Amawulire
Akabenje kasse 2 e Kyotera
Abantu 2 bafiiridde mu kabenje k’emmotoka akagudde ku kyalo Nongo ku luguudo oluva e Kyotera-Kalisiizo. Abagenzi bategerekese nga Paul Walusimbi okuva mu district ye Rakai ne Julius Akwatampola ow’emasaka. Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti abagenzi babadde batambulira ku pikipiki ekimotoka kilukulurana nekibasaabala. Bagamba nti bano babadde […]
Abalamazi okuva e South Sudan batuuse
Ekibinja ky’abalamazi 50 okuva mu ggwanga lya South Sudan batuuse ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo nga betegekera okukuza olunaku lw’abajulizi wiiki ejja. Akulira ekiggwa kino father Joseph Mukasa Muwonge yayanirizza abalamazi bano nga banaabwe nabo bali mu kubo. Father Muwonge agamba bano bagasse ku banaabwe […]
Luweero: Aba DP babiri bakwatiddwa
Obunkenke bweyongedde mu Disitulikiti ye Luweero oluvanyuma lw’abawagizi b’omubaka omukyala eyakalondebwa Brenda Nabukenya okukwatibwa. Ababiri abakwatiddwa kuliko Richard Katabira ne Julius Mayega abaakwatiddwa ku bigambibwa nti baawuttula abaali bakuuma obululu bw’owa NRM Rebecca Nalwanga eyali yesimbye ku Nabukenya. Omwogezi wa poliisi9 mu bitundu bino Lameck […]
Kasibante Yejjerezeddwa
Omubaka wa Rubaga ey’obukiika ddyo Moses Kasibante asambira mabega nga janzi oluvanyuma lwa kkooti okumwejereza emisango gyonna egibadde gimuvunanibwa. Kasibante abadde avunanibwa emisango okuli okukuba olukungaana olumenya amateeka, okukuma omuliro mu bantu saako n’okwonona emmotoka ya poliisi. Oludda oluwaabi lubadde lulumiriza nti ono emisango yajizza […]
Abajulizi- emyaka kati 50 nga nga bafuuliddwa abatuukirivu
KKanisa ya Uganda olwaleero ejje akawuuwo ku mulimu gw’okuzimba ekifo omugenda okuterekebwa ebyafaayo ku bajulizi. Ssabasumba wa kkanisa ya Uganda Stanley Ntagali agamba nti abajulizi kyafaayo kya maanyi ekikungaanya ebantu okuva e bule ne bweeya kale nga buli ekibakwatako kikulu Omusumba Ntagali era agamba nti […]
Abasinga bazize okulonda mu misiri
Mu ggwanga lya Misiri abakulembeze batubidde n’okulonda kwebategeka ng’abantu bagaanye okukujjumbira Okulonda kuno kwabadde kwa nnaku bbiri kyokka nga kwayongezeddwaayo okutuuka ku lw’okusatu naye ng’era teri bajjumbidde Gavumenti y’amaggye efuga eggwanga lino olunaku lwajjo era yalulangiridde ng’olw’okuwummula okusikiriza abantu okulonda kyokka nga bino byonna tebiyambye. […]
Munnamawulire Herbert Zziwa aguddewo omusango
Munnamawulire waffe eyakubwa ng’akola amawulire ge Luweero mu butongole agguddewo omusawo ku poliisi ye Luweero n’oluvanyuma akube poliisi mu mbuga z’amateeka Zziwa yakubwa batuuni ku mutwe yadde nga yafuba okulajaana nti yali munnamawulire E Luweero awerekeddwaak ab’ekibiina ekirwanirira eddembe lya bannamawulire aba Human Rights Network […]
Ebyobufuzi byebisse NAADS
Eky’enkola ya NAADS obutavaamu bibala bigisuubirwaamu kissiddwa ku by’obufuzi ebigibaddemu Olunaku lwajjo pulezidenti museveni yalagidde nti enteekateeka eno esazibweemu kubanga teyambye bantu kwejja mu bwavu. Omubaka wa municipaali ye Rukungiri Roland Mugume agamba nti enteekateeka eno tebadde mbi wabula ng’ejuddemu eby’obufuzi kale nga teyinza kuyamba […]
Okuwandiika abafuna densite kugenda kutuuka mu kiro
Mu kawefube ow’okwanguyiza abantu omulimu gw’okwewandiisa okufuna endagamuntu, gavumenti yakutandika okuwandiika abantu ekiro. Bino byogedde minista ekola ku nsonga z’omunda mu ggwanga Gen Aronda Nyakairima bw’abadde aggulawo omusomo gw’ennaku 2 eri abamu ku bakola omulimu gw’okufuna endagamuntu. Nyakairima alaze bwenyamivu nti bukyanga kuwandiisa kutandika mu […]
Omujaasi eyatta abantu e Luzira afunye ku buweerero
Kkooti y’amaggye ekendeezezza ekibonerezo eri omujaasi eyakuba amasasi mu bantu e Luzira n’attamu basatu. Herbert Rwakihembo yali yasalirwa emyaka 30 kyokka nga bamusaliddeko wakati nga kati wakusibwa emyaka 15. Abatuula ku kkooti eno nga bakulirwa Brig Ddiba Ssentongo bagamba nti emyaka 30 egyaweebwa Rwakihembo gyaali […]