Amawulire
Emotoka y’empaka esse Abaana.
E zirobwe mu district ye Luweero emotoka y’empaka ewabye n’etomera abaana mukaaga nga bonna b’amunju emu , basatu nebafiirawo ate abasatu n’ebabuuka n’ebisago eby’amaanyi Omu kubatuuze nga ono yye Sali Mugerwa , atubuulide nti kano akabenje kabadde ku kyalo Mpangati,emotoka bwewabye n’etomera abazukulu […]
Abafude bawezze 61 e kaseese
Webuwungeeredde nga agavva e kaseese gooleka nga omuwendo gwabalumbaganyi abatidwa nga bagezaako okulumba gulinye, nga kakano gutuuse ku bantu 52 okuvva ku 42 webwakeeredde. Ayogerera amagye ga UPDF mukitundu kino Lt Nishima Rwemizhuma atubuulide nti nakati omuyiggo gwabo abeenyigidde mu kikolwa ky’okutta […]
Abasoba mu 50 battidwa e Bundibugyo,kaseese,ne Ntoroko
E Kasese abantu abasoba mu 13 bakakasidwa okuba nga batidwa ,nga bano beebamu kwabo abatidwa abakambwe abaalumbaganye district esatu okuli Kasese , Bungibugyo ne Ntoroko akawuungeezi akayisse. Abagenzi kuliko Jacob Muhindo, nga ono abade muserikale , konne Corporal Tibimanya Grace nga kwogasse […]
Abe Mukono balemedde ku nsonga- gusalwa nga 9th omwezi guno
Omusango gw’abatuuze be Bamutakudde ne Kyampisi abawaaba kkampuni y’aba china guwulirwa nga 9th omwezi guno Abatuuze bano bawaaba aba china beebagamba nti bakuba amayinja Abatuuze bano bagamba nti olw’amayinja gano abakyala bangi bavuddemu embuto, ate nga bangi balwadde n’abalala. Amyuka omuwandiisi wa kkooti enkulu Mary […]
Omuliro ku Kibuli SS- abazadde basabiddwa okukima abaana baabwe
Abazadde abalina abayizi mu senior esooka mu somero lya Kibuli secondary school basabiddwa okukima abaana babwe. Kino kiddiridde omuliro okukwata ekisulo ky’abayizi era ebintu by’abaana 118 n’ebitokomoka. Akulira esomero lino Bruhani Matovu, agambye nti omuliro guno gwandiba nga gwavudde ku balubu eyabadde eyaka eyagudde ku […]
Bbomu ku palamenti mu Somalia
Okubwatuuka okw’amaanyi wamu n’amasasi biwuliddwaako okumpi ne palamenti y’eggwanga lya Somalia ng’ababaka bagenda mu maaso n’okuteseeza eggwanga. Amawulire agavaayo goleka nga bwewaliwo abantu abalumiziddwa mu bulumbaganyi buno, obuteberezebwa okuba nga bukoleddwa oluvanyuma lwa bbomu etegeddwa mu motoka. Gyebuvuddeko banalukalala ba al-Shabab 10 beebafira mu bulumbaganyi […]
Abe Banda basenguddwa
Abantu okuva mu maka agasoba mu 200 e Banda beebakaaba oluvanyuma lwa Kampala Capital City authority okusanyawo amaka gaabwe. Kino kikoleddwa okuzimba paaka omunasimba emmotoka ze Nakawa ezigenda okusengulwa akadde konna Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti bagaala kukendeezaa ku mujjuzo mu kibuga. Wabula […]
Atomedde abantu ayise ku lugwaayu
Abatuuze be Masajja mu gombolola ye Makindye baliko omusajja gwebakubye emiggo egyibuzeeko akatono okutta,oluvanyuma lw’okutomera abantu 3. Omusajja ono atanategerekeka mannya abadde avuga emotoka y’ekika kya Mark 2, kigambibwa nti abantu bano abatomeredde ku luguudo lye Salaama, n’agezaako okudduka kyokka ng’aba aba boda boda nebamusimbako. […]
Abakwatiddwa ku Forest mall tebabadde batujju
Poliisi egamba nti abantu ababiri abakwatiddwa okuva ku Forest Mall tebaabadde batujju. Kigambibwa nti abakwatiddwa abadde mukyala ne mutabani we nga bagenze kukolebwaako. Meheleti Beheran 65 ne mutabani we poliisi egamba nti nzaalwa ze Eritrea. Omwogezi wa poliisi Fred Enanga atugambye nti nga bamaze okwekeneenya […]
Adam Kalungi ayimbuddwa- Talina musango
Eyali muganzi w’omubaka omugenzi Cerina Nebanda ayimbuddwa. Kkooti enkulu mu kampala ng’ekubirizibwa Lameck Mukasa ejjeeko Kalungi emisango egyaali gimusingisiddwa era n’ayimbulwa Omulamuzi agambye nti Kalungi ssi musawo nti yeeyalina okujjanjaba Nebanda ate ng’era yakola kyonna ekisoboka okutaasa obulamu bwe naye nebigaana Mukasa agamba nti akalwaliro […]