Amawulire
Eyali muganzi w’omubaka ajulidde
Kooti ye Makindye olunaku olwaleero etandise okuwulira okujulira kwa Adam Sulaiman Kalungi nga ono ye yali muganzi w’omugenzi Cerina Nebanda eyali omubaka w’eButalejja. Kalungi awakanya ensala y’omulamuzi Esther Nambayo eyamusiba emyaka 4. Munnamateeka wa Kalungi Evan Ocheng agamba omulamuzi yemalira ku bujulizi bw’oludda oluwaabi obwabwe […]
Mubaraka gumusse mu vvi
Kooti mu ggwanga lya Misiri esindise eyali omukulembeze w’eggwanga lino Hosni Mubaraka mu kkomera yebakeyo emyaka 3. Kiddiridde ono okusingisibwa emisango gy’okubulankanya ensimbi y’omuwi w’omusolo. Bbo batabani be ababiri okuli , Alaa ne Gamal, bbo basibiddwa emyaka 4. Oludda oluwaabi lugamba bano bemolera obukadde bwa […]
Ettofaali liri mitala wa Mayanja
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga olunaku olwalero wakubitekamu engatto ayolekere ekibuga Dubai mu United Arab Emirates okukunganya ettafaali eryokukulakulanya Obuganda. Omwogezi wa Buganda Denis Walusimbi agambye nti Katikiro wakumala enaku 3 e Dubai era ngawakusisinkana Abaganda abasoba mu 7000. Walusimbi agambye nti Katikiro era […]
Akasattiro e Makerere- abatujju bagaala kuyita mu bayizi
Poliisi ekyakunya abamu ku bayizi b’ettendekero lye Makerere oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti waliwo omuyizi eyasuubiziddwa obukadde 15 abantu abatanategerekeka singa asuula ekitereke kya bbomu ku ttendekero ly’ebyakompyuta. Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga Polly Namaye agamba baakunyizza dda abamu ku bayizi era balina webatuuse. Byo […]
Bukenya wakwesimba ku Museveni
Eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Gilbert Bukenya akinaguse nti teyejusa kunonyeza munna Dp Brenda Nabukenya kalulu mu district ye Luweero. Bukenya yakubidde Nabukenya kakuyege e Luweero era nategeeza nga Nabukenya bwali omuntu omutuufu okuleetawo enkyukakyuka mu district eno. Bukenya agamba Nabukenya Mukyala alengerera ewala, ate nga […]
Luweero ayuuguumye nga kampeyini zifundikirwa
Luweero ayuuguumye ng’abesimbyeewo ku kifo ky’omubaka omukyala bakomekkereza okuyigga akalulu. Aba NRM babadde Bombo ng’eno pulezidenti Museveni asabye abantu okulonda Rebecca Nalwanga kubanga alina obusobozi. E Wobulenzi, abavuganya gyebabadde nga bano babaddemu ababaka ba palamenti bonna. Bano era beegattiddwaako eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga era Munna […]
Enyonyi eyigga abawala efudde
Enyonyi ya Bungereza eyasindikibwa okuyambako mu kuwenja abawala abasoba mu 200 abawambibwa ab’akabinja ka Bokoharam efudde Ono ewaliriziddwa okugwa mu ggwanga lya Senegal gy’eri mu kukolebwaako. Enyonyi eno yava mu Bungereza ku lunaku lwa ssande Aba America bbo basindika obunyonyi obwevuga bwokka okuyigga abawala bano.
Abatembeeyi babayodde
Abatembeeyi b’okumakubo abasoba mu makumi 40 beebayoleddwa okuva mu kibuga. Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti abantu bano babajje ku luguudo lwa Luwum, Kampala ne wandegeya Kaujju agamba nti ekyewunyisa nti abasinga mu bakwatiddwa bayizi ba masomero abatalina kuba nga bakola Kawuju agamba nti […]
Ebya Monitor bifu- Wafula Oguttu
Abava ku ludda oluvuganya mu palamenti bawakanyizza ebyafulumidde mu mpappula z’amawulire nga biraga nti bannayuganda bangi bakyawagira pulezidenti museveni. Aba Daily monitor nga bali wamu n’ekibiina kya Uganda Governance Monitoring Platform kulaga nti abantu bangi bawagira eky’ababaka mu palamenti ekya pulezidenti museveni okuddamu okwesimbawo bwekiwagirwa […]
Abalala babanja byaabwe
Obusinga bw’ e Rwenzururu bwegasse ku bukulembeze bwennono obwenjawulo obubanja ebintu byabwo. Omusinga Charles Wesley Mumbere mu kawefube ono alonze akakiiko k’abantu 7 nga kakulembeddwamu Rev. Can. Nason Baluku okuteseganya ne gavumenti ku ky’okudizibwa ebintu byabwe . Wabula Mumbere agamba nti ebimu ku byebabanja ate […]