Amawulire
Bundibuggyo ssi birungi- 67 baziikiddwa mu kirindi
Emirambo gy’abamu ku bagambibwa okukola obulumbaganyi e Bundibugyo 67 giziikiddwa mu kirindi . Kino kiddiridde ab’enganda zaabwe okugaana okugiddukira olw’okutya okukwatibwa. Omwogezi w’amaggye g’eggwanga mu bitundu bye Rwenzori Ninsiima Rwemizuma agamba nti balinze abantu okukima emirambo gyaabwe nga tebajja nabo kwekusalawo okubaziika ku ttaka lya […]
Abaakoze obutujju e Bundibuggyo bakusasula- Museveni
Pulezidenti Museveni akakasizza eggwanga nti abaakoze obulumbaganyi e Bundibuggyo bakukolebwaako ng’amateeka bwegalagira. Pulezidenti agambye nti ebitongole ebikuuma ddembe bikola kyonna ekisoboka okulaba nti abantu bano bazuula gyebaddukidde. Bino omukulembeze w’eggwanga abyogedde asisinkanye ababaka ba palamenti okuva mu kibiina kya NRM b’asisinkanidde mu maka ge. Owmogezi […]
Olutalo lwa Muzaata ne Munyagwa lukyakwajja
Ba ma seeka omuva e Kawempe batabukidde meeya Mubaraka Munyagwa nga bagala yetonde olw’edduwa embi gyeyasomera gavumenti. Bano bagamba nti tebayingiridde byabufuzi wabula Munyagwa yeeyayingiridde eddini . Bino olugudde Munyagwa mu matu n’ata akaka n’ategeeza nga Muzaata bw’atumye ba ma seeka bano ng’ate y’asabye bamwetondere
Abaana abakooneddwa emmotoka y’empaka batemeddwaako amagulu
Abaana abana abaakoneddwa emmotoka z’empaka olunaku lwajjo batemeddwaako amagulu. Herman Kasamba ow’emyaka 14, Badri Mawejje 13 Hanifa Nantale ne Rose Naknwagi bakyassiza ku byuuma Abaana bano bamukyala Hadijah Nalwadda ng’ono era yafiiriddwa omwana ow’emyaka ena mu kabenje keekamu Akabenje kano kaagudde zirobwe emmotoka y’empaka bweyalemeredde […]
Abakukusa abantu bavunaaniddwa
Abantu basatu abagambibwa okutwala abantu ebweru u bumenyi bw’amateeka bagguddwaako emisango nebasindikibwa e Luzira Abasatu bano babadde balimba naddala abawala nti bagenda kubafunira emirimu naye nebabatwala mu kukuba obwa malaaya Ruth Kayaga owe Namasuba avunaaniddwa wamu ne Joseph Wamala ng’ono y’akulira kkampuni emanyiddwa nga United […]
RDC akubiddwa amasasi- 90 beebakafa
Omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti ye Bundibuggyo, Pius Mujuzi akubiddwa amasasi agamulese ng’ataawa. Omupoliisi y’amukubye amasasi mu butanwa. Omwogezi w’amaggye mu kitundu kino Ninsiina Rwemizuma akakasizza amawulire gano Rwemizuma agambye nti Mujuzi abadde ayise mu panya abapoliisi gyebabadde beekweese ate ng’alina emmundu era nga balowoozezza […]
Omuliro gukutte ekizimbe kya Avemar
Omuliro gukutte ku kizimbe kya Avemar wano ku street oluvanyuma lwa tulansifooma y’ekizimbe kino okwaabika. Abasuubuzi bakoze ekisoboka okuzikiza omuliro guno nga bakozesa amazzi okutuusa poliisi enzinya mooto lwetuuse neguzikiza. Abamu ku bantu abakolera ku kizimbe kino bagamba nti ekitundu ky’kizimbe kyekikutte kyokka nga ssi […]
Mu Kenya Raila Odinga ategese olukungaana gaggadde
Ab’oludda oluvuganya gavumenti mu ggwanga lya Kenya bateekateeka kukuba lukungaana gaggade okulaga obutali bumativu ku by’okwerinda ebifuuse yegeyege ng’abantu ab’enjawulo bazze battibwa abamukwata mundu. Nga bakulembeddwaamu akulira ekibiina kya CORD nga era yesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga Raila Odinga, bagamba nti mu mwezi gumu gwokka abantu […]
Abe Kibuli bazzeemu leero okusoma
Abayizi b’essomero lya Kibuli secondary school badda leero ku ssomero oluvanyuma lw’omuliro okukwata ekimu ku bisulo byabwe wiiki ewedde. Wiiki ewedde omuliro gwasanyizzaawo ebintu by’abayizi abasoba mu 100 ekyawalirizza abakulira essomero lino okubalagira okugira nga badda ewaka. Akulira essomero lino Ibrahim Matovu agamba embeera esubirwa […]
Obunkenke e Bundibuggyo
Ssabapoliisi w’eggwanga Gen. Kale Kayihura wakusigala nga agumbye mu bugwanjuba bw’eggwanga oluvanyuma lw’obulumbaganyi obwakoleddwa abatamanya ngamba mu bitundu bye Bundibugyo. Olunaku lw’eggulo Kayihura yatuuse mu kitundu kino mu nsisinkano n’abakulira eby’okwerinda nga era amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga Polly Namaye agamba ssenkaggale wakugumba mu […]