Webuwungeeredde nga agavva e kaseese gooleka nga omuwendo gwabalumbaganyi abatidwa nga bagezaako okulumba gulinye, nga kakano gutuuse ku bantu 52 okuvva ku 42 webwakeeredde.
Ayogerera amagye ga UPDF mukitundu kino Lt Nishima Rwemizhuma atubuulide nti nakati omuyiggo gwabo abeenyigidde mu kikolwa ky’okutta banansi 9 gukyagenda mu maaso
Abatidwa kuliko Jacob Muhindo, nga ono abade muserikale , konne …
E Kasese abantu abasoba mu 13 bakakasidwa okuba nga batidwa ,nga bano beebamu kwabo abatidwa abakambwe abaalumbaganye district esatu okuli Kasese , Bungibugyo ne Ntoroko akawuungeezi akayisse.
Abagenzi kuliko Jacob Muhindo, nga ono abade muserikale , konne Corporal Tibimanya Grace nga kwogasse n’ab’omunjuuye basatu abaatekedwa omuliro, songa era ku kyalo ky’ekimu kuliko n’abntu abalala basatu abatidwa.
Yyo…
Omusango gw’abatuuze be Bamutakudde ne Kyampisi abawaaba kkampuni y’aba china guwulirwa nga 9th omwezi guno
Abatuuze bano bawaaba aba china beebagamba nti bakuba amayinja
Abatuuze bano bagamba nti olw’amayinja gano abakyala bangi bavuddemu embuto, ate nga bangi balwadde n’abalala.
Amyuka omuwandiisi wa kkooti enkulu Mary Khainza yategeezezza nga bweyabadde tasobola kugenda mu maaso nakusalawo ku musango guno n’asabayo…
Abazadde abalina abayizi mu senior esooka mu somero lya Kibuli secondary school basabiddwa okukima abaana babwe.
Kino kiddiridde omuliro okukwata ekisulo ky’abayizi era ebintu by’abaana 118 n’ebitokomoka.
Akulira esomero lino Bruhani Matovu, agambye nti omuliro guno gwandiba nga gwavudde ku balubu eyabadde eyaka eyagudde ku buliri bw’omu ku bayizi, olwo amasuuka negakwata omuliro.
Matovu agambye nti tewali muyizi…
Okubwatuuka okw’amaanyi wamu n’amasasi biwuliddwaako okumpi ne palamenti y’eggwanga lya Somalia ng’ababaka bagenda mu maaso n’okuteseeza eggwanga.
Amawulire agavaayo goleka nga bwewaliwo abantu abalumiziddwa mu bulumbaganyi buno, obuteberezebwa okuba nga bukoleddwa oluvanyuma lwa bbomu etegeddwa mu motoka.
Gyebuvuddeko banalukalala ba al-Shabab 10 beebafira mu bulumbaganyi obwakolebwa ku palamenti emyezi mukaaga emabega.
Obulumbaganyi buno buzze nga wakayitta wiiki emu…
Abantu okuva mu maka agasoba mu 200 e Banda beebakaaba oluvanyuma lwa Kampala Capital City authority okusanyawo amaka gaabwe.
Kino kikoleddwa okuzimba paaka omunasimba emmotoka ze Nakawa ezigenda okusengulwa akadde konna
Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti bagaala kukendeezaa ku mujjuzo mu kibuga.
Wabula abatuuze beemulugunyizza ku ky'okusengulwa nga tebaliyiririddwa.
Bano bagaala KCCA ebasasule era nga bagamba nti…
Abatuuze be Masajja mu gombolola ye Makindye baliko omusajja gwebakubye emiggo egyibuzeeko akatono okutta,oluvanyuma lw’okutomera abantu 3.
Omusajja ono atanategerekeka mannya abadde avuga emotoka y’ekika kya Mark 2, kigambibwa nti abantu bano abatomeredde ku luguudo lye Salaama, n’agezaako okudduka kyokka ng’aba aba boda boda nebamusimbako.
Omu kubabaddewo Lawrence Nakabaale agambye nti omusajja ono atomedde ne taxi bbiri…
Poliisi egamba nti abantu ababiri abakwatiddwa okuva ku Forest Mall tebaabadde batujju.
Kigambibwa nti abakwatiddwa abadde mukyala ne mutabani we nga bagenze kukolebwaako.
Meheleti Beheran 65 ne mutabani we poliisi egamba nti nzaalwa ze Eritrea.
Omwogezi wa poliisi Fred Enanga atugambye nti nga bamaze okwekeneenya ababiri bano bakizudde nti tebalina bulabe bwonna bwebabadde bateekateeka kukola ku Uganda.
Enanga agamba…
Eyali muganzi w’omubaka omugenzi Cerina Nebanda ayimbuddwa.
Kkooti enkulu mu kampala ng’ekubirizibwa Lameck Mukasa ejjeeko Kalungi emisango egyaali gimusingisiddwa era n’ayimbulwa
Omulamuzi agambye nti Kalungi ssi musawo nti yeeyalina okujjanjaba Nebanda ate ng’era yakola kyonna ekisoboka okutaasa obulamu bwe naye nebigaana
Mukasa agamba nti akalwaliro awasooka okutwalibwa Nebanda keekakola ensobi okuwa Nebanda eddagala ekyaamu
Kalungi yasooka kusingisibwa omusango gw’okutta…
Abasajja babiri abagambibwa okubeera abatujju bakwatiddwa kju kizimbe kya Forest mall mu kampala.
Omu ku bbo abadde ayambadde ng'omukyala.
Kigambibwa okuba ng'ababiri bano poliisi yabalinnye kagere okuva ku kisaawe entebbe okutuuka w'ebakwatidde