Amawulire

Omusolo ku masomero- Fiizi zakwongezebwa

Ali Mivule

June 17th, 2014

No comments

Bannanyini masomero balayidde nga nabo bwebagenda okwongeza ebisale by’essomero ssinga babinikibwa emisolo Ng’asoma embalirira y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja, minister ekola ku by’ensimbi Maria Kiwanuka yalangirira nga bwebaali bataddewo omusolo ku masomero g’obwannanyini n’abo abagaala okugatandika bakusasulanga emisolo. Wabula ssentebe wa bannanyini masomero g’obwannyini, John Bosco Mujumba […]

Nabukenya alayiziddwa

Ali Mivule

June 17th, 2014

No comments

Omubaka omukyala omuggya owe Luweero Brenda Nabukenya alayiziddwa wakati mu mizira okuva eri abavuganya gavumenti. Nabukenya okutuuka ku kino yawangula munne gwebaali ennyo ku mbiranye, Rebacca Nalwanga n’obululu obuweza ebitundu 61 ku kikumi. Ayaniriziddwa amyuuka sipiika Jacob Olanya ategeezezza nga Nabukenya bw’akoze ekyafaayo kubanga ye […]

Abatujju bakyuusizza enkola-Bakuba masasi mu bantu

Ali Mivule

June 16th, 2014

No comments

Poliisi erabudde abantu nti kati abatujju bazze na nkola mpya naddala mu bulumbaganyi bwebakola ku mawanga ga East Africa Kiddiridde obutujju obulala ku nsalo ya Kenya okuleka abantu abasoba 40 nga bafudde Ab’obuyinza mu Kenya agamba anti kati abatujju bano bakozesa mmundu nga beefudde ng’abakuuma […]

Abakuumi ba Ssabasajja balumiziddwa mu kabenje

Ali Mivule

June 16th, 2014

No comments

Abakuumi ba ssabasajja babiri bakyaali mu ddwaliro e Mulago banyiga biwundu oluvanyuma lw’okufuna akabenje e Nama ku luguudo lwe Mityana Jacob Mutumba ne Lt Paul Makanga balumiziddwa ng’abakuumi abalala bataano abaakoleddwaako nebasiibulwa Bano akabenje bakafunye bava ku mikolo gy’okutongoza emipiira gy’amasaza ku lunaku lw’omukaaga Mutumba […]

Ogw’abalya abantu teguwuliddwa

Ali Mivule

June 16th, 2014

No comments

Okuwulira omusango oguvunaanibwa abantu 13 abagambibwa okutta n’okulya omukyala n’omwana we gugudde butaka Omusango guno guli mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka, Tadeo Muyindi . Bano bavunaanibwa kulya Peace Kyamukama Arinaitwe n’omwana we ow’emyezi omwenda bwebaali bava okuziika obudde nebubayitako Omuwaabi wa gavumenti talabiseeko mu kkooti […]

Tetunnakaanya kusimbawo muntu omu-FDC

Ali Mivule

June 16th, 2014

No comments

Ebibiina okuva ku ludda oluvuganya gvaumenti basambazze ebigambibwa nti balikoe ndagaano gyebatuuseeko okusimbawo omuntu omu ku kulonda kwa 2016. Akulira ekibiina kya FDC Maj Gen Mugisha Muntu agamba nti mu kadde kano befunyiridde kusooka kutereeza mbeera ya kulonda etaliimu kyekubiira Wabula Muntu agamba nti tekitegeeza […]

Omukyala akwatiddwa n’enjaga

Ali Mivule

June 16th, 2014

No comments

Poliisi e Kabalagala ekutte omukyala nzaalwa ye Nigeria ng’atunda enjaga Zubedda Ugoma yajjiddwa mu kitundu kye Kataba ekimu ku bikola enzigotta ze Kabalagala Enjaga eno ebadde mu capiso nga buli omu ya mitwalo etaano Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba nti bagenda […]

Omumuli guli Gulu

Ali Mivule

June 16th, 2014

No comments

Ng’omumuli gwa poliisi ow’emyaka ekikumi kukyagenda mu maaso n’okutambuzibwa okwetoloola eggwanga, poliisi eno egamba nti etegese emikolo emitontono eginafundikirwa n’ebikujjuko gaggadde nga 3 omwezi gw’ekkumi Omumuli guno gwatandika okutambula omwezi oguwedde nga wetwogerera guli Gulu. Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti bakutegeka ssabiiti y’emirembe, […]

Minisita Kuteesa akomyeewo nga muzira

Ali Mivule

June 16th, 2014

No comments

Minista akola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga Sam Kuteesa akomyeewo ku butaka ng’ayaniriziddwa ng’omuzira Kuteesa gyebuvuddeko yalondebwa okukulembera olukiiko lw’ekibiina ky’amawanga amagatte era nga kino wakukikola okumala omwaka mulamba Ng’ayogerako eri bannamawulire, Kuteesa agambye nti mwetegefu okukolagana na buli omu mu kibiina ky’amawanga amagatte okutumbula eddoboozi […]

Abatooro babayodde- Ttiyagaasi alamudde

Ali Mivule

June 16th, 2014

No comments

E Fortpaortal abantu 4 bebakwatiddwa wakati mu kukuba omukka ogubalagala nga poliisi erwanagana n’abavubuka okuva mu bukama bwe Tooro ababadde bekalakaasa. Bano bawakanya ekya pulezidenti Museveni okuyita omukama waabwe omwana omuto. Gyebuvuddeko omukama w’e Tooro yasalawo okusiiba wakati mu kubanja ebintu by’obukama okukomezebwawo okuva eri […]