Amawulire

Katikkiro agenda Japadhola ku ttofaali

Ali Mivule

July 22nd, 2014

No comments

Katikkiro wa Buganda owek. Charles Peter Mayiga asabye obukulembeze bw’ennono obutali bumu okukwatagana mu kulaba nti bukulalukanya abantu ate n’okubakuuma nga bali bumu. Katikkiro bino abyogedde asisinkanye abakulembeze okuba mu Japadhola okuva e Tororo nga bakulembedddwaamu katikkiro waabwe Jeresol Okecho. Mayiga agamba nti abakulembeze b’ennono […]

Obubenje ku lwe Masaka bususse

Ali Mivule

July 22nd, 2014

No comments

Poliisi yenyamidde olw’obubenje obufuuse baanabaliwo  ku luguudo oluva e masaka okudda e Kampala nga banji obulamu babulese awo. Kino kiidiridde akabenje k’olunaku olw’eggulo akaagudde ku luguudo lw’e Masaka ne katta abantu 3 n’okulumya 14. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Buganda   Philip Mukasa  agamba oluguudo […]

Norbert Mao Mulwadde

Ali Mivule

July 22nd, 2014

No comments

Ssenkagale w’ekibiina kya DP Norbert Mao addusiddwa mu ddwaliro lye Nairobi nga olubuto n’okulumizibwa mu kifuba bimubala embiriizi. Mao yafunywe okulumizibwa kuno nga ali mu lukungaana olumu wali mu disitulikiti ye Gulu naddusibwa mu ddwaliro lya  Lacor gyeyagyiddwa okutwalibwa e Nairobi okwongera okwekebejebwa. Kati ssabawandiisi […]

Abasiraamu mwerinde ekiro ekitukuvu

Ali Mivule

July 21st, 2014

No comments

Abayisiraamu basabiddwa okuzuukuka ekiro basabe mu nnaku zino ekkumi ezisembayo naddala mu nnaku z’ensusuuba Mu nnaku zino ekkumi ekiro ekitukuvu ekimanyiddwa nga Laitulqadir wekibeererawo era ng’okusinziira ku Quran, buli ayimirira ku musaalo n’asaba Allah we afuna ky’ayagala. Imam w’omuzikiti wa Bilal e Bwaise Sheikh Muhammad […]

Mutabani wa Juliana aziikibwa lwakutaano

Ali Mivule

July 21st, 2014

No comments

Omulambo gwa mutabani w’omuyimbi Juliana Kanyomozi tukitegeddeko nti bikyuseemu nga gwakutuuka olunaku lw’enkya Keron Kabugo yafudde olunaku lwajjo oluvanyuma lw’okuziyira Enteekateeka efulumiziddwa ab’omumaka eraga nti olwaleero wagenda kubaawo olumbe mu maka ga Juliana e Lungujja n’ebbuga mu maka ga jjajja w’omugenzi olunaku lw’enkya Ku lw’okusatu, […]

Ow’obugaali ajulidde

Ali Mivule

July 21st, 2014

No comments

Eyali omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule ya gavumenti ez’ebitundu John Kashaka ajulidde. Ng’ayita mu bannamateeka abakulembeddwaamu Nsubuga Mubiru Kashaka aawakanya eky’okusingibwa omusango n’ekibonerezo ekyamuweebwa Kashaka n’abalala bataano basingisibwa emisango gy’okwezibika ensimbi z’obugaali Baweebwa ebibonerezo eby’enjawulo nga biva ku kwebaka e Luzira okumala emyezi abiri okutuuka ku […]

Abakola ku by’entambula batabuse

Ali Mivule

July 21st, 2014

No comments

Ekibiina ekigatta abagoba ba mmotoka , ab’obugaali n’abo bonna abali mu mulimu gw’entambula y’olukale mu kibuga bawadde KCCA omwezi gumu okutereeza entambula. Bano batuuzizza olukiiko lwaabwe ku ofiisi z’ekibiina kya COFTU mu kampala mwebalombojjedde ennaku gyebayitamu okukolera mu kibuga. Akulira ekibiina kya COFTU nga kino […]

Omupoliisi akubye omuntu essasi

Ali Mivule

July 21st, 2014

No comments

Poliisi e Kalangala ekutte basajja baayo babiri abagambibwa okutta omuntu atalina musango Bino bibadde ku kyaalo Buswa e Bujumba ku bizinga bye Kalangala. Owa bodaboda y’asoose okuloopa nti bamubbyeeko piki era poliisi mu kukwata abateberezebwa okubeera ababbi ekubye amasasi mu bbanga okukkakka ng’esse salumaanya. Aduumira […]

Ensawo ya Buganda tewera

Ali Mivule

July 21st, 2014

No comments

Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti amakubo Buganda mw’ejja ensimbi gakyali mafunda. Katikkiro okwongera bino abadde mu lukiiko lwa Buganda oluyisiza embalirira y’omwaka gwa 2014/15 ng’eno ya buwumbi 7. Wabula Katikiro agambye nti kwenyamiza okulaba nga Buganda eyakamala emyaka egyisoba mu 1000, terina […]

Uganda eyongedde okwerinda Ebola

Ali Mivule

July 21st, 2014

No comments

Minisitule y’ebyobulamu eyongedde okunyweeza ensalo za Uganda ne Congo okutangira obulwadde bwa Ebola okutuuka mu Uganda Atwala ebyobulamu mu bitundu bya wansi mu minisitule y’ebyobulamu, Dr. Anthony Mbonye agamba nti era bamaze okulagira abakulira amalwaliro agali ku nsalo ya Uganda ne Congo okubategeeza amangu ddala […]