Amawulire
Emirambo emirala 2 ginyuluddwa
Poliisi y’okumazzi eriko emirambo ebiri gyenyuludde okuva mu Nyanja Nalubaale. Bano beebamu kw’abo abidde bwebabadde ku lyaato nga bava ku bizinga bye Kiziru okudda e Bulago. Abantu 32 kigambibwa okuba nti beebabadde ku lyaato kyokka nga basobodde okunyululayo emirambo 28 olunaku lwajjo. Aduumira poliisi y’oku […]
Mukuume ttaka ly’amasomero- Mamerito
Abakulembeze mu disitulikiti ye Wakiso basabiddwa okwongera okutumbula ebyenjigiriza wamu n’obujanjabi mu district okusinga okwenyigira mu kutunda ettaka. Okusaba kuno kukoleddwa Meeya we Kiira Mamerito Mugwerwa bw’abadde ayisa embalirira ya tawuni kanso ey’obuwumbi 4. Mamerito agambye nti abakulembeze balina okukuuma ebyapa by’ettaka lya malwaliro, amasomero, […]
Poliisi etabukidde ba dereeva abatali bannayuganda
Poliisi etandise okulwanyisa abagwira, abavugira kuno emotoka nga tebalina bisanyiz. Ekigendererwa mu kino kukendeeza bubenje. Yakusookera ku pamiti zaabwe okulaba oba zituukiridde era buli anayita mu kasengejja ng’aweebwa akabonero akalaga nti mutuufu ku bwereere. Kasiima alabudde abantu bano obutetantala kuvuga emotoka nga tebalina bisanyizo […]
Abasomesa bepena ebibiina
Obutasasula abasomesa mubudde kyakwongera okukosa omutindo gw’ebyenjigiriza mu ggwanga. Olulabula kuno kukoleddwa ng’abasomesa okuva mu district ye Jinja bakekalakasa olw’obutasasulwa okumala omwezi esatu. Ssentebe w’ekibiina ekigatta abasomesa ekya Uganda National Teachers Union Margret Rwabushaija agambye nti abasomesa abamu batandise okuduka mu masomeso, oluvanyuma lwobutasasulwa misaala […]
Kyambogo batikkidde
Abamu ku bayizi ababadde abalina okutikirwa olunaku olwalero okuva kuntendekero lya Kyambogo University bazize emikolo. Abayizi ababadde abalina okutikirwa babadde abasoba mu 800 kyoka abalinga nga 100 boka bebalabiseko. Abayizi bano bebamu kyobo abalina okutikirwa mu mwezi gw’okubiri omwaka guno, kyoka nebaganibwa oluvanyuma lwokulemererwa okutukiriza […]
Abakyala bawagidde Museveni
Abakyala mu kibiina kya NRM bagasse kubannakibiina abalala okuwagira ekiteeso ky’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni obutavuganyizibwa mu kamyufu ka NRM mu mwaka gwa 2016. Ngabogera eri banamawulire ku parliament abakyala bano abakulembeddwa Phoebe Otaala, akulira abakyala ba NRM okuva mu buvanjuba bw’eggwanga, bagambye nti, okuleka […]
Kkampuni ezitwala abantu ebweru nzibi
KKampuni ezitwala abantu ebweru ezisinga tezirina lukusa ku kikola era nga ziriwo mu bumenyi bw’amateeka Okulabula kuvudde eri akulira poliisi erwanyisa okukusa abantu, Moses Binoga . Kiddiridde minisitule ekola ku nsonga z’omunda mu ggwanga ng’eri wamu n’ab’obuyinza mu Dubai okukwata abantu musangu okuva mu kkampuni […]
Agambibwa okusaddaaka omwana Akwatiddwa
Poliisi mu district ye Buikwe ekutte omusajja ateberezebwa okusaddaka omwana. Omulambo gw’omwana ono ow’emyaka 8 gwasangibwa mu kibira ngagusaliddwako emikono n’amagulu Oluvanyuma lw’amwana ono okubula Jajja we Nakitende Jeniifer yagezeeza polisi, eyatandika okunonyereza. Owmogezi wa polisi mu bitundu bya Savana Lameck Kigozi agambye nti ekwatiidwa […]
Tiya Gaasi Anyoose mu Katale Ke Wandegeya
Poliisi ekubye omukka ogubalagala mu basuubuzi bomu Katale ke Wandegeya oluvanyuma lw’okuva mu mbeera nebafubutula abakalumbeze abalondeddwa KCCA okukulembera akatale kano ababadde balindiridde okulayizibwa. Abali ku kakiiko kano babadde bakulayizibwa akulira ekibuga Jenniffer Musisi wabula abasuubuzi nebava mu mbeera nga baagala kwerondera kakiiko kaabwe. […]
Mutuyambe Ettaka Lituziika-Ab’Ebuduuba bawanjaze
Oluvanyuma lw’enkuba okuddamu okufudemba mu district ye Buduuda ekyaviriddeko ettaka okubumbulukuka mu gombolol ye Bushika, abakulira district eno bawandikidde ofiisi ya ssabaminister ebayambe. Omuntu omu ategerekese nga Denis Kisolo yeyakafa sso nga amaka agasoba mu 300 gaakoseddwa. Omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti eno James Shiraku […]