Amawulire
Omujaasi bamwokyezza
Omujaasi wa UPDF atiddwa lwankaayana za mukazi. Abantu abatanategeerekeka bakakanye ku private Kabali Muzafalu, nebamukuba mizibu noluvanyuma nebamwookya ku kyaalo Kasoozo village mu district ye Mityana yena nasigala vvu. Kigambibwa abantu abookezza omujaasi ono bakulembeddwamu Andrew Byamukama abadde alumiriza omujaasi ono okumwaagalira omukyaala. Aduumira police […]
Airtel eguze Warid
Terukyaali lugambo nti kampuni ya airtel eguze ginaawo wyamasimu eya warid telekom. Bharti Airtel kati yaakugatta ku bakistooma baaayo obukadde 4.6 , obulala 2.8 obwa warid okuweza obukadde 7.4 . Akulira ebyemirimu mu Airtel mu Uganda , Manoj Kohli, agamba kino kyebatuuseko kyaamanyi dala era […]
Bamugaanye okweyimirirwa
Kkooti y’amaggye etudde ku gombolola e Bombo egobye okusaba kw’okweyimirirwa okukoledddwa munaggye Private Patrick Okot. Bannamateeka be nga bakulembeddwaamu Capt Nasser Dravo enkya ya leero bakedde kusaba mu bigambo nti omuvunaanibwa ayimbulwe kubanga ddembe lye. Wabula ba memba ba kooti y’amaggye nga bakulembeddwaamu Brig Fred […]
Omujaasi bamulumirizza
Omusango oguvunaanibwa omujaasi eyatta abantu 10 e Bombo gwongezeddwaayo okutuuka olunaku lw’enkya Abajulizi bana beebareese obujuli okuli Ejan Poni, Lukia atima, Norah Alanya ne Sgt Godfrey Nyimarima. Nyimarina agamba nti nga March 8 , 2013 , bwe yali e Bombo, yawulira amasasi agavuga n’adduka gye gaali […]
Okulonda e Butebo
Enteekateeka z’okujjuza ekyabaddemu minister akola ku bigwabitalaze Stepen Malinga zitandise Akakiiko akalondesa kataddewo olunaku lwa nga 5 omwezi gw’okutaano okulonderako anamuddira mu bigere Okuwandiisa abagenda owkesimbawo kwakubaaow nga 13 ne 14 era nga buli kimu kyakumalawo obukadde 469 Akulira akakiiko akalondesa, […]
Afumise mukyala we ekiso
Omusajja asanze mukyala we ku ssimu ng’awaya n’omusajja omulala amufumise kiso Benah Nanduga musomesa yabadde ku ssimu ng’ayogera ne bba gw’ateberezza okubeera muganzi we Mwanyina, Richard Katamba agamba nti omusajja ono nno ssigwegusoose okulumba mukyala we
Babakubye amasasi
Amasajja 2 ababadde babba amafuta ga generator ku omulongooti gwa Warid bakubiddwa amasasi. Reagan Mulwana ne munne ategerekeseeko erya Mutyaba babadde bamaze okubba amafuta gano nga bagasse ku tippa DPC woluguudo lwe Kira Alex Endunyu agamba nti balai bategeezebwaako ku bbbabba amafuta nabo kwekuswaama […]
Amyuka meeya atutte musisi mu kooti
Obutakkaanya wakati w’oludda olwebyekikugu nabakulembeze abalonde mu KCCA kirabika byakugweranga mu kooti. Kuluno amyuuka lord mayor wekibuga kampala Suleiman kidandala awazewaaze akulira ekibuga mukyaala Jeniffer Musisi okutuuka mu mbuga zamateeka lwakulemererwa kuwa office ye nsimbi ziddukanya mirimu n’obutamusasula musaala gwekifo kyalimu. Kidandala agamba okulondebwa kwe kwakakasibwa olukiiko […]
Kyambogo ateese
Aduumira police mu kampala ne miriraano Andrew felix kawesi alagide bunambiro etendekero lye kyambogo okusazamu olukalala lwa abayizi 300 ababade balambikiddwa nga abataawa bisale Nga ayogerako mu lukungaana olubadde wakati wabayizi kko nabatwala etendekero lino , Kaweesi agambye nti etendekero lirina okwekebejja amanya gano nga […]
Abayizi e Kyambogo beekalakaasizza
Poliisi ekubye omukka ogubalagala mu bayizi be kyambogo ababadde beekalakaasa Bano nno babadde balumbye akola ng’amyuka akulira ettendkero era ng’emmtoka ye batandise okugiwandagazaako amayinja Obuizibu bwonna buvudde ku ttendekero kufulumya lukalala okuli amannya g’abayizi abagambibwa okuba nga tebannaamalayo bisale. Kuno kubaddeko n’abamalayo edda kko […]