Amawulire
Poliisi ekyusizza mu ba ofiisa abaliwo ng’embizzi ziri ku palamenti
Poliisi esambazze ebigambibwa nti ewummuzizza abakyala bana okua ku palamenti gyebabadde bakuuma lwakubeera mbuto. Abakyala bano okuli Peace Mary, Namubiru Alaisa, Mirembe Rosette ne Christian Nakirya Christian bakyusiddwa awatali kunyonyola kwonna Ababaka mu palamenti basabye dda akulira poliisi Gen Kale Kaihura okunyonyola ku nsonga eno […]
Abasawo abeeranga batulemye okulondoola-gavumenti
Akakiiko k’ebyempuliziganya kakkirizza nga bwekatalina busobozi kulondoola abasawo b’ekinansi abeeranga ku mikutu gy’amawulire. Bw’abadde alabiseko mu maaso g’akakiiko ka palamenti akakola ku kikula ky’abantu , akola nga akulira akakiiko kano Jonas Muhoozi agambye nti bafuna okwemulugunya kungi okuva eri abantu ne poliisi wabula nga mpaawo […]
Akafubo e Makerere- Abasomesa balemedde ku nsonga
Abakulira ettendekero lye Makerere bevumbye akafubo n’abasomesa ku nsako yaabwe ey’ebitundu 70% ezirina okuva mu yunivasite eno wabula nga babadde tebanazifuna. Olukiiko luno lukubiriziddwa amyuka ssenkulu avunanyizibwa ku byenjigiriza Dr. Okello Ogwang n’akulira eby’ensimbi ku ttendekero Prof. Barnabas Niwangwa. Abasomesa b’ettendekero lino nga bayita mu […]
Obulambuzi bwetaaga nkolagana
Ssabasajja kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi agaddewo omwoleso gw’ebyobulambuzi mu lubiri e Mengo, n’obubaka eri Obuganda okukolagana ne gavumenti yawakati okukulakulanya eby’obulambuzi mu Uganda. Bw’abadde ayogerako eri obuganda, ssabasajja Kabaka asiimye abaana bamasomero olw’okujjumbira omwoleso,n’agamba nti kigenda kuyamba emiti emito okumanya by’obuwangawa kko n’ennono […]
Pulezidenti Museveni azzeemu okugugumbula abagaba obuyambi
Omukulembeze we gwanga Yoweri Kaguta Museveni atageezeza nga Uganda kko ne n’amawanga ga Africa gonna okutwalira awamu bwegateetaga buyambi bwabazungu okusobola okukulakulana Pulezidenti okwogera bino abadde mu lukungaana olwetabiddwaamu enzikiriza ez’enjawulo e Munyonyo, nga n’abalwetabyeemu bavudde mu nsi yonna Kakati ono agamba nti Africa erina […]
Abakukusa abantu- abawala bangi baluguddemu
Ababadde bakukusa bannayuganda okubatwaala ebweru okukuba ekyeeyo ate nebabazza mu birala poliisi ebawenja Bano bategerekese nga Yunusu SSemakula n’omulala ategerekeseeko erya Katongole nga baliko omuwala gwebatwaala mu United Arab Emirates nebamusuula eyo era n’atulugunyizibwa bya nsusso Omuwala ono yasobola okudduka gyebaali bamutulugunyiza era bweyatuuse kwekuwaaba […]
Bannayuganda 2 bawanikiddwa ku kalabba
Bannayuganda babiri bawanikiddwa ku kalabba mu ggwanga lya China. Kiddiridde ababiri bano okusingisibwa omusango gw’okukusa enjaga. Omar Ddamulira ne Ham Andrew Ngobi. Omwogezi wa minisitule ekola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga Fred Opolot agamba nti bannayuganda basaanye okwewala ebikolwa nga bino okwewala okugwa […]
Omwanguye amasiro- Katikkiro
Katikiro Wa Buganda Charles Peter Mayiga asinzidde ku masiro gaba ssekabaka e Kasubi n’akubiriza Kampuni ekola omulimo gw’okuzimba amasiro gano okugwanguya ku mirimu gisobole okugweera mu budde. Kino kiddiridde Nalinya w’amasiro gano Namikka okuvaayo neyemulugunya ku ngeri y’akasoobo emirimu gyegibadde gitambulamu. Katikiro ategezezza nga obuganda […]
Omuti ogwatta omuntu gubatutte mu kkooti
Abakulembeze mu disitulikiti ye Wakiso bakubiddwa mu mbuga za mateeka Obuzibu bwonna buvudde ku muti ogwakuba omusajja eyali atambula agage n’afiirawo. Abe Wakiso babawaabye n’ab’ekitongole ekikola ku by’emiti Abawaabye beebamaka g’omugenzi Emmanuel Matovu abagaala obukadde 225 ng’ensimbi zebaakozesa okujjanjaba omuntu waabwe n’okumuziika kko n’obulumi bwebayitamu. […]
Bamusobezzaako kirindi n’afa
Poliisi eri ku muyiggo gw’abasajja kkumi abakkidde omukyala nebamusobyaako ekirindi okutuuka lw’afudde. Abasajja bano omukyala ono baamuwambye ne mukulu we ategerekese nga Jessica Ganyana nebabatwaala mu ssabo olwo nebabakolako ebivve. Bino bibadde ku lusozi lwe Kabulengwa e Nansana mu disitulikiti ye Wakiso. Abawala bano ng’omugenzi […]