Amawulire
Natti ku Uganda- Gavumenti tetidde
Gavumenti egamba nti tejja kumpondoka nti ewagira bisiyaga yadde enatiisibwatiisibwa. Kino kiddiridde gavumenti ya America okulangirira natti ku Uganda ng’abo bonna abalwanyisa abasiyazi ssibakukkirizibwa mu ggwanga lino era nga n’ensimbi zenyini America z’essa mu byobulamu, ebyamaggye ne poliisi ezisazeeko. Omubaka akiikirira abantu be Ndorwa mu […]
Abeekalakaasa n’embizzi basindikiddwa Luzira
Abavubuka ababiri abakwatibwa nga beekalakasa n’embizzi ku palamenti bagguddwaako emisango n’oluvanyuma nebasindikibwa e Luzira Norman Tumuhimbise ne Robert Mayanja balabiseeko mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka Erias Kakooza nebasomerwa emisango esatu Kuno kwekubadde egw’okusalimbira mu kifo gyebatalina kubeera n’okuyingirira emirimu gya palamenti Kigambibwa okuba nti bano […]
Eyazaalibw an’amagulu ataano asiibuddwa
Omwana eyazaalwa n’amagulu ataano asiibuddwa okuva mu ddwaliro e Mulago. Abakugu mu ddwaliro e Mulago bamwekebezza era bakadde be nebabawa omwezi gumu okukima ebinaava mu kukebera Bazadde b’omwana ono okuli Boniface Okongo ne Margaret Awino bagamba nti omwana ono ali mu mbeera nnungi nga kati […]
Omupiira mugulabire waka- Kenya
Gavumenti ya Kenya esabye abantu baayo okwewala okulabirira emipiira mu bibanda badde ewaka Okusaba kuno kukoleddwa nga Kenya yakalumbibwa abantu 60 nebalusuula akaba Obulumbaganyi bwebumu bwakolebwa ku baali balaba omupiira mu kibuga Mpeketoni. Minisita akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga agambye nti yadde eby’okwerinda babinywezezza […]
Omuwendo Gw’ababundabunda Gulinye
Ekitongole ky’ekibiina ky’amawanga amagatte ekikola ku banoonyi b’obubudamu kyenyamidde olw’omuwendo gwababundabunda okuva munda mu ggwanga lya South Sudan okweyongera. Amyuka omukiise w’ekitongole kino wano mu ggwanga Esther Kiragu ategezezza nti yadde nga emirembe gyigenda gyidda mu ggwanga eryo, abantu banji baabulidde eggwanga lino okwesogga Uganda […]
Hiderman Yetonze Olw’ekyambalo ky’ekanisa
Omuyimbi Hillary Kiyaga abasinga gwebamanyi nga Dr Hilderman okulabula kw’ekanisa akututte nga ekintu ekikulu neyetonda ku ganduula yaba Bishop gyeyayambala nga atongoza olutambi lwe gyebuvuddeko nga ekanisa yakilaba nga eky’okugivvola. Hilderman yetonze nategeeza nga bwataalina kigendererwa kyonna kyakuvvola Kanisa, era nasubiza obutaddamu kwenanika byambalo […]
Teri Kuyisa mbalirira ya KCCA- Abavuganya
Ababaka ba palamenti okuva ku ludda oluvuganya gavumenti balayidde okwekiika mu kuyisa embalirira ya KCCA Bino bizze nga KCCA egenda mu maaso n’okukubaganya ebirowoozo ku mbalirira ey’omwaka 2014/15 Ababaka okubadde minisita wa kampala mu gavumenti erinze obuyinza Angelina Osege ne munne akola ku gavumenti ez’ebitundu […]
Abaana bangi basobezebwaako
Okusobya ku baana kyekika ky’okutyoboola eddembe ly’abakazi okwekuusa ku kikula kyaabwe okwakasinga okulabikako Bino biri mu alipoota ekoleddwa ekibiina kya bakyala ekya ACFODE ng’eraga nti emisango egisoba mu kikumi gyegyawaabwa. Kuno kuddibwaako okukaka abakyala omukwano n’okutyoboola mu ngeri enafuya omukyala Amasekkati ga Uganda geegasingamu ebikolwa […]
Abafumbo beebasinga obwenzi- Alipoota
Disitulikiti ye Wakiso y’esinga omuwendo gw’abakyala abali embuto nga balina akawuka mukenenya. Abakyala 207 mu ssaabiiti emu bokka beebagenze okunywa eddagala nga balina akawuka. Wakiso eddibwaako kampala ng’eno abakyala b’embuto 74 beebakebeddwa nga balina akawuka Awo Mubende y’eddako n’abakyala 42 n’endala musanvu nezigoberegana. Muno mulimu […]
Amaggye gavumiridde okutulugunya owe Lira
Amaggye ga UPDF geganye ebigambibwa it abajaasi baago beetabye mu kutulugunya omuntu wa bulijjo mu disitulikiti ye Lira . Kigambibwa nti waliwo omusajja atanategerekeka agambibwa okubeera omubbi eyakubiddwa abatuuze n’oluvanyuma nassibibwa ku kiroole ky’amaggye ekyabadde kiddabirizibwa. Omwogezi w’amaggye g’eggwanga Paddy Ankunda agamba abatuuze beyambisizza bubi […]