Amawulire

Emyaka 100- omumuli gwa poliisi gutandise okutambula

Ali Mivule

May 26th, 2014

No comments

Poliisi esuubizza okukozesa emyaka gino ekikumi gyekuza okuweyubula n’okukyuusa ekifanaanyi kyaayo Olwaleero omumuli gwa poliisi ogugenda okutambuzibwa okuyita mu disitukiti zonna eza Uganda gusimbudde okuva ku poliisi ya jinja Road nga gusookedde mu buvanjuba bw’eggwanga Aduumira poliisi mu kampala n’emiriraano Andrew Felix Kaweesi y’akoze omukolo […]

Musooke muteese nga temunnagoba Bukenya

Ali Mivule

May 26th, 2014

No comments

Ekibiina kya NRM kisabiddwa okusooka okukola ku bizibu ebiruma bannakibiina nga tebannapapiriza kubonereza abo abawagira abalala. Kiddiridde eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Gilbert Bukenya okugenda e Luweero n’ayiggira munna DP akalulu era ng’ekibiina kyatiisizza dda nga bw’agenda okubonereza. Omubaka we Makindye mu buvanjuba John Siimbwa agamba […]

Awanuse ku kizimbe

Ali Mivule

May 26th, 2014

No comments

Omusajja eyakatankidde eccupa ya bond 7 avudde ku kizimbe kya Qualicel bus terminal nebamutwaala mu ddwaliro ng’ataawa. Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti omusajja ono aludde ng’alina ebirowoozo nga asiiba anywa Ate abalala bagamba nti abadde n’ebizibu ne mukyala we era nga kyekibadde kimubuzizzaako emirembe. Kabangali ya […]

Eyasomola ebyaama ayimbuddwa

Ali Mivule

May 26th, 2014

No comments

Omusirikale agambibwa okusomola ebyaama ebyaali ku butambi obwakwatibwa nga bulimu gen Kale Kaihura ayimbuddwa Ronald Poteri ayimbuddwa oluvanyuma lw’okusasula obukadde 2 ea buliwo ng’ate bboa bamweyimiridde 3 balagiddwa okusasula obukadde 10 ezitali za buliwo Omulamuzi agubadde mu mitambo Lillian Buchana era amulagidde okuwaayo paasipoota ye. […]

Abadde yeeyita Paasita akwatiddwa

Ali Mivule

May 26th, 2014

No comments

Poliisi ye Wandegeya ekutte omusajja abadde yeeyita paasita n’afera ssente okuva mu bagabi b’obuyambi n’okusobya ku bawala.. Cyrus Muwaire nga mutuuze we  Kyebando Nsooba abadde asiibya abaana bajja ku nguudo enjalah era nga babadde tebasoma nga bw’abadde agamba abamu ku bazadde b’abaana bano. Mu kiseera […]

Poliisi yakukwata abagaba enguzi

Ali Mivule

May 26th, 2014

No comments

Nga poliisi yakuno ekuza emyaka 100 nga eweereza eggwanga,Ssabawolereza w’eggwanga  General Kale Kayihura aweze nga bwebagudde olutalo ku bantu ba bulijjo abawa basajja be enguzi. Kayihura agamba obuli bw’enguzi bwebuba bwakulwanyisibwa, abantu baabulijjo abagaba ekyoja mumiro eri abasirikale ba poliisi balina okukwatibwa kubanga ogwo musango. […]

Enkayaana za Taxi zizzeemu

Ali Mivule

May 26th, 2014

No comments

Enkaayana za sitegi mu paaka enkadde zisitudde buto.  Kino kiddiridde aba KCCA okwongera okusengula siteezi endala okuva mu paaka enkadde okudda mu mpya. Kati bbo abagoba ba taxi ku siteegi ye Bwaise Nabweru baweze nti kikafuuwe okwamuka paaka enkadde era baasazewo kukuuma siteegi yaabwe kiro […]

Omulambo mu nju

Ali Mivule

May 23rd, 2014

No comments

Poliisi e Mbuya eriko omulambo gw’omusajja gw’esanze nga guggaliddwa mu nyumba Omugenzi abadde mukuumu ng’ategerekese nga Moses Oguchi Omulambo gw’omusajja ono wabula tegusangiddwaako bitundu bya kyama era nga gugalamidde mu kitaba ky’omusaayi. Allan Kagenyi nga ofiisa ku poliisi e Mbuya agamba nti omugenzi wabula n’obutakkaanya […]

Babbye Ebirabo Mu Kanisa

Ali Mivule

May 23rd, 2014

No comments

Poliisi e Masaka eri ku muyiggo gw’ababbi abamenye e kanisa ya  St. John’s Church nebabba ebintu ebibalirwamu obukadde obusukka mu15.  Okusinziira ku akulira e Kanisa eno   Rev. Canon Gaster Nsereko, ababbi bamenye  ofiisi ye ne babba kompyuta, emizindaalo gyebakozesa ku mikolo saako n’ebirabo ebiwebwayo  abasabira […]

Abavubisa Obutwa Bakwatiddwa

Ali Mivule

May 23rd, 2014

No comments

Poliisi ekutte abavubi abasoba mu 30 lwakuvubisa butwa. Bano bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa ku bizinga bye Mpaga mu district ye Namayingo.  Omubaka wa Pulezidenti mu kitundu kino Mpimbaza Hashaka agamba baataddewo dda akakiiko okuyigga abo bonna abavuba mungeri etali mu mateeka.