Amawulire

Owa poliisi abadde ava e Namugongo attiddwa

Ali Mivule

June 2nd, 2014

No comments

Omusirikale wa poliisi y’ebidduka nga abadde akolera ku poliisi y’e Wandegeya akoneddwa mmotoka emutiddewo wali ku luguudo lwa Northern by pass amakya galeero. Akabenje kano kagudde wali e Kiwatule nga ono abadde ava Namugongo gyeyabedde asuze nga akola. Okusinziira ku atwala poliisi y’eWandegeya eyebiduka Justus […]

Amayinja gatutta- abatuuze e Mukono bagenze mu kkooti

Ali Mivule

June 2nd, 2014

No comments

Abatuuze okuva mu byalo 3 basazeewo okukuba kampuni yabakyayina eyasa amayinja mu mbuga z’amateeka lwakubamalako mirembe. Bano nga bayita mu kibiina ekirwanirira eddembe ly’obuntu n’enkulakulana ekya center for human and development, abatuuze bemulugunya nti bazze bekubira enduulu olw’okukalubirizibwa kwebayitamu buli kampuni eno bweyasa amayinja nga […]

Taata w’omubaka Ssekikubo afudde

Ali Mivule

May 30th, 2014

No comments

  Wabaluseewo olutalo ku wa ew’okuziika taata w’omubaka Theodore Ssekikubo afudde olunaku lwaleero Sam Mwagalwa afudde enkya ya leero oluvanyuma lw’okukubwa puleesa Okusinziira ku mubaka Theodore Sekikubo , obuziby buvudde ku wa omugenzi gy’alina okuziikibwa ng’abamu bagaala aziikibwe Kangavve SSemuto ate abalala bawakanya eky’okumujja e […]

Amateeka amakakali ku bajulizi

Ali Mivule

May 30th, 2014

No comments

Poliisi evuddeyo n’amateeka amakakali ku by’okwerinda ng’ebula mbale olw’abajulizi lutuuke Abatunda ebintu ebitali bimu babaweze okuyingira mu biggwa ate nga ne pikipiki nazo ssizakukkirizibwa kumpi n’ebiggwa Ate bbo abantu ba bulijjo nabo bagaaniddwa okuyingiza eby’okulya mu biggwa . Poliisi era etaddewo  abasirikale abali mu yunifoomu […]

Amerika Eyingidde mu Byamunnamawulire Wa Dembe Fm

Ali Mivule

May 30th, 2014

No comments

  Ekitebe ky’eggwanga lya Amerika kuno kyagala poliisi eyanguyirize okunonyereza ku munnamawulire munnafe wano ku Dembe Fm Herbert Zziwa eyakubwa batuuni ku mutwe omusirikale wa poliisi bweyala agasaka mu kulonda omubaka omukyala ow’eLuweero. Zziwa yawaabwe dda ku poliisi olwokukompolwa nga akola omulimu gwe, nga era […]

Kkolera yakatta 2 E Namayingo

Ali Mivule

May 30th, 2014

No comments

  Omuwendo gw’abakakwatibwa  Kkolera mu district ye Nmayingo gulinye okutuuka ku bantu 40. Bbo 2 bebakafa wabula nga waliwo okutya nti obulwadde buno bwandiyongera okusasanira mu bitundu ebirala. Omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti  eno  Mpimbaza Hashaka agamba baakutekawo enkambi mu gombolola ye Namutumba okutekamu abalwadde […]

Omwana azaaliddwa n’amagulu ataano

Ali Mivule

May 29th, 2014

No comments

Mu ddwaliro e Mulago waliwo omwana azaaliddwa ng’alina amagulu ataano Omwana ono amagulu amalala asatu g’alina gamera kuva mu kiwato. Ono ono era alina embiriizi nnya n’ebitundu by’ekyama bibiri Omusawo akoze ku mukyala ono Dr Stanley Nahaima agamba nti omwana ono taliiko buzibu bwonna kyokka […]

Uganda ssiyakuva Somalia kati

Ali Mivule

May 29th, 2014

No comments

Amaggye ga Uganda ssigakuva mu ggwanga lya Somalia okutuusa ng’abatujju ba Alshabaab baweddeyo. Minista akola ku nsonga z’eby’okwerinda , Dr Crispus Kiyonga bino y’abyogedde bw’abadde awayaamu ne bannamawulire Kiyonga era awakanyizza ebigambibwa nti abatujju babaliisa akakanja ng’agamba nti beebakaabya abatujju bano Atangazizza nti era mu […]

Eby’obufuzi mu palamenti- Kadaga

Ali Mivule

May 29th, 2014

No comments

Sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga atadde akaka ku byobufuzi mu palamenti Bw’abadde ayogerera mu Lukiiko lw’abababaka ba palamenti okuva mu mawanga agali mu lubu olumu ne Bungereza, Kadaga agambye nti ababaka basanze obuzibu bwamaanyi okukola emirimu gyaabwe kubanga bakubwa ku nsolobotto Kadaga agamba nti kino […]

Mukkirize ebyavudde e Luweero

Ali Mivule

May 29th, 2014

No comments

Ekibiina kya NRM kisabiddwa okukkiriza nti kyawangulwa mu kulonda okwabadde e Luweero Kiddiridde pulezidenti Museveni okulumiriza abavuganya okubba akalulu akaleka nga munna Dp Brenda Nabukenya ne Mubaka Wabula ab’omukago gw’ebibiina ebirwanirira ennongesereza mu mateeka g’eby’okulonda bagamba nti NRM erina okussa ekitiibwa mu byasalibwaawo abantu Akulira […]