Amawulire
Abe Makerere bazzeemu- babanja nsako
Abakozi mu ttendekero lye Makerere bazzeemu okutabuka ku nsako yaabwe Abatwaala ettendekero lino babawadde ennaku ssatu nga babasasudde omwezi gw’okutaano n’omukaaga Bano bamaze okukuutira ab’ettendekero omukuku gw’ebbaluwa nga bagamba nti tebatawaana okuggulawo olusoma olujja nga tebannaba kubasasula nsimbi zebabanja eziweza obuwumbi 4. Omwaka oguwedde ab’ettendekero […]
Eby’okwerinda ku mizikiti
Poliisi yakwongera obukuumi ku mizikiti okulaba nti tegirumbibwa mu biseera by’ekisiibo Akulira ebikwekweto amaze okulagirwa okulaba nti buli muzikiti gukebera abantu era nga n’ebifo byebakungaaniramu okusiibulukuka okukuumibwa. Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti ne poliisi ekola ku nsonga z’obutujju eyiiriddwa ku mizikiti gyonna okwewala […]
Abalumbye Kyegegwa bandiba aba ADF
Poliisi mu disitulikiti ye kyegegwa ekwataganye n’amaggye okwongera okunonyereza ku bigambibwa nti abantu abaakoze obulumbaganyi mu kitundu kino bandiba nga balina akakwate ku bayeekera ba ADF. Wiiki ewedde ekibinja ky’abavubuka nga bambalidde agajambiya n’emmundu baalumbye e kkanisa y’abalokole eya Mungumwema nebatta abantu 2 okwabadde n’omusirikale […]
Ekisiibo ky’abasiraamu kitandika ku Ssande
Kimaze okukakasibwa nti ekisiibo ky’abasiraamu kitandika ku lunaku lwa ssande. Kiddiridde omwezi obutalabikako nga bwekibadde kisuubirwa nga kati teri kubuusabuusa kitandika ku lwa Ssande kubanga lwelunaku olusembayo mu mwezi gwa Shabaan. Akakiiko ka Saudi Arabia akalondoola omwezi keekalangiridde nti ekisiibo kyakutandika ku ssande. Abasiraamu […]
Owa Bodaboda Yeyambulidde Abawambye Pikipiki ye
Omuvuzi wa Bodaboda wano mu Kampala ku shoprite yeyambuddemu engoye nga yekalakaasa oluvanyuma lwa banne okuwamba pikipiki ye lwakutikira basaabaze ku siteegi yaabwe. Omusajja ono atategerekese manya talinze kumutwala ku poliisi olwo neyeyambula olugoye lumu kulumu olwo nakunumba bukunya. Olw’okutya okwesitazza abantu, banne bamuddizza […]
Omukazi Ayombedde Mu Bbaala neyesuula Mu Kidiba
Mu disitulikiti ye Rakai Omukazi o’wemyaka 50 yesudde mu kidiba oluvanyuma lw’oluyombo lweyafunye ne banywi banne mu bbaala . Venerandah Nzaliraki nga mutuuze we Kyampisi asangiddwa nga omulambo gwe guseyeyeza ku mazzi amakya galeero. Beyabadde nabo bagamba nti munnaabwe ono yavudde mu bbaala eno […]
Basatu Bafiiridde Mu Kabenje
Abantu 3 bebakafa oluvanyuma lw’akabenje akagudde ku luguudo lwa Lugogo By-pass. Akabenje kano kavudde ku mmotoka ekika kya RAV 4 UAH 762w ebadde eva e Jinja okusabala ababadde ku gaabwe. Adumira poliisi ya kiira road Denis wanyama ategezezza nga bbo 7 bwebabuuse n’ebisago ebyamanyi […]
Mukyala wa kakoma awakanya eby’okukyusa oluyimba lw’eggwanga
Oluvanyuma lw agavumenti okutegeeza nga bw’egenda okukyuusa mu luyimba lw’eggwanga, ab’amaka g’eyayiiya oluyimba luno bagenda mu kkooti George William kakoma yeeyayiiya oluyimba luno kyokka nga weyafiira ng’akyabanja Kati namwandu we Tereza Kakoma agamba nti beebalina obuyinza ku luyimba luno era nga tebannaba kubebuuzaako nga bagenda […]
DFCU etuuyanye nga kasitoma agibanja
Poliisi yeebulungudde Banka ya DFCU ku kitebe kyaayo ekikulu ku luguudo lwa Jjinja road. Emirimu gisanyaladde nga tekinnaba kutegerekeka kiki ekireese poliisi. Obuzibu buvudde ku kasitoma omu ategerekese nga Geoffrey Amasha eyawaaba banka eno ng’agamba nti yeewola ssente obukadde 82 era n’azisasula. Wabula banka eno […]
Omwoleso gwa bannakyeewa- Gavumenti esiimye byebakola
Gavumenti n’ebibiina by’obwanakyewa bisanye okukolaganira awamu okusobola okuletawo enkulakulana mu ggwanga.. Minisita omubeezi alondoola ebynfuna by’eggwanga Henry Banyenzaki agamba nti ebibiina bino bikola omulimu munene nyo okulondoola enteekateka za gavumenti ekireesewo embalirira enungi eri gavumenti ku pulogulamu zaayo. Bino Banyenzaki abyogeredde ku mwoleso gw’ebibiina by’obwanakyewa […]