Amawulire
Baddukiridde amasiro
Katikiro wa Buganda JB Walusimbi asabye abakulu b’ebika okukwongera okukunga bazukulu baabwe okusonda ensimbi ezokuzimba amasiro. Katikiro okwogera bino abadde asisinkanye ab’ekikka ky’efumbe abawaddeyo ensimbi obukadde 13 eri omulimu gy’okuzimba amasiro ge Kusubi. Katikiro agambye nti ensimbi yingi ezikyetagisa okudabiriza amasiro amalala nga age Wamala […]
Babasse
Abasajja abateberezebwa okubeera abazigu 2 bakubiddwa emiggo egibasse. Bano babatidde mu bitundu bye Bukoto Ntinda enkya ya leero. Ababiri bano babadde baliko omukyala gwebafera mu taxi ebadde ea e Ntinda okudda e Kigoowa Abafere bano babadde batambuliraa mu taxi number UAJ 352F […]
Basenguddwa ku ttaka
Abantu abasoba mu 100 beebasenguddwa okuva ku ttaka e Kiteredde mu district ye Mubende Ettaka lino lyebabaddeko kigambibwa okuba nga lyagulwa naaggagga agambbibwa okugula ettaka lino mu myaka gya 60 Amyuuka RDC wekitundu kino Nalongo Tinkamanyire agambye nti bakyayogeraganyaamyu nebekikwatako okulaba engeri gyebayinza okuyambamu abantu […]
Kiyongobero olw’omwana eyeetuze
A bayizi ba Brilliant high school bakyali mu kiyongoberwa olwa munaabwe eyetuze. Tutuseeko ku somero lino elisangibwa e Kazo ng’abayizi nabasomessa bakyali mu kiyongobero olwo muyizi wa siniya eyomukaaga okwetuga mu ngeri eyatategerekesse. Polisi ekyagenda mu maaso n’okunonyereza ku kiki ekyaviriddeko omwano ono okwetuga. Joseph […]
Beekalakaasa lwa kasasiro
Abasuubuzi abaddukanyiza egyaabwe mu katale k’omu Nyendo bakedde kweyiw aku makubo nga beekalakaasa lwa kasasiro. Embeera embi eluguudo lwe Nyendo -Kitovu nalypo bagamba nti luli mu mbeera mbi. Poliisi wabula yitiddwa bukubirire era n’ekuba omukka ogubalagala mu basuubuzi bano ababadde bamaze okussa emisnavu mu […]
Omulambo ku palamenti
Omulambo gw’abadde minister akola ku bigw abitalaze, Stephen Malinga gutuusiddwa ku lukiiko olukulu olw’eggwanga Guno gukwasiddwa amyuka spiika Jacob Olanya ne minister w’ebyokwerinda, Dr Crispus Kiyonga. Abantu abatali bamu okuli abakungu mu gavumenti, n’abalala omuli n’bantu ba bulijjo beebasuubirwa okukuba eriiso evvanyuma ku mugenzi […]
Bana balumiziddwa mu kabenje
Abantu 6 balumiziddwa mu kabenje akaguddewo amakya gaalero oluvanyuma lwa trailer okutomeragana na taxi ku luguudo oluva e Jinja okudda e iganga. Dereva wa Taxi number UAS 121 abadde agezaako okuyisa trailer KAV 900 x emmotoka nemulemerera n’eva ku luguudo neyevulungula enfunda eziwera. Aduumira police […]
Abazigu babayodde
Poliisi ekutte abasajja kkumi n’omu ababadde babba emmotoka n’e piki. Ekibinja kino ekikulemberwa, Ronald Kimera kyasangiddwa n’emmotoka mukaaga kko ne piki 17 Aduumira poliisi ye Katwe, Michael Mubangizi agamba nti bano beebamu ku gubinja ogunene ogukuba aba bodaboda obutayimbwa nebakuulita ne piki zaabwe. Bano nno […]
Omuyizi yeetuze
Poliisi etandise okunonyereza ku muyizi akedde okwetugira ku ssomero. Joseph Mukisa ng’abadde mu siniya y’omukaago yeyimbyeemu ogwa kabugu era ng’asnagiddwa ng’alengejjera ku muti mu ssomero. Omuyizi ono owa Brilliant High School e Kazo teknnategerekeka lwaki akoze ekikolwa kino kubanga tewali kabaluw akonna kamusnagiddwaako Omwogezi […]
Ababaka beebagobye bakuba bulatti
Ababaka abagobeddwa mu kibiina kya NRM bakubye ababakulira obulatti Ababaka bano bagamba nti eky’okubagoba tekigenda kumalawo bizibu bya kibiina okujjako okubisajjula Omu ku bano ye mubaka Mohammed Nsereko agamba nti ssi besoose okugobwa era nga bakutandika obulamu obulala yadde nga tayogedde oba anegatta ku […]