Amawulire
Kkooti egenda okusalira ku Kajubi ekibonerezo
Kkooti ejulirwamu egobye okusaba kwa naggaga Kato Kajubi abadde yemulugunya ku kibonerezo ky’okusibwa amayisa oluvanyuma lwokusingisibwa omusango gw’okusaddaaka omwana ow’emyaka 12 Joseph Kasirye. Kkooti enkulu e Masaka yasingisa Kajubi omusango guno nakaligibwa obulamu bwe bwonna mu kkomera , Kajubi kyaatamatira era najulira. Abalamuzi ba kkooti […]
Embalirira ya KCCA teyisibwa- Lukwago
Loodimeeya w’ekibuga Erias Lukwago ayagala palamenti eyimirize okuyisa embalirira ya KCCA kubanga emenya mateeka. Ng’ayogerako eri bannamawulire mu maka ge e Wakaliga, Lukwago agambye nti amakubo aglina okuyitibwamu okutuuka ku mbalirira eno tegagoberereddwa. Lukwago agamba nti n’ensimbi zenyini ezissiddwa mu bitongole ebitali bimu mpitirivu nga […]
Endagaano ziriwa ku bya Buganda
Ababaka mu lukiiko olukulu olw’eggwanga okuva mu Buganda bagaala endagaano ezaakolebwa wakati wa Buganda ne gavumenti zanjibwe. Kiddiridde gavumenti eyawakati okwefuula n’etanula okusaba Buganda ebimu ku byapa ebyagiweebwa. Ssabawolereza wa gavumenti yeeyategeezezza nga bwebawandiikidde Buganda nga bagisaba ebyapa okuli ettaka ly’abakooki n’abaluuli okubizza kubanga banyini […]
Ababaka beekandazze
Ababaka abatuula ku kakiiko akakola ku by’enjigiriza beekandazze nebafuluma olukiiko olubadde lutegekeddwa okukubaganya ebirowoozo ku nsonga eziruma abaana Kiddiridde minisita akola ku byenjigiriza ebisookerwaako Kamanda Bataringaya okugaana okuwuliriza okusaba kwaabwe nti asigalewo awulire okuva mu bekikwatako bonna kiki ekivuddeko obuzibu Ng’amaze okuggulawo olukiiko olubadde ku […]
Katikkiro atikkudde Monitor, Dembe ettofaali
Katikkiro wa Buganda owekitiibwa Charles Peter Mayiga akuutidde bannamawulire naddala okuva mu monitor publications okukola nga tebaliimu kyekuubiira n’okukulembeza amazima mu buli kimu. Bw’abadde atikkula abakozi ba Monitor omuli n’aba Dembe FM ettofaali, katikkiro agambye nti abantu bangi balina essuubi mu mikutu gya monitor kale […]
Eyatta omulambuzi asibiddwa emyaka 30
Kkooti y’amaggye etuula e Makindye aliko omusajja gw’esindise mu kkomero yebakeyo emyaka 30 lwakutta mulambuzi ku lusozi lwa Elgon. Fred Kipsang y’asibiddwa emyaka 30 ate nga banne abalala basatu okuli Chepkrui Kamada , Chebles Patrick ne Moses Chemtai bbo basibiddwa emyaka 10 lwakukolagana n’omutemu omutta […]
NAADS- abavuganya bagobye amaggye
Abavuganya gavumenti bawakanyizza ne ssekuwakanya eky’amaggye okwezza enteekateeka ya NAADs Pulezidenti bw’abadde ku mikolo gy’abazira agambye nti amaggye nga gakulirwa gen salim saleh geegagenda okwezza omulimu gw’okulondoola enteekateeka ya NAAds kubanga abakulu abaliwo bazze mu kulya. Wabula mu lukungaana olw’awamu, abavuganya n’ab’ebibiina by’obwa nakyeewa bategeezezza […]
Abaana bangi tebasoma
Alipoota efulumiziddwa ekibiina ky’amawanga amagatte ekikola ku by’enjigiriza by’abaana ekya UNICEF, eraga nti abaana abasoba mu mitwaalo ataano beebatasoma bulungi nga bwebalina kukola. Alipoota eno kino ekitadde mbeera abaana mwebali omuli endya embi, ebyobulamu, amazzi, ebyenjigiriza, n’engeri yenyini gyebakuzibwaamu. Omubaka w’ekibiina kino mu Uganda, Aida […]
Abakola ku NAADs bagobwe- Museveni
Ababadde bakwataganya emirimu wansi w’enkola ya NAADS bonna bakugobwa Kino kyogeddwa pulezidenti Museveni bw’abadde ayogerera ku mikolo gy’olunaku lw’abazira e Mityana Pulezidenti agambye nti ensimbi ezirina okuzimba abalimi bano zibadde zigweera mu kusasula abakwanaganya bano kko n’enkungaana ezitaggwa Kino kizze nga pulezidenti yoomu ono yakalangirira […]
Ebbaluwa Namwatuulira
Abasumba bana mu ggwanga lya Eriterea baliko omukuku gw’ebbaluwa gwebakuutidde omukulembeze w’eggwanga nga bavumirira embeera eri mu ggwanga Bano yadde ebigambo tebabirambise mu ngeri ya namwatulira, abagasaka okuva erudda eyo bagamba nti bano kyebakoze kyandibazaalira akalimu obuwuka Gavumenti mu ggwanga lya Eritera abaayo ebafugira ku […]