Amawulire

Abazigu balumbye poliisi

Ali Mivule

June 19th, 2014

No comments

Poliisi eri ku muyiggo gw’abatamanya ngamba abalumbye poliisi ye Mubende nga baagala okubba emmundu.   Ba nkuyege tetya ssabo bano  baasose kulumba maka g’adumira poliisi n’akulira eby’okunonyereza.   Adumira poliisi ye Mubende  Enock Abaine agamba bawanyisiganyizza amasasi era mu kavuvungano kano tewali musirikale wa poliisi […]

Eby’okwerinda bibulamu ku palamenti- babaka

Ali Mivule

June 18th, 2014

No comments

Ababaka okuva ku ludda oluvuganya gavumenti basimbudde nakakongo nga bagaala abavubuka abakwatiddwa ku palamenti olunaku lwajjo bayimbulwe Robert Mayanja ne Norman Tumuhimbise bakwatiddwa bwebabadde beekalakaasiza ku palamenti n’obubizzi obwa kyenvu ku palamenti. Ababaka okubadde Bernard Atiku,Joseph Ssewungu ne Mohammed Kivumbi bagamba nti abantu bano ddoboozi […]

Okugula ku batembeeyi- bulungi bwansi kye kibonerezo

Ali Mivule

June 18th, 2014

No comments

Abantu musanvu abakwatiddwa nga bagula ku batembeyi kkooti ebalagidde bakole bulungi bwa nsi. Ku bano kuliko omuyizi Salim Musoke eyasangiddwa ng’agula sitokisi. Omulamuzi w’eddaala erisooka ku City Hall Erias Kakooza bano abalagidde okukola essaawa emu n’ekitundu eya bulungi bwa nsi nga basindikiddwa KCCA gy’ewa kasasiro […]

Musasule emisolo- Minisita alagidde ab’amasomero

Ali Mivule

June 18th, 2014

No comments

Nga bannanyini masomero bakyakaaba musolo ogwababinikiddwa mu mbalirira ey’omwaka ogujja, yye minister abatwala ow’ebyenjigiriza Jessica Alupo abawadde amagezi basasula emisolo gino Mu mbalirira y’omwaka ogujja, emisolo gyassidwaawo ku masomero g’obwannanyini ekintu ekivumiriddwa ennyo bannanyini masomero abasaba nti ebintu bikyusibweemu ng’embalirira tennaba kuyita Wabula yye Alupo […]

Paaka ya Kafumbe Mukasa eggaddwa

Ali Mivule

June 18th, 2014

No comments

Abasabaaze abakozesa paaka ya Kafumbe Mukasa bakonkomadde oluvanyuma lwa paaka eno okuggalwa Paaka eno yaggaddwa olunaku lwajjo aba KCCA ne poliisi lwakubeera mu kifo ekikyaamu. Taxi zonna ezibadde mu paaka eno kati zasindikiddwa mu paaka ya USAFI Abasinze okukosebwa beebasuubuzi abalina emigugu Ssentebe w’ekibiina ekigatta […]

Bano tebasaaga- Beekalakaasizza n’embizzi

Ali Mivule

June 17th, 2014

No comments

Poliisi ekutte abavubuka babiri ababadde beekalakaasiza ku palamenti n’embizzi. Robert Mayanja ne Norman Tumuhimbise ng’ono muyizi ku ttendekero lya IUIU bakubye poliisi akawunike nebayingira mu luggya lwa palamenti n’embizzi zino nga kw’otadde n’ebiwandiiko ebivumirira enguzi eri mu babaka mu palamenti. Obubizzi buno babadde babusiize langi […]

Katikkiro aboggode ku byapa-byaffe

Ali Mivule

June 17th, 2014

No comments

Kyaddaaki kamala byonna wa Buganda Charles Peter Mayiga avuddemu omwaasi ku byaapa ebyaweebwa Buganda Kamalabyonna atuukidde ku kuwakanya bigambo bino n’ategeeza nga bwebatannafunako kiwandiiko kyonna okuva eri gavumenti nga kibalagira okuzzaayo ebyapa ebyogerwaako. Katikkiro agambye nti  ebigambo bino tebiriiko mitwe na magulu era nga bigendereddwaamu […]

Amabeere ga Bad Black gavunda

Ali Mivule

June 17th, 2014

No comments

Mwana muwala Shanita namuyimbwa amanyiddwa nga Bad  Black ebibye bifuuse namulanda nga mabeere ga mbwa Black azzeeyo mu kkooti ejulirwaamu ng’ayagala emuyambe ku mabeere agatandise okuvunda Black yagenda nebamupika amabeere era ng’aba alina okudda mu ddwaliro negakolebwaako okumala ebbanga Ng’ayita mu bannamateeka be aba Okello […]

Abakadde balwana okufuna ezaabwe

Ali Mivule

June 17th, 2014

No comments

Abakadde ebitundu bibiri ku kikumi bokka beebafuna akasiimo kaabwe nga bakeetaga. Bino biri mu alipoota ekoleddwa banka y’ensi yonna ku bakadde n’ebyenfuna byaabwe kko n’obulamu mwebabeera okutwaliza awamu Ng’ayogerera ku mukolo gw’okutongoza alipoota eno, omukugu mu nsonga z’ebyenfuna, Rachael Sebudde agambye nti Uganda lyerimu ku […]

owa KCCA akwatiddwa lubona ng’alya enguzi

Ali Mivule

June 17th, 2014

No comments

Waliwo omusirikale wa KCCA akwatiddwa lubona n’ekyoja mumiro okuva ku batembeeyi Paul Birungi bamusanze ku miniprice ng’ono yadde abadde alina okukwata abatembeeyi bamusanze batundira mu maaso ge. Akwanaganya poliisi n’omuntu wa bulijjo Anatoli Muleterwa  agamba nti omusajja ono bamusanze n’ebinusu ebiyitirivu mu ngalo era nga […]