Amawulire

Abakozi mu ggaali y’omukka beediimye

Ali Mivule

June 26th, 2014

No comments

Akediimo k’abakozi ba kampuni y’eggaali y’omukka abasoba mu 700 kakyagenda maaso nga bemulugunya olwabanaabwe 3 abagobeddwa mungeri etamatiza.     Abakozi bano bagamba kaluma nywera yenna ava ku ndagaano ezabawebwa kampuni eno eya  Rift valley railways oluvanyuma lw’okugula ekitongole ky’eggali y’omukka ekya  Uganda railways corporation. […]

Omwoleso gwa Buganda gugguddwaawo

Ali Mivule

June 25th, 2014

No comments

Omwoleso gwa Buganda ogw’eby’obulambuzi gugguddwaawo mu butongole. Abasuubuzi abenjawulo abantu ebintu omuli ebyokulya, ebyobuwangwa,ebisolo eby’omusiko byebigenda okwolesebwa okutuuka ng’enaku z’omwezi 1 omwezi ogujja. Omwoleso guno gutandise n’okukumba  okuva ku masiro e Kasubi okukulembeddwamu minister wa Buganda ow’ebyobulambuzi Ritah Namyalo. Bo abolesa mu mwoleso guno balina […]

Ali Mivule

June 25th, 2014

No comments

Gavumenti eri mu kawefube w’okukyuuka mu luyimba lw’eggwanga okulwongeramu ebinnonnoggo. Omulimu guno gwakumalawo obukadde 187 era nga gukulembeddwaamu omuyimbi era munnakatemba Alex Mukulu. Ng’ayogerako eri bannamawulire, Mukulu agambye nti bagaala oluyimba luno owkeyongera okuwulikika obulungi n’okulwongeramu obulamu. Oluyimba luno lwayiiyizibwa omugenzi George William Kakoma era […]

KCCA etabukidde aba taxi ku paakingi

Ali Mivule

June 25th, 2014

No comments

Abagoba ba taxi mu kibuga bakangudde eddoboozi ku ky’okuboyebwa kwa taxi ezisimba ku makubo Aba KCCA olwaleero bakoze ekikwekweto mwebakwatidde taxi zonna ezisimba awakyaamu ng’enguudo ezikoseddwa kwekuli Ntinda ne Jinja Road. Aba taxi beetwogeddeko nabo bagamba nti basobeddwa ewaka ne mu kibira kubanga bu webadda […]

Eyasomola ebyaama ku Kaihura avunaanibwa mu nkukutu

Ali Mivule

June 25th, 2014

No comments

Okuwulira omusango gw’omusirikale wa Poliisi agambibwa okusomola ebyama bya ssabapoliisi w’eggwanga Ronald Poteri kugenda maaso mu Kkooti ya Buganda Road , wabula nga temukiriziddwa banamawulire   Kino kiddiridde omuwabi wa Gavumenti Lino Anguzo okusaba ebigenda maaso byonna bikwatibwe ku katambi kubanga ensonga eno muziziko munene […]

Kooti teziridde nguzi woowe

Ali Mivule

June 25th, 2014

No comments

Ekibiina ekirwanyisa obuli bwenguzi mu ggwanga  kifulumizza alipoota eraze nga abalamuzi mu kkooti ento mu bibuga ne mu byalo bwebalya enguzi nebadda nemukati nebewogoma. Okusinzira ku alipoota eno, okunonyereza kukoleddwa mu makooti g’ebitundu nga Nakawa,Buganda road,Mukono,Kasangati Mityana  Mpigi ,Kabale ,Kisolo n’ewalala. Alipoota eraga nga abalamuzi […]

Okunyweeza eby’okwerinda-Kaihura alambudde palamenti

Ali Mivule

June 24th, 2014

No comments

Mu kawefube ow’okukakasa nti buli kimu kiri bulungi, aduumira poliisi gen Kale Kaihura olwaleero abadde mutaka ku palamenti okulambula ebintu nga bwebiri Bino byonna biddiridde abavubukai okubuuka poliisi nebayingiza embizzi zino ku palamenti. Kaihura agamba nti palamenti ne ofiisi ya pulezidenti bifo bikulu era ng’eby’okwerinda […]

Omusomesa akubye omwana ku busajja

Ali Mivule

June 24th, 2014

No comments

Omusomesa ku ssomero lya Mpooma Royal College e Mukono amazeeemu omusubi oluvanyuma lw’okukuba omuyizi. Godfrey Ntalaka omwana omuggo gw’abadde awuuba gumukubye ku busajja Taata w’omwana ono agamba nti omwana waabwe basooka kumubakweeka era bagenze okufuna omwana ono okumutwala ku Case clinic ng’embeera etandise okusajjuka Wabula […]

Laddu esse omwana

Ali Mivule

June 24th, 2014

No comments

Laddu esse omwana n’okulumya abalala 13 e Butalejja Abaana bano babadde ku ssomero lya Hegesa primary . Kiddiridde enkuba eya maanyi etonnye mu kitundu kino. Omwana afudde abadde asoma mu kibiina ky’okusatu nga ye Zainabu Mwima ow’emyaka 10. Aduumira poliisi ye Butalejja Alex Wabwire agamba […]

Aba USAFI beekalakaasa lwa Ttooyi

Ali Mivule

June 24th, 2014

No comments

Abakolera mu katale ka USAFI bavudde mu mbeera nebekalakaasa ng’obuzibu buva ku Kabuyonjo Abantu bano bagamba nti kabuyonjo balina emu ate nga terina mazzi. Bano era bawakanya n’eky’okubasasuza shs 200 ez’okuyingira mu Kabuyonjo nga bagamba nti zandibadde zisalwaako.