Abayizi be Makerere abakwatibwa mu kwekalakaasa kyaddaaki bayimbuddwa
Bano basindikibwa e Luzira ku lw'okusatu ng ababalanga kwetaba mu lukungaana olumenya amateeka
Bano balabiseeko mu maaso g'omulamuzi Esther Nansambu abatadde ku mitwaalo 10 buli omu.
Students of Makerere University have been granted bail.
Abayizi bano beeyimiriddwa bayizi banaabwe abasabiddwa obukadde 10 ezitali za buliwo
Bano bakuddamu okulabikako mu kooti nga 26…
Baneekolera gyange abasoba mu 300 beebasenguddwa e nsambya nga kigambibwa nti ekifo kino kyaguliddwa omugagga Hassana Basajja Balaba.
Abagobeddwa beebatunda sayidi boodi, kabada n'ebilala ku luguudo lwe Gaba.
Abamu ku babazzi naababumba aboogedwako naffe bagamba nti baludde nga bawa obusuulu mu kitongole ky'eggaali y'omukkawabula nga tebavangayo kubalabula nga bwebagenda okubasengula
Bano bagamba nti bakedde kulaba bimotoka bi weetiiye…
Omuntu omu afiiriddewo mbulaga pikipiki ebadde ewenyuka obuweewo bw'emukoonye n'afiirawo.
James ow'emyaka 38 abadde yakava mu motoka ng'asala ekkubo piki w'emukoonedde.
Pikipiki eno teyimiridde.
Bino bibadde Rakai Bwanda
Mu ngeri yeemu era ki loole ekibadde kitisse kawo kikutte omuliro yyenna n'asirikka okufuuka evvu era ku luguudo lwelumu
Omukyala afumise owemyaka omukaaga ekiti mu mbugo.
Madina Nanangwe y'akutte omwana wa muggya we n'amusosonseka ekiti mu mbugo.
Omwana gw'akozeeko ekikolwa kino eky'ettima wa myaka 6 ng'ali mu kibiina kya kubiri ku ssomero lya Bulowooza primary school erisangibwa e Iganga.
Omukazi ono lumaze okukola kuno n'adduka ku poliisi n'awaaba ng;omwana ono bw'abadde asbezeddwaako
Omwana ono olumukebedde bausanzeemu ekiti era…
Abasibe mu kkomera lye Masaka olwaleero bavudde mu mbeera nebeekalakaasa olw'embeera mwebabaeera embi.
Bano era beemulugunya ne ku bbaga eddene lyebamaze ku alimanda.
Aduumira poliisi ye Masaka, Eddie Ssserunjogi agamba nti basazeewo okwongera ebyokwerinda ku kkomera okulaba nti abasibe bano tebatoloka.
Omwogezi w'amakomera Frank Baine agamba nti abasibe bano bandiba nga beekwasa nga bagaala kutoloka.
Mzee Amos Kaguta aziikibwa lunaku lwa nkya.
Kaguta ng'ono ye taata wa president museveni yafudde olunaku lwajjo ku ddwaliro lya International hospital mu kampala.
Omulambo gw'omugenzi guli Rwakitura olunaku lwaleero gyegusiibye ng'abantu bagulabako.
Okusabira omwoyo gw'omugenzi kwakutandika ku saawa 11 ez'okumakya kyokka ng'okuziika kwa ssaawa kkumi ez'owleggulo.
Wano ku Dembe FM tugamba nti Kitalo nnyo.
Poliisi erwanaganye nabatuuze be Kyakatebe ku luguudo lwe Mubende, abakedde okubba omwenge okuva ku ki loole ekyagudde mu kifo kino enkya ya leero.
Loole eno ebadde eva Mityana ku depot ya bbiya wa Nile, nga etwala kuleeti za bbiya ezisuka mu 2000 e Mubende ne mu byalo ebye njawulo.
Wabula e Kyakatebe ze mayiro nga abiri okutuuka…
Bawanyondo ba kooti nga bakuumibwa police enkya ya leero batandise okumenya amayumba ga batuuze e Mbuya ku ttaka erikyaaliko enkaayana eriri ku luguudo lwa ismail e Mbuya .
Obusolya obusinga bulitale nga babanyini mayumba gano bali mumaziga.
Kino kiwalirizza abamaka agawereredala 7 okwaaamuka ekifo kino wabula nga beebuza wa gyebagenda okudda.
Omu kubatuuze abakoseddwa Vincent Senfuka agamba nti…
Abayizi 18 abakwatibwa nga beekalakaasa basindikiddwa e Luzira
Omulamuzi wa kooti ya LDC, Esther Nansambu banoabasindie e oLuzira okutuusa ku lunaku lwa bbalaza
Wabula yye councilor, Bernard Luyiga bwebaali bakwtaiddwa yeeyimiriddwa ku mitwaalo kkumi
Bano baggiuddwakao misnago gya kwetaba mu kwekalakasa okumenya mateeka n’okwonoona ebintu by’abantu
Poliisi eyodde abantu 40 abagambibwa okuba abazigu
Bano bagyiddwa ku nguudo z’omu kibuga kampala okuli Nkuruma Road, Market Street, ne Nasser Road.
Aduumira poliisi ya CPS, James Ruhweza agamba ntio abakwatiddwa beebanyakula ensawo z’abakyala,n’okukozesa obutayimbwa okulumba ababa ku gaabwe
Ruhweza agamba nti ekikwekweto kyakugenda mu maaso.
N’abalala abali mu 30 bakwatiddwa mu biwkekweto ebikoleddwa mu Katwe