Amawulire
Omuliro Gusanyizzawo Ebiwera ku Bbiri E wandegeya
Omuliro gusanyizaawo obuyumba bw’abatunda entebe wali ku bbiri nga wakava e Wandegeya kumpi n’enkulungo y’emulago. Obuyumba buno nga Obusinga bwambaawo bwebusaanyewo nga bananyini bwo kati bali mu maziga Okusinziira ku akulira ekitongole kya poliisi ekizinya mooto Joseph Mugisa, bayitiddwa bukubirire nga bukya era baatuse dda […]
ABABADE BATIGOMYA ABANTU KU NORTHERN BYPASS BAKWATIDWA.
E kawempe police ekutte abateberezebwa okubeera abanyazi , nga bano bebabade batigomya abantu nadala ku luguudo lwa Northern bypass. Akulira police ye kawempe Denis Tahani agamba nti mubebakutte mwemuli na’babakulira akulira abanyazi bano . Kubano kuliko Fred Sserwada ne Mugerwa Tonny , nga […]
Abalidde embizi enfu bataawa .
Ku kyalo Madda mu gombolola ye kawolo, abantu mwenda badusidwa mu dwaliro e lugazi ,oluvanyuma lw’okulya embizi eyabade esuulidwa. Kigambibwa nti bano okuli ne defence w’ekyalo,baasanze embizi eno nga esuulidwa, wabula bbo tebaamaze nakwebuuza kigisse nebagibaaga . Mukaseera kano bano bali mu dwaliro […]
Aba taxi beekalakaasa
Abagoba ba taxi bakedde kwekalakaasa Kiddiridde aba KCCA okuyisa ekiragiro nti emmotoka zonna ezisimba mu paaka ya cooper Complex zidde mu paaka ya USAFI Paaka eno wetwogerera nga nkalu era nga yayiriddwaamu ettaka. Abataxi betwogeddeko nabo bagamba nti KCCA tebebuzizzako ate nga balina endowooza zaabwe […]
Akulira poliisi e Kajjansi attiddwa
Abazigu abatanategerekeka basindiridde aduumira poliisi ye Kajjansi Joseph Bigirwa amasasi agamujje mu budde. Abazigu bano babadde bagezaako okubba essundiro ly’amafuta wamu n’akayumba ka mobile money mu kabuga ye Kajjansi. Bano bawanyisiganyiza amasasi ne polisi okukkakkana ng’aduumira poliisi Joseph Bigirwa attidwa. Omwogezi wa poliisi mu Kampala […]
Omukozi agambibwa okutta omwana atuuyanye
Omukozi w’awaka agambibwa okutta omwana wa mukama we ow’myezi 2 olwaleero asimbiddwa mu kkooti. Mercy Natukunda nga wa myaka 23 avunaaniddwa mu maaso g’omulamuzi Juliet Hatanga Ono wabula takkiriziddwaako kubaako na ky’anyega lw’ensonga nti omusnago gw’aliko gwannaggomola Kigambibwa nti nga 25 omwezi oguwedde, omukozi ono […]
Enjovu zisse basatu
Enjovu zisse abantu basatu ku kyaalo Lwari mu disitulikiti ye Oyama Ensolo zino zibadde zitolose mu kuumiro ly’ebisolo erya Murchison Falls Amyuka omwogezi wa poliisi Patrick Onyango abattiddwa abamenye nga Ronald Okori , Vincent Obua ow’emyaka 70 ne Edward Ninya owe 60 Abatuuze bawanjagidde aba’ebisolo […]
Omusirikale attiddwa
Poliisi etandise okunonyereza ku kufa kw’omusirikale . Omusirikale ono afiiridde mu kuwanyisiganya amasasi okubadde e Nalumunye nga poliisi erwana n’ababbi Poliisi esoose kutegeezebwa nga bwewabaddewo omubbi ayingidde amaka kyokka okutuukawo nga bangi ate nga balina emmundu Amyuka omwogezi wa poliisi, Patrick Onyango agaba nti omugenzi […]
Lunaku lwa leediyo
Olunaku olwaleero abakozi ba leediyo lwebakuza olunaku lwabwe okwetoloola ensi yonna. Olunaku luno lutambulira ku mulamwa gwokutumbula embeera z’abakyaala mu mulimu gwa leediyo. Yadde nga omulimu gwa leediyo gusingamu basajja , waliwo abakyala abamu abamaanyi abasobodde okuyitimuka mu mulimu guno era bano basabye ne banaabwe […]
Omubaka akubye banne kamulali
Wabaddewo akasattiro mu palamenti ya Buyindi, omubaka bw’akubye omukka gwa kamulali mu banaabwe. Omubaka ono yoomu ku babadde bawakanya eky’okutondawo ekibuga ekimanyiddwa nga Telangana mu bukiikaddyo bwa Buyindi Ababaka abawera baddusiddwa mu ddwaliro nga bali bubi ate nga yye omubaka akoze kino ategerekese nga Rajagopal,awummuziddwa