Abakulembeze mu disitulikiti ye Wakiso basabiddwa okwongera okutumbula ebyenjigiriza wamu n’obujanjabi mu district okusinga okwenyigira mu kutunda ettaka.
Okusaba kuno kukoleddwa Meeya we Kiira Mamerito Mugwerwa bw'abadde ayisa embalirira ya tawuni kanso ey'obuwumbi 4.
Mamerito agambye nti abakulembeze balina okukuuma ebyapa by’ettaka lya malwaliro, amasomero, wamu n’ebiasawe okusinga okwenyigira mu kulitunda.
Poliisi etandise okulwanyisa abagwira, abavugira kuno emotoka nga tebalina bisanyiz.
Ekigendererwa mu kino kukendeeza bubenje.
Yakusookera ku pamiti zaabwe okulaba oba zituukiridde era buli anayita mu kasengejja ng'aweebwa akabonero akalaga nti mutuufu ku bwereere.
Kasiima alabudde abantu bano obutetantala kuvuga emotoka nga tebalina bisanyizo kubanga gwegunakka mu vvi wakusibwa emyezi 6
Obutasasula abasomesa mubudde kyakwongera okukosa omutindo gw’ebyenjigiriza mu ggwanga.
Olulabula kuno kukoleddwa ng’abasomesa okuva mu district ye Jinja bakekalakasa olw’obutasasulwa okumala omwezi esatu.
Ssentebe w’ekibiina ekigatta abasomesa ekya Uganda National Teachers Union Margret Rwabushaija agambye nti abasomesa abamu batandise okuduka mu masomeso, oluvanyuma lwobutasasulwa misaala okumala emwezi 4.
Rwabusahija agambye nti abasomesa balemeddwa okufuna okunyonyolwa okumatiza okuva eri…
Abamu ku bayizi ababadde abalina okutikirwa olunaku olwalero okuva kuntendekero lya Kyambogo University bazize emikolo.
Abayizi ababadde abalina okutikirwa babadde abasoba mu 800 kyoka abalinga nga 100 boka bebalabiseko.
Abayizi bano bebamu kyobo abalina okutikirwa mu mwezi gw’okubiri omwaka guno, kyoka nebaganibwa oluvanyuma lwokulemererwa okutukiriza ebisanyizo bya university.
Abakyala mu kibiina kya NRM bagasse kubannakibiina abalala okuwagira ekiteeso ky’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni obutavuganyizibwa mu kamyufu ka NRM mu mwaka gwa 2016.
Ngabogera eri banamawulire ku parliament abakyala bano abakulembeddwa Phoebe Otaala, akulira abakyala ba NRM okuva mu buvanjuba bw’eggwanga, bagambye nti, okuleka omukyala wa ssabaminister Jackline Mbabazi abalala bona bakiriza okuwagira Museveni.
Otaala,ne banne…
KKampuni ezitwala abantu ebweru ezisinga tezirina lukusa ku kikola era nga ziriwo mu bumenyi bw’amateeka
Okulabula kuvudde eri akulira poliisi erwanyisa okukusa abantu, Moses Binoga .
Kiddiridde minisitule ekola ku nsonga z’omunda mu ggwanga ng’eri wamu n’ab’obuyinza mu Dubai okukwata abantu musangu okuva mu kkampuni ya Ham Property ng’eno ebadde ekukusa abantu
Binoga agamba nti kkampuni zino kyezifa…
Poliisi mu district ye Buikwe ekutte omusajja ateberezebwa okusaddaka omwana.
Omulambo gw’omwana ono ow’emyaka 8 gwasangibwa mu kibira ngagusaliddwako emikono n’amagulu
Oluvanyuma lw’amwana ono okubula Jajja we Nakitende Jeniifer yagezeeza polisi, eyatandika okunonyereza.
Owmogezi wa polisi mu bitundu bya Savana Lameck Kigozi agambye nti ekwatiidwa ye salim walyawula.
Poliisi ekubye omukka ogubalagala mu basuubuzi bomu Katale ke Wandegeya oluvanyuma lw’okuva mu mbeera nebafubutula abakalumbeze abalondeddwa KCCA okukulembera akatale kano ababadde balindiridde okulayizibwa.
Abali ku kakiiko kano babadde bakulayizibwa akulira ekibuga Jenniffer Musisi wabula abasuubuzi nebava mu mbeera nga baagala kwerondera kakiiko kaabwe.
Kino kiwalirizza poliisi okuva e Wandegeya okwebulungulala akatale konna okwewala effujjo lyonna okuva…
Oluvanyuma lw’enkuba okuddamu okufudemba mu district ye Buduuda ekyaviriddeko ettaka okubumbulukuka mu gombolol ye Bushika, abakulira district eno bawandikidde ofiisi ya ssabaminister ebayambe.
Omuntu omu ategerekese nga Denis Kisolo yeyakafa sso nga amaka agasoba mu 300 gaakoseddwa.
Omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti eno James Shiraku agamba okubumbulukuka kw’ettaka kwavudde ku kuwaguza kw’omugga Kipingi ku ntandikwa ya wiiki…
Pulezidenti Museveni azzeemu okukkatiriza nga bwewaliwo obwetaavu bw’okukola ebyamaguzi ebisobola okuvuganya ku katale k’ensi yonna.
Ng’ayogerako eri eggwanga ku mukolo ogukyagenda , pulezidentia gambye nti Uganda tannafuna bulungi mu bintu by’ekola naddala ebiva mu nnimiro ng’emwanyi kubanga tebituukagana na mutindo.
Pulezidenti agamba nti abalowooza ku nkulakulana nga kino tekinnabaawo babyerabire.
Pulezidenti era ategeezezza nti Uganda eri mu nteseganya…