Amawulire
Gwebazaala n’obitundu ebyekyama 2 alongoseddwa
Omuvubuka eyazaalibwa n’ebitundu by’ekyama ebibiri kyadaaki alongoseddwa Isaac okuva e Jjinja yalongoseddwa abasawo ku ddwaliro lya International hospital mu kiro ekikesezza olunaku lwaleero. Omuvubuka ono ow’emyaka 26 afunye ky’aludde ng’asaba nga kwekufuuka omusajja omujjuvu Isaaca yava Jinja gyeyazaalibw an’ebitundu bibiri era ng’okuva olwo aboolebwa […]
Uhuru ye mukulembeze wa Kenya
Akakiiko akalondesa u ggwanga lya kenya kalangiridde Uhuru Kenyatta ku bukulembeze bw’eggwanga lino. Ono ye mukulembeze ow’okuna okukulembera Kenya ng’agenda mu kifo kya mwai Kibaki. Uhuru yafunye obululu 6,173,433 obuweza ebitundu 50.03 ku kikumi okuyitawo obutereevu. Odinga yafunye obululu 5,340,546 nga biweza ebitundu 43.28%. […]
10 battiddwa
Abantu 10 beebafudde omusajja atannategerekeka bwalumbye baala n’asasirira abantu amasasi. Omwenda bafiiriddewo mbulaga ate omulala n’afa nga batuuka egogonya mu ddwaliro Mu bafudde mwemuli Nanyini Baala ategerekesenga Maama Jackie, Sarah Akot, mukyala Odere, Private Kennedy, Isaac Osere, Musana n’abalala Abantu abalala 2 bakyajjanjabibwa mu ddwaliro […]
Basajjabalaba asindikiddwa e Luzira
Munnabyabusuubuzi Hassan Basajja Balaba asindikiddwa ku alimanda e Luzira Kiddiridde kooti ekola ku gy’obukenuzi okusazaamu okweyimirirwa kwe omusango gwe n’egusindika mu kooti enkulu. Basajjabalaba avuunanibwa wamu ne muto we Muzamir Basajjabalaba nga bano babalanga kwepema misolo, okujingirira ekiwandiiko kya kooti n’okukozesa ebiwandiiko ebikyaamu. Omulamuzi wa […]
Besigye, Muwanga Kivumbi bakwatiddwa
Eyali akulira ekibiina kya FDC, Dr Kiiza Besigye n’omubaka we Butambala Muwnaga Kivumbi bakwatiddwa Besigye akwatiddwa nkya ya leero nga yakafuluma amaka ge e Kasangati. Poliisi ng’eduumira Afande Chemonges temukkirizza yadde okumalako awaka we n’emuyoola Mu kadde kano akuumirwa ku poliisi y’oku luguudo lwe Kiira […]
Poliisi ezinze amaka ga meeya
Poliisi yeebulunguludde amaka ga loodi meeya Erias Lukwago. Kino kigendereddwaamu kumutangira kukuba lukungaana e Kawempe ng’eno nno olukiiko olwasooka okukubwaayo lwagwa butaka. Kigambibwa okuba nga poliisi eno ezze n’ekiwandiiko ekitegeeza meeya ng’ekifo w’abadde agenda okukuba olukungaana nanyini kyo bw’abadde tabawadde lukusa era nga yasabye […]
Baasi ezidda e Kenya ziyimiriziddwa
Nga Bannakenya bakyagenda mu maaso n’okulonda ,baasi ezigenda mu ggwanga lino ziyimiriziddwa okusabaaza abantu. kino kirese abantu abawera naddala abo abagenda okusuubula nga bataataganyiziddwa KKampuni nga Kampala coach, Elgon Flyer, Gaaga ne Kaliita zonna tezisabaaza bantu mu kadde kano Maneja wa Kaliita, Abdu Alodo ,bakuddamu […]
Mu Kenya kulonda
Okulonda mu ggwnaga lya Kenya kugenda mu maaso ng’abeesimbyeewo babiri bamaze okusuula akalulu. Kuno bano kwekuli Ssabaminista Raila Odinga okuva mu mukago gwa CORD ng’ono alondedde ku ssomero lya Kibera Primary school. Ng’ayogerako eri bannamawulire oluvanyuma lw’okusuula akalulu, Odinga agambye nti musanyufu olw’abantu abangi abajjumbidde […]
Mu Kenya Kulonda
Okulonda mu ggwnaga lya Kenya kugenda mu maaso ng’abeesimbyeewo babiri bamaze okusuula akalulu. Kuno bano kwekuli Ssabaminista Raila Odinga okuva mu mukago gwa CORD ng’ono alondedde ku ssomero lya Kibera Primary school. Ng’ayogerako eri bannamawulire oluvanyuma lw’okusuula akalulu, Odinga agambye nti musanyufu olw’abantu abangi abajjumbidde […]
Abe Makerere balonda
Abayizi mu ttendekero ekkulu e makerere batandise okulonda omukulembeze waabwe omuggya Akulira akakiiko akalondesa, Allan Akankwasa agamba nti okulonda kutandise ku ssaawa bbiri ez’okumakya era nga kukyatambula bulungi abayizi emitwaalo 40,000 beebasuubirwa okulonda ate ng’abayizi 8 beebali mu lwokaano. Kuno kuliko […]