Amawulire
Abasoba mu 60 batubiridde e Namugongo
Nga wakayita olunaku lumu lwokka nga ebijaguzo by’abajulizi byakaggwa wali ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo, abantu abasoba mu 60 bakyakonkomalidde ku kiggwa. Abamu ezibazza ewaabwe tebaziraba nga ate abalala ab’enganda zaabwe baababuzeeko. Omu ku bano abuuliddwako omwana gw’agamba nti ye Joan nga waliwo n’omukadde aatalabikako. […]
Namugongo;Ssabasajja kabaka ku nguzi, Museveni ku bumu
Ssabasajja Kabaka wa Buganda abakkiriza abawadde amagezi okwewala ebikolwa eby’efujjo kko n’okulya enguzi mu kaseera kano nga tusemberera okulonda kwa 2016. Amagezi gano gabadde mu bubaka bw’omutanda eri abakkiriza abakungaanidde ku biggwa by’abajulizi e Namugongo Obubaka buno bwetikkiddwa Kaggo Tofiri Kivumbi Malokweza. Ssabasajja agambye nti […]
30 bakwatiddwa e Namugongo
Poliisi ekutte abantu abasoba mu 30 e Namugongo. Mu bano mubaddemu abasazi b’ensawo n’abatamiivu n’abambadde mu ngeri esasamaza. Amyuka omwogezi wa poliisi, Polly Namaye agamba nti bano bagenda kuvunanibwa emisango egitali lumu bwebanatwalibwa mu kkooti olunaku lw’enkya Namaye agamba nti wabula yadde guno bweguli, okutwaliza […]
Abawera balumiziddwa mu bubenje
Abalamazi ababadde bava e Luweero abanyiga ebiwundu oluvanyuma lw’okufuna akabenje Bano abasoba mu 40 babadde batambulira ku ki loole ekyefudde. Kiroole kino olw’endiima kiremeredde omugoba waakyo era okukkakkana nga kyevulungudde emirundi egiwera Ate ebyo nga biri awo, bbo abalala basatu balumiziddwa mu kabenje akagudde e […]
Ono bamukubye lwa kunoba
Omukyala eyanoba bba amukimye na miggo Sayid Kiyemba nga mugoba wa bodaboda e Kyampisi y’alumbye mukyala we ku buko n’amufuntula agakonde ng’amulanga kumugaana kulaba baana. Ruth Nakate agamba nti bba ono gweyayawukana naye emyaka 2 emabega kyokka ng’aludde ng’amwewerera okumutta.
Minista afudde tannabugumya ntebe
Abadde yakalondebwa ku bw aminista mu ggwanga lya Buyindi afiiridde mu kabenje mu kibuga ekikulu Delhi Gopinath Munde, abadde alondeddwa okufuuka minisita akola ku nkulakulana y’ebyaalo. Okugwa ku kabenje akamusse, minisita abadde agenda ku kisaawe kufuna nyonyi emutwaala mu kyaalo kyaabwe nga wano emmotoka endala […]
Namungi w’omuntu yeeyiye e Namugongo
Olwaleero lunaku lwabajulizi. Wowulirira bino nga Namugongo awuuma olwa namungi w’omuntu eyekulungudde okuva ebule n’ebweya okweyiwa ku biggwa by’abajulizi okujjukira abajulizi abaafiiririra ediini yaabwe ey’ekikulisitu. Okusaba kutandise ku biggwa byombi nga mu bakatolika, okusaba kukulembeddwaamu akulira essaza ekkulu erya kampala, Dr Cyprian Kizito Lwanga ate […]
Eyazaalibwa n’amagulu ataano yeetaga obukadde nkaaga
Abasawo mu ddwaliro ekkulu e Mulago bakyagenda maaso n’okwekebejja omwana eyazalibwa nga alina amagulu ataano. Omu ku basawo omukugu mu kulongoosa Dokita John Ssekabira agamba tebanazuula kiki ddala ekyaviirako omwana ono okubeera bwati wabula nga akyali mu mbeera nungi. Bbo bazadde b’omwana ono basaba buyambi […]
Namugongo awuuma- abasuubuzi bakaaba
Bannaddiini ku bigwa by’abajulizo e Namugongo basabye abalamazi bonna okukuuma emirembe nga beewala ebikolwa by’effujjo Atwala ekiggwa ky’abakulisitaayo e Namugongo Rev. Canon Henry Segawa agamba nti abakkiriza bangi beerabira okusaba nebadda mu kugangayira ekintu ekikyaamu Ono agamba nti basuubira abalamazi enkumi ssatu okwetaba mu kusaba […]
Bamukwatidde mu bwenzi
Abatuuze ku kyaalo Kazo mu disitulikiti ye Kiruhura balabye katemba atali musasulire omusajja bw’akutte mukyala we lubona nga yegadanga ne mukwano gwe Erias Ninsiima bano okubagwaako asoose kudda waka n’asanga omwana waabwe ow’emyezi omunaana ng’ali ku lubalaza akaaba ng ataliiko afaayo Omusajja ono atandikiddewo omuyiggo […]