Amawulire
Odinga gumumezza, Uhuru ye Mukulembeze
Kooti mu ggwnaga lya Kenya ekakasizza Uhuru Kenyatta ku bukulembeze bw’eggwnaga lya Kenya Abalamuzi omukaaga abatuula ku kooti ey’okuntikko mu ggwanga lino bagaanye eky’okuddamu okubala obululu oba okubugatta nga Raila Odinga bweyali asabye. Eky’okusasula Odinga olw’ensimbi z’atadde mu kuwaaba nakyo kigaaniddwa Ebisingawo mu […]
Ebola basattizza
Wabaddewo akasattiro ku ddwaliro e Mulago, omuntu agambibwa okuba n’obulwadde bw’ebola bw’afiiruidde e Mulagi Joseph Lukyamuzi mulenzi wa myaka 13 nga y’afudde nga yakatuusibwa ku ddwaliro e Mulago Omwana ono agyiddwa Katende Masaka ngasesema omusaayi ngafudde eddakiika 15 nga yakatuusibwa mu ddwaliro e […]
Bana battidwa
Kubadde kwazirana ng’abantu b’omuka agamu baziikibwa ku Kyaalo kasenyi mu kidistrict ye Isingiro Abana bano basasiriddwa masasi agabasse mu kiro ekikesezza olunaku lwaleero Abagenzi bategerekese nga Kiiza Mpindi ssemaka, Mwanyina ow’emyaka 80, Nakato Nansubuga, Mutabani waabwe Nantindi Sumaili n’omukozi w’awaka Suti Katongole […]
Ababaka beteemyemu
Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga beetemyeemu ku bukadde obutaano ez’ebbago ly’etteeka ly’amaka n’okwaukana Ababaka bonna bakuweebwa obukadde butaano oluvanyuma lwa president okulagira nti kibe ababaka okusobola okwebuuza ku balonzi ku bbago lino elisimbiddwa ennyo ekuuli bannadiini Abali ku ludda oluvuganya gavumenti kuno bakuyise […]
Amataba e Bwaise
Enkuba ekedde okutonya mu bifo ebyenjawulo erese edobonkanyizza emirimu mu biseera ebimu. Embeera ebadde yeemu mu bitundu ebisinga okukosebwa enkuba omuli kaleerwe ne bwaise. Omubaka wa Kawempe south sebuliba mutumba agamba nti omwaala gwomunsooba gutaakiriza kumbeera , abantu obutakosebwa nyo. Wabula mutumba agamba nti singa […]
Bucha zakuggalwa
Nga paasika ekubye koodi, ekitongole kya KCCA kyaakuggala emidaala gy’enyama ezitawandiisibwa mu mateeka. Kino kidiridde ekitongole kyekimu okuggala bucha 4 nga zino zasangiddwa n’enyama envundu. Amyuka ebikwekweto mu KCCA, Robert Kalumba agamba nti bategeezezza ku bucha ezimeruka era nga bakungaanya amawulire agamala okutandika ebikwekweto. Kalumba […]
Abe Kyambogo balonda
Abayizi mu ttendekero ly’e Kyambogo balonda leero omukulembeze waabwe. Okusinziira ku akulira akakiiko k’ebyokulonda ku ttendekero lino, Derrick Yiga, ebikozesebwa byonna bituuse mu budde. Yiga agamba nti baasabye abasirikale ba police abalala bongerwe ku ttendekero lino olw’okwewala obuvuyo bwonna. Okulonda kuno kutandise ku ssaawa 2 […]
Mugende mpola
Mufti wa Uganda sheikh shaban Mubajje asabye ababaka ba parliament bagende mpola ku tteeka erirungamya abafumbo erya marriage and divorce bill. Mubajje agamba nti etteeka lino likyalimu ebirumira bingi ebisaana okusooka okugonjoolwa. Mubajje okusaba kuno akukoledde Kamuli mu kulayiza district Kaddi omujja Ismail Kazibwe. […]
Gwebafumita ekiti mu mbugo ayambiddwa
Omwana ow’emyaka omukaaga eyafumitibwa ekiti mu mbugo afunye obuyambi. Nyina w’omwana ono omuto Madina Nanangwe yakwata ekiti n’akisindika mu bukyala bw’omwana ono n’amala nawaaba ku poliisi nga omwana bweyali asobezeddwaako. Ab’eddwaliro ekkulu e Kamuli bakwataganye ne plan Uganda okuyamba omwana ono okufuna obujjanjabi n’okulabirira omwana […]
Omulamuzi Byamugisha aziikwa ku Sande
Ekitongole ekiramuzi kironze omulamuzi Stephen Kavuma ng’amyuka ssabalamuzi ow’ekiseera oluvanyuma lw’okufa kwa Constance Byamugisha Byamugisha afudde enkya ya leero oluvanyuma lw’okumala akabanga ngatawanyizibwa ekirwadde kya kokoolo w’amabeera Zzo enteekateeka z’okumuziika nazo zimaze okufulumizibwa. omugenzi wakusabirwa olunaku lw’enkya ku ssaawa nnya ku Kkanisa ya Bajulizi e […]