Amawulire

Abasumba gwabasinga- Kkooti

Ali Mivule

February 19th, 2014

No comments

Kkooti enkulu eremezzaawo ekibonerezo ekyaweebwa abasumba abana abagambibwa okuwayiiriza musumba munaabwe Abasumba bano okuli Martin Ssempa, Michael Kyazze, Robert Kayiira ne  Solomon Male balagirwa okukola bulungi bwa nsi okumala essaawa 100 n’okusasula engassi ya kakadde kalamba lwakuwaayiriza omusumba Robert Kayanja nti asiyaga abalenzi abato. Ng’awa ensala […]

Abayizi be Kyambogo bazzeemu okwekalakaasa

Ali Mivule

February 19th, 2014

No comments

Poliisi ekozesezza omukka ogubalagala okugugumbulula abayizi be Kyambogo abakedde okuddamu okwekalakaasa. Abayizi bano bavudde mu mbeera oluvanyuma lw’okusanga ng’amannya gaabwe tegali kw’ago ag’abagenda okutikkirwa olunaku lw’enkya. Abayizi bano bategeezezza nga bwebamalayo ebisale byonna kyokka nga kibaweddeko okusanga nga tebassiddwa ku lukalala olusembayo. Abantu ku betwogeddeko […]

Okuddukirira obuganda- Enkola yiino

Ali Mivule

February 19th, 2014

No comments

Abaganda n’abaagaaliza obuganda ebirungi bajja kusobolanga okuyambako mu kubukulakulanya. Obwakabaka bwa Buganda olwaleero bukwataganye ne banka ya Centenary okutongoza enkola enasobozesa abantu okutoola nebawaayo okukulakulanya Obuganda. Mu nkola eno omuntu assa ssente ku akawunta ya Bugandaeri mu Centenary Bank era nga wano aba aliko ettofaali […]

Omu akwatiddwa nga Katatumba asengulwa

Ali Mivule

February 19th, 2014

No comments

Omuntu omu y’akwatiddwa wakati mu kugoba abapangisa mu kizimbe ekikayanirwa omubaka wa Pakistan mu uganda  Bonny n’omuyindi Shumuk Mukesh. Wabadde wakayita mbale nga kooti eddizza Katatumba ekizimbe kya  Katatumba  ekisangibwa ku luguudo colville  nate Mukesh Shukla afunye ekiragiro kya kooti ekirala ekikyediza Omuduumizi wa poliisi ya […]

Omusajja asse mutabani we

Ali Mivule

February 19th, 2014

No comments

Poliisi mu disitulikiti ye Manafwa ekutte omusajja wa myaka 56 lwakutta mutabani we wa myaka 16 gyokka. Akwatiddwa ategerekese nga Stanley Tikitiki omutuuka ku kyaalo Bumbo e Manafwa  Omwogezi wa poliisi mu bitundu ebyo Diana Nandawula agamba nti entabwe evudde ku nkayaana za ttaka Omwana ono […]

Abe Kyambogo beekalakaasizza

Ali Mivule

February 18th, 2014

No comments

Abayizi mu ttendekero e Kyambogo bavudde mu mbeera nebekalakaasa. Kivudde ku bayizi abagambibwa okuba basasula ebisale byonna naye ng’amannya gaabwe tegali ku lukalala. Abyizi bano abamu bategeezezza nga bwebagenda okugenda mu kooti okusaba nti okutikkirwa kw’abayizi kuyimirizibwe okutuusa ng’ebitategerekeka biweddewo. Akulira abayizi, John Mugabi agamba […]

Abavubuka ba NRM betemyeemu

Ali Mivule

February 18th, 2014

No comments

Abavubuka mu kibiina kya NRM beetemyeemu ku by’okuwagira pulezidenti museveni. Nga wakayita mbale ng’akulira abavubuka, Joseph Ssewava avuddeyo n’ategeeza nga bwebawagira museveni ate banne b’akulembera bamulumbye olw’okwetulikiriza n’aboogerera nga tebasazeewo Abakulembeze b’abavubuka okuva mu masekkati,buvanjuba n’obukiikakkono bbo bategeezezza nga bwebawagira Amama Mbabazi ku bukulembeze bw’eggwanga […]

Omubaka Tonny Kipoi agobeddwa mu palamenti

Ali Mivule

February 18th, 2014

No comments

Omubaka akiikirira abantu be Bubulo west mu palamenti Tonny Kipoi agobeddwa mu palamenti Akakiiko akabadde kanonyereza ku neeyisa ye nga kakulirwa, Fox Odoi kakasizza nti omubaka ono abuuse entuula 15 ezoogerwaako ssemateeka. Ono avunaanibwa n’emisnago gy’okulya mu nsi ye olukwe era nga kigambibwa okuba ng’ali […]

Emmundu ezzemu e South Sudan

Ali Mivule

February 18th, 2014

No comments

Okulwanagana kuzzeemu buto mu ggwanga lya South Sudan. Kuno kwekusoose bukyanga gavumenti n’abayekeera bassa emikono ku ndagano esaba nti okulwanagana kukome Okulwanagana kuno kutandikidde mu kibuga malakal kyokka nga buli omu anenya munne okutandika okulwana kuno Gavumenti egamba nti era okulwanagana kubaluseewo mu bibuga ebitali […]

Etteeka ku buseegu liyise- Teri kwambala nkunamyo

Ali Mivule

February 18th, 2014

No comments

Eteeka ku buseegu liyisiddwa. Omukulembeze w’eggwanga yalitaddeko dda omukono nga kati abanasasanya obuseegu bakukangavulwa. Kati anakwatibwa nga afulumya oba okwetaba  mu kusaasanya ebintu by’obuseegu wakusibwa emyaka 10 oba okusasula engassi ya bukadde 10. Ate bbo abakozesa obutambi n’ebifananayi by’obuseegu nga bateekamu abaana bakusibwa emyaka 15 […]