Okuwulira omusango gw’ettemu oguvunaanibwa omukyala eyatomera bba n’amutta kutandise
Jacquline Nsenga yatomera bba eyali amuggulira oluggi lw'ekikomera.
Taata w’omugenzi Kananura Nsengaategeezezza kkooti nti mutabani we yalina obutakkaanya n’omukyala ono era ng’omukyala yatuuka n’okugoba Baganda b’omusajja bonna abaali ewaka
Omujulizi omulala abadde Joseph Kananura muganda w’omugenzi ategeezezza nga muganda we bweyamutegeeza nga mukyala we bweyali amwettidde ate mu maka…
Okuwulira omusango oguvunaanibwa eyali akulira tiimu ya SC Villa Chris Mubiru kutandise kyokka nga kuli mu nkukutu.
Omulamuzi aguli mu mitambo, Lilian Buchana alagidde bannamawulire n’abantu ba bulijjo okufuluma kkooti ng’omusango guno gutandise
Mubiru avunaanibwa kusiyaga bavubuka ekitundu ekimenya amateeka ga Uganda.
Oludda oluwaabi lugamba nti mu mwezi gwa December mu mwaka 2009 , Mubiru ono ng’asinziira e…
Abantu 112 abaakwatibwa ku bye Bundibuggyo bakuggulwaako misango gya kulya mu nsi yaabwe olukwe
Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti mu bano kwekuli katikkiro w’obusinga bwa Rwenzururu ne ba minisita abalala babiri
N’ayogerako eri bannamawulire, Enanga agambye nti abantu bano bonna bagenda kuvunaanibwa mu kkooti y’amaggye kubanga baabasanga n’emmundu
Katikkiro w’obusinga Noah Nzaghale akwatiddwa nkya ya leero…
Kkooti ensukkulumu ekkirizza ababaka abana abaagobwa mu kibiina kya NRM okusigala mu palamenti.
Kkooti eno esazizzaamu ekiragiro kya kkooti etaputa ssemateeka okubagoba nga kati balina kulinda musango gukolebweeko gwonna.
Okusalawo kuno kukoleddwa abalamuzi 7 nga bakulembeddwamu Wilson Ssekokko nebategeeza nga okusaba kw’ababaka bano bwebakulabyemu eggumba
Bano era balagidde Kakiiko k’ebyokulonda obutagezaako kutegeka kulonda kwonna kujuza bifo by’ababaka bano.
Nga…
Muko mukulembeze w’eggwanga Janat Museveni ayagala amaanyi gongerwe mu kulwanyisa okukukusa abantu okufuuse baana baliwo mu ggwanga.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire olwaleero Mukayala Museveni ategezezza nga ekikolwa kino bwekitali kaybugunjufu nga ate kimeya mateeka.
Ono awadde eky’okulabirako eky’abaana abakukusibwa okuva e Karamoja okuletebwa ku nguudo ze Kampala okusabiriza ky’agamba nti kino kikosa obwongo bwaabwe n’okukotogera ebiseera byabwe…
Agava e Kasese gooleka nga Katikiro w’obusinga bwe’Rwenzululu bwakwatiddwa.
Noah Nzagale y’akwatiddwa ku byekuusa ku bulumbaganyi obwakoleddwa e Kasese obwalese abasoba mu 100 nga bafudde.
Omu ku balangira mu businga bwe Rwenzululu christpher Kibanzanga akakasiza kino wabula natawa nsonga evudde kukwatibwa kwa Katikiro ono.
Bino webijidde nga abantu 12 kyebajje bakwatibwe mu disitulikiti ye Ntoroko nga bano basangiddwa…
Oluyimba lw’eggwanga ssirwakukyusibwa
Ssabaminista Amama Mbabazi y’akakasizza ababaka mu palamenti ensonga eno bw’ereeteddwa mu palamenti.
Kino kikontana n’ebyayogerwa minister akola ku byobulamu Maria Mutagamba agamba nti gavumenti etaddewo obukadde 187 okukola ku kwongera eggono mu luyimba luno.
Ensonga eno ereeteddwa omubaka we Bulamogi Kenneth Lubogo abadde asaba nti gavumenti etangaaze ku kituufu ekigenda okukolebwa ku luyimba luno.
Mbabazi agambye…
Ababaka okuva ku ludda oluvuganya gavumenti bassizza gavumenti ku ninga okunyonyola ku bigenda mu maaso e Bundibuggyo ne Kasese.
Abantu abasoba mu kikumi beebakafiira mu bulumbaganyi buno obwakoleddwa nga buva ku njawukana mu mawanga.
Omubaka we Kasese omukyala Winnie Kiiza ne minisita akola ku by’okwerinda mu gavumenti y’ekisikirize Kaps Fungaroo beebuzizza lwaki gavumenti esirise yadde okubaako by’etegeeza…
Ssabawaabi wa gavumenti assizzaayo okujulira eky’okuyimbula Adam Sulaiman Kalungi
Ssabawaabi awakanya ensalawo y’omulamuzi Lameck Mukasa eyajjako Kalungi emisango gy’okutta omuntu mu butanwa
Omulamuzi yagamba nti Kalungi yasingisibwa omusango mu bukyaamu kubanga tewaaliwo bujulizi bwonna bulaga nti yeeyatta omubaka Cerinah Nebanda
Ssabawaabi wakwanja ensonga kw’asinziira okuwakanya ebyasalibwaawo kkooti enkulu mu ggwanga.
Abavubuka abakwaatibwa n'embizzi ku palamenti bazzeemu okukwatibwa
Norman Tumuhimbise ne Robert Mayanja bakwatiddwa boogerako eri bannamawulire ku ofiisi z'ekibiina kya FDC mu kampala.
Akulira abavubuka mu FDC Francis Mwijuikye agamba nti ababiri bano babadde banyonyola bannamawulire lwaki baalumba palamenti
Wabula omwogezi wa poliisi kampala nemiriraano Patrick Onyango agamba nti bano bakwatiddwa oluvanyuma lw'okukitegeerako nti babadde bategese okwekalakaasa.
Onyango agamba…