Etteeka ku bisiyaga limaze okuyita.
President museveni amaze okussa emikono ku tteeka lino erissaawo ekibonerezo ky'omuntu okusibwa obulamu bwe bwonna ssinga asingisibwa omusnago gw'okusiyaga.
Pulezidenti agambye nti kino akikoze oluvanyuma lw'okukakasa nti obusiyaga buva ku busiwuufu bwa mpisa sso ssi buzaale ng'abamu bwebaali bamutegeeza.
Pulezidenti agamba nti buli ggwanga lirina kyerikkiririzaamu nga kikyaamu eggwanga eddala okutunuulira eddala.
Ono agambye…
Abatuuze be Bukasa mu district ye Wakiso bazzemu okwekalakaasa lwanguudo mbi.
Bano bagamba bakooye okujukizanga abakulembeze baabwe okubayiira koolansi mu luguudo lwabwe nga baling abafuuyira endiga omulele.
Bagamba bizineesi zabwe tezikyatambula bulungi olw’enfuufu nga era baagala meeya wa Kira Town council Mamerito Mugerwa abadukirire.
Olunaku olwaleero omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni asuubirwa okuteeka omukono ku teeka erigufuula omusango okulya ebisiyaga mu Uganda.
Omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo ategezezza nga eteeka lino bwerigenda okutekebwako omukono mu maka g’obukulembeze bw’eggwanga Entebbe essaawa zigenda kubeera ttaano ez’okumakya.
Omukulembeze w’eggwanga yasooka kugaana kuteeka mukono ku teeka lino, n'alagira wabeewo okusooka okunonyereza okuva eri banasayansi ,era …
E Mayuge omuvubuka atemera mu gy’obukulu 20 akwatidwa lwakwekakaatika ku kaana akateneetuka.
Omukwate etegeerekese nga Moses Kamere omutuuze we Namakaakali, mu gombolola ye Imanyiro mu district yya mayuga.
Aduumira police ye Mayuge Sam Opira, agambye nti ono yakozesezza shillings Bitaano okulimbalimba akaana kano okukakana nga akakwakudeko ekya julayina.
Mukaseera kano ono akuumirwa ku police e Mayuge gyanava okuvunaanibwa…
Abantu 6 bafudde bafiiride mu kabenje akagudde ku luguudo oluvva e Mubende okuda e mityana.
Kano akabenje kagudde ku kyaalo Nakasozi ,emotoka ekika kya Fuso number UAM 183Y bweremeredwa okuwalampa olusozi neda emabega neyeeyiringula emirundi egisobye mu kkumi .
Aduumira police ye biduka e Mubede Alex Muramuzi atubuulide nti emotoka eno ebadde yeetisse birime nga egenda Kibuli,…
Abeekaalakaasi mu ggwanga erya Ukraine wetwogerera nga bamaze okwesogga agaali amaka g’omukulembeze w’eggwanga lino
Kiddiridde poliisi okugasuulawo ng’abantu bagisinzizza amaanyi
Abeekalakaasi bano tebannasalawo kuyingira mu ofiisi munda kyokka nga bebulunguludde amaka gano
Omukulembeze w’eggwanga lino Omwami Victor agamba nti ali mu limu ku mawanga agaliraanye Russia
Bboa baavuganya baasabye dda nti wabeewo okulonda ng’omwezi gwokutaano tegunnagwaako
Ab’amaggye g’eggwanga bagamba nti bakunyonyola ku buli kikumi kyebakozesaa mu lutalo oluli mu ggwanga lya South Sudan.
Kino kizze ng’amaggye gano gasaba obuwumbi 120 okuyambako mu bikwekweto e South Sudan
Omuduumizi w’amaggye g’eggwanga Gen Katumba Wamala agamba nti amaggye galumbiddwa emirundi mingi olw’okweremeza mu ggwanga lya South Sudan kyokka nga buli kimu kyakunyonyolwa
Katumba era agambye nti basanyufu…
Pulezidenti Museveni alagidde nti abantu bonna abesenza ku ttaka ly’amaggye e Nabugabo basasulwe obukadde butaano nga tebannasengulwa
Pulezidenti agamba nti tayagaala bantu kubonabona kyokka ng’ate ab’amaggye g’omu bbanga balina okutendekebwa
Pulezidenti obweyamo .yaabukoze ayogerako eri abantu mu magombolola ge Bukakata ne Maakungwe nga bino bisangibwa Nabugabo mu disitulikiti ye Masaka.
Pulezidenti eno yabadde agenzeeyo kulaba abatendekebwa mu nkola…
Owa polisi omulala afiiridde ku mulimu.
Kenneth Wagonda, abadde O.C wa police post ye Bukasa mu district ye Wakiso afudde oluvanyuma lw'akakeba ka ttiyagaasi okumutulikira mu kifuba.
Aduumira police ye Wakiso, Kituuma Rusoke agambye nti Wagonda abadde ku mirimu gya poliisi ng'aliko gw'agenda okukwata kyokka n'aseerera n'agwiira akakebe ka Ttiyagaasi akamutulikidde mu kifuba.
Bino bizze nga wakayita ssabiiti…
Kkooti erangiridde nti ebifo by’ababaka abana abagobwa mu kibiina kya NRM bikalu.
Bano era tebagenda kuddamu kukwata ku musaala nga n’akakiiko akalondesa kalagiddwa okutegeka okulonda mu bifo gyebava
Yye spiika wa palamenti omukyala Rebecca Kadaga alagiddwa obutaddamu kukkiriza babaka bano kuddamu kwetaba mu ntuula za palamenti.
Ebisaliddwaawo abalamuzi bano bisomeddwa Steven Kavuma.
Abalala kubaddeko Richard Buteera, Faith Mwondha ne…