Amawulire
Ekidyeeri kiddamu leero okukola
Omukulembeze w’ggwanga Yoweri Kaguta Museveni asubirwa okutongoza ekidyeri ekigenda okutambuza abantu okuva e kasaana okudda e Kamuli mu district ye Kayunga. .ekidyeri kino ekyamalawo obuwumbi 3 billion kibadde kyafiira ku mwalo gwe Nabuganyi Landing mu gombolola ye Busaana nga era abatuuze babadde bakaaba olw’entambula eyakaluba. […]
Abantu bataano bandiba nga bafiiride mu kabenje
Agatanakakasibwa gooleka nga abantu abasoba mu 5 bwebandiba nga abafiiride mu kabenje , nga akagudewo akawungeezi ka leero okumpi n’omugga kafu. Bus e kozze akabenje ya company Baby Coach Services number UAP 908V nga eno ebade eva e juba okudda mu Uganda. […]
Museveni yeetondere Omukama
Obukama bwe Tooro bwagala pulezidenti Museveni yeetonde olw’okuvvoola omukama waabwe Oyo Nyimba Kabamba Ng’abuuzibwa ku by’omukama Oyo Nyimba okwekalakaasa ng’asula enjala,Pulezidenti Museveni yategeeza nga Oyo bw’ali omwana omuto era ng’okusiiba kwakumuyamba okukendeeza ku mubiri gwe oguyimbulukuse Akulira abavubuka mu Tooro, Richard Birungi agamba […]
Abalokole balongoosezza ekibuga
Abakulembeze b’abalokole bakedde kuddukirira mulanga gwa KCCA okulongoosa ekibuga kampala. Bano bagogodde emyala, okukungaanya kasasiro saako n’okwera enguudo ezenjawulo okwetolola ekibuga. Pastor Fred Mugambwa okuva mu kanisa ya carnival temple e Kitintale yoomu ku bakulembedde banne okulongoosa n’ategeza nga bwebabadde batukiriza obukulembeze bwaabwe okufuuka eky’okulabirako […]
Embalirira- abamu bagisanyukidde ate abalala bakaaba
Abasomesa basanyukidde ekya gavumenti okubongeza omusaala Gavumenti olunaku lwajjo yalangiridde obuwumbi 450 okukola ku musaala gw’abasomesa oguludde nga gubanjibwa. Ssabawandiisi w’abasomesa James Tweheyo agamba nti kati balindiridde kulaba oba kino kyeyoleera ku nsimbi ezinabaweebwa. Bbo abakyala bbo nno ssibasanyufu n’embalirira eno gyebagamba nti egenda […]
Amaggye Galabudde Abayimbi-Muve ku byambalo byaffe
Eggye ly’eggwanga lirabudde abayimbi abegumbulidde omuze gw’okwambala ebyambalo bya maggye awatali kufuna lukusa okuva eri ab’obuyinza. Mu mateeka, abantu baabulijjo tebakirizibwa kwambala byambalo bino nga era akwatibwa singa gumukka mu vvi asibwa emyaka egitasukka 7. Omwogezi w’amaggye g’eggwanga paddy Ankunda agamba nti abantu baabulijjo basanye […]
Embaliririra- amafuta, Mobile money ne sukaali birinnye
Embalirira y’eggwanga mulindwa olwaleero esomeddwa ng’eri b’erese nga basanyufu ate abalala nga bakaaba Mu basanyufu mwemuli abakozi ba gavumenti aboongezeddwa emisaala Wabula embalirira eno ezze n’emisolo emipya kko n’okuzuukusa emikadde egyajjibwaawo. Mu gizuukuse mwemuli egijjibwa ku kompyuta, ku nsigo n’emijimusa, ba nnayini bawooteri nabagasulamu ne […]
Ensimbi z’abavubuka ziriwa
Ababaka ba palamenti abakikirira abavubuka baagala banyonyolwe embaliira y’ensimbi ez’omwaka gw’ebyensimbi 2013/2014 kiki kyezakola mu kukulakulanya abavubuka. Kino kigyidde mu kiseera nga embalairira y’omaka 2013/2014 ebulako saaawa mbale okusomwa . Omubaka w’abavubuka okuva mu bugwanjuba bw’eggwanga , Gerald Karuhanga agamba ensimbi ezaali ez’okukulakulanya abavubuka tebaikubangako […]
Akabenje ku Nyanja- Omuyiggo gukomye
Poliisi yokumazzi kyaddaaki esazizaamu kawefube w’okugezaako okunyulula emirambo gy’abantu 34 ababbira mu Nyanja Nalubaale ku sande ewedde. Kigambibwa nti abantu abasoba mu 34 babulidde mu Nyanja eno oluvanyuma lw’eryato mwebabadde batambulira okubbira wakati w’ebizinga bye Kiziru ne Bulago. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’amiriraano Patrick […]
Minista Kuteesa y’akulira olukiiko lw’ekibiina ky’amawanga amagatte
Kyaddaaki minisita w’ensonga z’ebweru w’eggwanga Sam Kuteesa akakasiddwa ku bwa pulezidenti w’olukiiko lw’ekibiina ky’amawanga amagatte. Kuteesa yalondeddwa mu kibuga Newyork mu kiro ekiyise amawanga 193 nga wakubeera mu kifo kino omwaka mulamba. Yadde nga abamu ku ba seneta b’eggwanga lya Amerika baabadde bamusimbidde ekkuuli olw’etteeka […]