Amawulire
Mutabani wa Juliana aziikiddwa
Keron Rapheal Kabugo olwaleero agalamiziddwa ku biggya bya bajjajja be e Kiryagonja Matugga. Omwana ono aziikiddwa namungi w’omuntu avudde e Bule b’ebweeya nga mwemubadde, abayimbi,bannakatemba, bannabyabufuzi, nga n’aduumira amaggye g’eggwanga Gen Katumba Wamala Talutumiddwa mwana Omusasi waffe Abdul Wasike atutegeezezza nti abantu b’okukyaalo nabo bajjumbidde […]
DFCU banka yeddizza Global Trust- ebadde tekola magoba
Banka ya DFCU emaze okweddiza banka ya Global Trust Kiddiridde banka y’eggwanga okulangirira nga bw’eggadde banka eno kubanga ebadde ekola esala era ebadde yakatta obuwumbi 60 bukyanga etandikibwaawo. Gavana wa banka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti abantu ababadde bakozesa banka eno kati bakusobola okukozesa akawunta […]
Basaddaase Omwana
Poliisi e Buikwe eriko abasawo b’ekinansi 2 bekutte ku bigambibwa nti baasaddaase omwana. John Kisawuzi ne Ben Ssekamwa kigambibwa nti nga 14 omwezi guno baawamba Jimmy Luyinda ow’emyaka 17 nga mutabani wa Ssango Luyinda omuvuzi wa bodaboda ku kyaalo Luleega nebamusaddaaka. Oluvanyuma omulambo gw’omwana […]
3 ku baakubiddwa laddu bali ku ssaala
Basatu ku bayizi abakubiddwa laddu e Bushenyi bali mu mbeera mbi nga era ssaala zokka. Olunaku olw’eggulo abayizi 8 aba Buramba Primary School e Bushenyi- Iskhaka bafiiriddewo oluvanyuma lwokukubwa laddu. Bbo 17 baatwaliddwa mu ddwaliro lya Kampala International University Teaching Hospital okwabadde n’omusomesa waabwe […]
Mutabani wa Juliana bamusabidde
Abayimbi , abakulu mu gavumenti, n’abantu abalala balaze omuyimbi Juliana Kanyomozi omukwano bwebeyiye mu bunji ku Kanisa All Saints e Nakasero okusabira mutabani we kati omugenzi Keron Raphael Kabugo. Okusaba kutandise ku ssaawa 3 ez’okumakya nga era e kanisa ekubyeko bugule. Bwabadde ayogerako eri abakungubazi […]
Laddu esse abaana munaana
Laddu esse abayizi munaana ab’essomero lya Burambi primary school. Essomero lino lisangibwamu disitulikiti ye Ishaka . RDC we Bushenyi, Hajji Isaac Kawooya agambye nti akabenje kano kabaddewo mu kaseera k’olukuba olutonnye akawungeezi ka leero. Kawooya wabula agambye nti ekibenyamizza kwekulaba nga essomero lino teririna buuma […]
Bamukudde kisaganda
Abasawo mu ggwanga lya Buyindi baliko omuvubuka w’emyaka 17 gwebakudde amannyo agawerera ddala 232. Okukola kino abasawo bamaze essaawa musanvu nga balongoosa omuvubuka ono. Ashik Gavai yatwaliddwa mu ddwaliro ng’oluba lwe lwonna luzimbye nga n’obulumi bw’alimu buzibu era nga kino akibaddeko okumala emyezi 18. Abasawo […]
Poliisi erabudde Mbabazi
Poliisi esabye ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi okwewala okweyingizi mu nsonga z’okunonyereza ku ttemu eryakolebwa mu bitundu bye Kannungu n’bitundu ebiriranyewo. Olunaku olw’eggulo ssabaminisita John Patrick Mbabazi yasinzidde mu parliament naalumiirizza ssenkaggale wa poliisi Gen Kale kaihura ,okulagira basajja be okukwata abalonzi be mu […]
Bakayungirizi b’emmotoka abasinga babbi-Poliisi
Omuduumizi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Andrew Felix Kaweesi alagidde abaddukanya ebibanda ebitunda emotoka mu kampala okukomya omuze gw’okukozesa bakayungiruzi , b’agamba nti badda kubaguzi nebabanyagako ensimbi zaabwe. Kaweesi agamba nti emisango nkumu gyetuumye mu poliisi ez’enjawulo, ng’abaguzi bawawaabira bakayungirizi ababaguza emotoka , kyokka bwebamala […]
Ssabassajja asaasidde Juliana okuviibwaako mutabani we
Ssabasajja Kabaka awerezza obubaka obukungubagira omugenzi Keron Kabugo mutabani wa Juliana Kanyomozi. Abutisse Katikkiro Charles Peter Mayiga asaasidde bazadde b’omwana kyokka n’abasaba bagume kuba mukama y’asalawo. Yye Jjajja w’omwana, Kabugo Misuseera agambye nti wabaddewo okusika omuguwa ku ky’okulwaawo okuziika omwana ono kyokka nga yamaze n’akkiriza […]