuzi ababadde bamuttira mu kabuga ke Kakumiro.
Abasuubuzi bano bagamba nti emisolo gyino gyagyibwawo dda gavumenti kale nga tebalaga nsonga lwaki abagyisasula.
Byo eby’entambula bisanyaladde oluvanyuma…
Yisirayiri ezzeemu buto okukuba emizinga mu kitundu kye Gaza yadde nga yeeyamye nga bw’egenda okukomya ennumba zaayo.
Eggwanga lino lyasoose kutegeeza nga bweritagenda kuddamu kulumba palestina gy’erudde ng’esindikikako emizinga ezitiddemu nebassalumanya
Aba Hamas nga bano beebalwaana n’aba yisirayiri wabula bavuddeyo nebategeeza nga kuno bwekwabadde okunika era nga kiteberezebwa nti kyekireese obuzibu.
Ab’obuyinza mu ggwanga lya Palestina gamba nti…
Omubaka wa Pakistan mu Uganda Bonny Katatumba ejjeeyo emisango gy’ettemu gyeyawaaba munnabyabusuubuzi Mukesh Shumuk.
Katatumba yali yawaaba shumuk n’omuntu omulala ategerekese nga Hassan Wandera ng’alumiriza nti bano baalina olukwe olumutta
Katatumba agambye nti pulezidenti Museveni yeeyamusabye okujjayo emisango ateese ne Mukesh nga bali ebweru w’ekkooti
Katatumba agamba nti kino akikoze kubanga akkiriza mu baibuli ate nga eggumiza akalungi…