Amawulire
Abaana 2 bafiiridde mu muliro
Abaana babiri basirikkidde mu muliro ogukutte enyumba mwebabadde balekeddwa. Enjega eno ebadde Bugembe mu disitulikiti ye Jjinja. Abaana abafudde kuliko ow’emyaka 3 n’omulala ow’emyaka 7. Okusinziira ku ssentebe w’ekitundu kya Wanyama Road Moses Kidaaga ,bakadde b’abaana bano babalese mu nyumba ekiro ate nebalekako akasubbaawa era […]
Eby’okwerinda ku palamenti bikaligiddwa- enkalala zisusse
Eby’okwerinda ku palamenti byongedde okukaligibwa oluvanyuma w’abavubuka okukuba poliisi akawunika nebayingiza embizzi. Robert Mayanja ne Norman Tumuhimbise baakwatibwa olw’okubiri oluwedde nga baliko obubizzi bubiri bwebasiize langi ya kyenvu nga bavumirira enguzi n’ebbula ly’emirimu. Ababaka ba palamenti, abakozi ku palamenti n’ano abakozi mu ofiisi y’omukulembeze w’eggwanga […]
Abasiyazi gubasinze
Omusango ogwaali gwawaabwa abali b’ebisiyaga gugobeddwa mu kkooti nebalagirwa n’okusasula. Aboogerwaako baali batudde mu Lukungaana ku resort beach Entebbe nelurinyibwaamu eggere poliisi ng’ekolera ku biragiro bya minisita akola ku mpisa n’obuntu bulamu Rev Father Simon Lokodo. Omulamuzi Steven Musota agambye nti abawaaba tebasobola kwogera ku […]
Eyatta omwana atuuyana-abalwanidde omukazi bakwatiddwa
Waliwo omujaasi akwatiddwa ku bigambibwa nti yatta omuntu. David Mulika bamulumiriza okukuba amasasi agatta omwana ow’emyaka 15 eyategerekeka ko erya Priscilla mu bitundu bye Nabbingo. Omujaasi ono okutta omwana yali alwanyisa abazigu abaali balumbye maama w’omwana ono Agnes Nanungi Abazigu bano baali basimye ekituli mu […]
Kkooti y’amaggye efunye ssentebe omuggya
Kkooti y’amaggye erina ssentebe omupya Pulezidenti Museveni alonze Maj. Gen. Levi Karuhanga okukulira kkooti eno. Maj. Gen. Karuhanga, nga yeeyali akulira amaggye ga Uganda e Somalia azze mu kifo kya Brig Moses Ddiba Ssentongo ng’ono ekisanja kye kyaggwaako omwezi oguwedde. Amawulire g’okulonda ssnetebe wa kooti […]
Abadde alindiridde akalabba ayimbuddwa
Omukyaala enzaalwa ye Sudan eyali yasalirirwa akalabbaolw’okuva mu busiraamu kyaddaaki ayimbuddwa Ekibonerezo kino kijjiddwaawo kkooti ejulirwaamu Omukyala ono yadde yali musiraamu yafumbirwa omusajja omukulisitaayo era n’agaana okumuvaako nga kino okusinziira ku mateeka ga Sharia, ekibonerezo kalabba. Ekibonerezo ekyaweebwa omukyala ono kyavumirirwa nnyo okwetoloola ensi yonna
Ngenda kwesimbawo mu 2016- Prof Bukenya
Eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Prof Gilbert Bukenya wakwesimbawo mu mwaka 2016. Kiddiriddeekibinka ky’abavubuka mu NRM okuzinda amaka ge enkya ya leero nga bagaala alangirire oba aneesimbawo oba nedda bategeere nga bukyaali Bukenya agambye nti mwetegefu okwesimbawo ku lulwe ekibiina nebwekinaaba tekimuwadde bendera. Ono azzeemu okuwera […]
Poliisi etubidde ne piki
Poliisi wano mu Kampala ekyatubidde ne zi bodaboda eziwera nga bananyini zo bakwatibwa batisse omuntu asukka mw’omu. Omwaka guno poliisi yateekawo amateeka g’okukwata boda ezitikka omuntu asukka mw’omu era nga ebikwekweto birese pikipiki nyingi ziyooleddwa. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba kati […]
Olukwe oluluma Yuganda luwedde- Poliisi esabye abantu okwerinda
Poliisi yakuno eyongedde amaanyi mu kuyigga abagambibwa okubeera abatujju 9 abagala okulumba eggwanga. Poliisi yakuno kati ekolagana n’ezamawanga agaliranyewo okugwa mu buufu b’wabakambwe bano nga era kuliko lbrahim ahmed, Mohamad nur Aden, Abdirazack Hirsi Yusuf n’abalala bataano. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba […]
Air Uganda eyimiriziddwa okusabaaza abantu
KKampuni ya Air Uganda ayimiriziddwa okusaabaza abantu ku nyonyi zaayo. Kiddiridde kkampuni eno okujjibwaako ebiwandiiko ebibadde bigikkiriza okukola omulimu muno. Omwogezi w’ekitongole ekikola ku ntambula y’enyonyi ekya Civil Aviation Authority, Ignie Igundura akakasizza amawulire gano n’ategeeza nga bwebakyekebejja enyonyi za kkampuni eno okulaba oba zituukagana […]