Amawulire
Bannanyini masomero baddukidde mu palamenti
Ekibiina ekigatta bannanyini masomero g’obwannanyini beekubidde enduulu eri sipiika wa palamenti nga beemulugunya ku misolo egyabassibwaako mu mbalirira y’omwaka guno. Nga bakulembeddwaamu Ssentebe waabwe John Bosco Mujumba , bano bategeezezza ng’omusolo guno bwegugenda okwongera okubanyigiriza n’abazadde ate ng’era guzza emabega ebyenjigiriza Yye omu ku bannanyini […]
Eyatomera bba n’amutta bamulumirizza
Okuwulira omusango gw’ettemu oguvunaanibwa omukyala eyatomera bba n’amutta kutandise Jacquline Nsenga yatomera bba eyali amuggulira oluggi lw’ekikomera. Taata w’omugenzi Kananura Nsengaategeezezza kkooti nti mutabani we yalina obutakkaanya n’omukyala ono era ng’omukyala yatuuka n’okugoba Baganda b’omusajja bonna abaali ewaka Omujulizi omulala abadde Joseph Kananura muganda w’omugenzi […]
Ogwa Chris Mubiru guli mu nkukutu
Okuwulira omusango oguvunaanibwa eyali akulira tiimu ya SC Villa Chris Mubiru kutandise kyokka nga kuli mu nkukutu. Omulamuzi aguli mu mitambo, Lilian Buchana alagidde bannamawulire n’abantu ba bulijjo okufuluma kkooti ng’omusango guno gutandise Mubiru avunaanibwa kusiyaga bavubuka ekitundu ekimenya amateeka ga Uganda. Oludda oluwaabi lugamba […]
Abe Bundibuggyo bakuvunaanibwa mu kkooti y’amaggye
Abantu 112 abaakwatibwa ku bye Bundibuggyo bakuggulwaako misango gya kulya mu nsi yaabwe olukwe Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti mu bano kwekuli katikkiro w’obusinga bwa Rwenzururu ne ba minisita abalala babiri N’ayogerako eri bannamawulire, Enanga agambye nti abantu bano bonna bagenda kuvunaanibwa mu […]
Ababaka abaagobwa mu NRM baluyiseeko
Kkooti ensukkulumu ekkirizza ababaka abana abaagobwa mu kibiina kya NRM okusigala mu palamenti. Kkooti eno esazizzaamu ekiragiro kya kkooti etaputa ssemateeka okubagoba nga kati balina kulinda musango gukolebweeko gwonna. Okusalawo kuno kukoleddwa abalamuzi 7 nga bakulembeddwamu Wilson Ssekokko nebategeeza nga okusaba kw’ababaka bano bwebakulabyemu eggumba […]
Mukomye okukusa abantu- Janat Museveni
Muko mukulembeze w’eggwanga Janat Museveni ayagala amaanyi gongerwe mu kulwanyisa okukukusa abantu okufuuse baana baliwo mu ggwanga. Bwabadde ayogerako eri bannamawulire olwaleero Mukayala Museveni ategezezza nga ekikolwa kino bwekitali kaybugunjufu nga ate kimeya mateeka. Ono awadde eky’okulabirako eky’abaana abakukusibwa okuva e Karamoja okuletebwa ku nguudo […]
Katikkiro wa Rwenzururu akwatiddwa
Agava e Kasese gooleka nga Katikiro w’obusinga bwe’Rwenzululu bwakwatiddwa. Noah Nzagale y’akwatiddwa ku byekuusa ku bulumbaganyi obwakoleddwa e Kasese obwalese abasoba mu 100 nga bafudde. Omu ku balangira mu businga bwe Rwenzululu christpher Kibanzanga akakasiza kino wabula natawa nsonga evudde kukwatibwa kwa […]
Oluyimba lw’eggwanga ssirwakukyuuka- Mbabazi
Oluyimba lw’eggwanga ssirwakukyusibwa Ssabaminista Amama Mbabazi y’akakasizza ababaka mu palamenti ensonga eno bw’ereeteddwa mu palamenti. Kino kikontana n’ebyayogerwa minister akola ku byobulamu Maria Mutagamba agamba nti gavumenti etaddewo obukadde 187 okukola ku kwongera eggono mu luyimba luno. Ensonga eno ereeteddwa omubaka we Bulamogi Kenneth […]
Gavumenti yakunyonyola ku bye Bundibuggyo enkya
Ababaka okuva ku ludda oluvuganya gavumenti bassizza gavumenti ku ninga okunyonyola ku bigenda mu maaso e Bundibuggyo ne Kasese. Abantu abasoba mu kikumi beebakafiira mu bulumbaganyi buno obwakoleddwa nga buva ku njawukana mu mawanga. Omubaka we Kasese omukyala Winnie Kiiza ne minisita akola ku by’okwerinda […]
Ebya Kalungi bizzeemu goozi- Gavumenti ejulidde
Ssabawaabi wa gavumenti assizzaayo okujulira eky’okuyimbula Adam Sulaiman Kalungi Ssabawaabi awakanya ensalawo y’omulamuzi Lameck Mukasa eyajjako Kalungi emisango gy’okutta omuntu mu butanwa Omulamuzi yagamba nti Kalungi yasingisibwa omusango mu bukyaamu kubanga tewaaliwo bujulizi bwonna bulaga nti yeeyatta omubaka Cerinah Nebanda Ssabawaabi wakwanja ensonga kw’asinziira okuwakanya […]