Amawulire
Omulambo mu mwaala
Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze b’omu mayinja zooni ku kyualo Kitebi ekisangibwa mu divisoni y’e Lubaga, bwe bagudde ku mulambo gw’omusajja. Ono alabise nga muvubuka atemera mu gy’obukulu 24, omulambo gwe gubaddeko ebisago nga kirabika nti yakubiddwa n’oluvanyuma n’awalulwa nasuulibwa mu mufulejje. Akulira poliisi y’e Katwe , […]
Eyatta abe Bombo akwatiddwa
Omujaasi eyasasirira abantu 10 amasasi n’abatta akwatiddwa Private Patrick Okot agyiddwa mu district ye Oyam gy’abadde yekukumye Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwnaga Vincent Ssekate agamba nti basooka kuzuula ssimu ye n’emmundu mu bitundu bye Nyimbwa Luweero era nebatandika ekikwekweto. Sekate agamba nti omusajja ono […]
Kabaka anjagala awedde
Kampala capital city authority emalirizza enteekateeka z’okukola oluguudo lwa Kabaka Njagala. Oluguudo luno oluweza milo ennamba lukulu mu Buganda nga lugatta twekobe ku kitebe ky’obufuzi ekye Mengo Bulange. Oluguudo luno kati lwakutabuza emmotoka 2 omulundi gumu era ng’emiti gyakusimbibwa ku mabbali ne wakati […]
Omukazi yabibbwaako omwana
Eddwaliro lye Mulago lirebukaana na gwakubba mwana. Gorret Kajuma nga wa myaka 34 yazaalira ku kiso ng’ennaku z’omwezi 04 omwezi gwa December omwaka 2012 Bamulongoosa bulongoosa kyokka nga omwana we nebamutegeeza nti yafa kyokka nebatamuwa mulambo. Ekyewunyisa nti ate ebbaluwa eyamusiibula ng’eraga nti omwana we […]
Amaze n’olubuto emyaka 4
Omukyala amaze emyaka ena ng’ali lubuto asobeddwa ea ne mu kibira Omukyala ono okuva e kasese yafuna olubuto luno mu mwaka gwa 2009 kyokka nga negyebuli kati tasumulukukanga. Omukyala ono yeewuubye mu malwaliro naye nga talina kyafuna Ebisingawo mu mawulire gaffe agabaawo buli ssaawa
Eggulu likubye omwana
Enkuba eyamaanyi efudembye mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu erese bangi bagyevuma. E Ssembabule omwana ow’emyaka 10 akubidddwa eggulu elimulese ng’agongobadde Catherine Musimenta muyizi ku Kikondeka Priary school ng’ono akyajjanjabibwa. Catherine Musimenta muyizi ku Kikondeka Priary school ng’ono ajjanjabibwa Ssentebe we Kyaalo […]
Akabenje kasse 3
Abantu basatu beebafiiriddewo ekimotoka kilukululana bwekiremedde omugoba waakyo nekisabaala abantu Abalala abalala kkumi n’omu batwaliddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka Akulira poliisi ye kawempe Siraje Bakaleke agamba nti ekimotoka number UAK 801J kireemeredde omugoba waakyo nekiserengeta okuva ku luguudo lwa Sir APollo Kaggwa […]
Paapa ow’ebyafaayo
Eklezia Katolika esagambiza oluvanyuma lw’okufuna Paapa omuggya. Ono y’azze mu bigere bya Paapa Benedict owe 16 ng’amannya ge ye Yozefu Rasinger enzaalwa ya Germany, eyawumudde olw’obukosefu. Abadde Kalidinaali Jorge Mario Bergoglio enzaalwa ya Argentina, eggulo yalagiddwa namungi w’omuntu eyakungaanidde ku kibangirizi kya St. Peter’s Basilica […]
Paapa omupya: Francis I
Ono ye Paapa Francis I omupya kati akulembela Ekelezia Katolika munsi yonna.
Mukula ayimbuddwa
Eyali minista w’ebyobulamu era nga mubaka we Soroti Mike Mukula ayimbuddwa Ono agyiddwaako emisnago gy’okwezibika ensimbi mu mankweetu Omulamuzi wa kooti ekola ku gy’obukenuzi. David Wangutsi agambye nti obujulizi obwaleetebwa bwaali tebusobola kukozesebwa kusingisa mukula musnago gwa kwezibika nsimbi Mukula yali […]