Akakiiko akalondesa u ggwanga lya kenya kalangiridde Uhuru Kenyatta ku bukulembeze bw'eggwanga lino.
Ono ye mukulembeze ow'okuna okukulembera Kenya ng'agenda mu kifo kya mwai Kibaki.
Uhuru yafunye obululu 6,173,433 obuweza ebitundu 50.03 ku kikumi okuyitawo obutereevu.
Odinga yafunye obululu 5,340,546 nga biweza ebitundu 43.28%.
Akulira akakiiko akalondesa, Amb. Yusuf Nzibo agamba nti beetegerezza ebivudde mu kulonda okukakasa nti Uhuru…
Abantu 10 beebafudde omusajja atannategerekeka bwalumbye baala n’asasirira abantu amasasi.
Omwenda bafiiriddewo mbulaga ate omulala n’afa nga batuuka egogonya mu ddwaliro
Mu bafudde mwemuli Nanyini Baala ategerekesenga Maama Jackie, Sarah Akot, mukyala Odere, Private Kennedy, Isaac Osere, Musana n’abalala
Abantu abalala 2 bakyajjanjabibwa mu ddwaliro e bombo kyokka nga nabo bali mu mbeera mbi ddala
Amyuka omwogezi wa poliisi…
Munnabyabusuubuzi Hassan Basajja Balaba asindikiddwa ku alimanda e Luzira
Kiddiridde kooti ekola ku gy'obukenuzi okusazaamu okweyimirirwa kwe omusango gwe n'egusindika mu kooti enkulu.
Basajjabalaba avuunanibwa wamu ne muto we Muzamir Basajjabalaba nga bano babalanga kwepema misolo, okujingirira ekiwandiiko kya kooti n'okukozesa ebiwandiiko ebikyaamu.
Omulamuzi wa kooti ekola ku gy'abalabbayi, Irene Akankwasa y'asazizzaamu okweyimirirwa kwa Basajja bw'atyo n'amusindika e…
Eyali akulira ekibiina kya FDC, Dr Kiiza Besigye n'omubaka we Butambala Muwnaga Kivumbi bakwatiddwa
Besigye akwatiddwa nkya ya leero nga yakafuluma amaka ge e Kasangati.
Poliisi ng'eduumira Afande Chemonges temukkirizza yadde okumalako awaka we n'emuyoola
Mu kadde kano akuumirwa ku poliisi y'oku luguudo lwe Kiira e Kamwokya.
Yye omubaka Muwanga Kivumbi akwatiddwa bw'abadde agenze okukyalira loodi meeya Erias Lukwago…
Poliisi yeebulunguludde amaka ga loodi meeya Erias Lukwago.
Kino kigendereddwaamu kumutangira kukuba lukungaana e Kawempe ng'eno nno olukiiko olwasooka okukubwaayo lwagwa butaka.
Kigambibwa okuba nga poliisi eno ezze n'ekiwandiiko ekitegeeza meeya ng'ekifo w'abadde agenda okukuba olukungaana nanyini kyo bw'abadde tabawadde lukusa era nga yasabye obukuumi bw apoliisi.
Wabula yadde guno bweguli, Lukwago agamba nti tewali kigenda kumulemesa kuuba…
Nga Bannakenya bakyagenda mu maaso n'okulonda ,baasi ezigenda mu ggwanga lino ziyimiriziddwa okusabaaza abantu.
kino kirese abantu abawera naddala abo abagenda okusuubula nga bataataganyiziddwa
KKampuni nga Kampala coach, Elgon Flyer, Gaaga ne Kaliita zonna tezisabaaza bantu mu kadde kano
Maneja wa Kaliita, Abdu Alodo ,bakuddamu okukola nga bamaze okukakasa embeera mu ggwanga lino
Bbyo ebyokwerinda binywezeddwa e Mombasa oluvanyuma…
Okulonda mu ggwnaga lya Kenya kugenda mu maaso ng'abeesimbyeewo babiri bamaze okusuula akalulu.
Kuno bano kwekuli Ssabaminista Raila Odinga okuva mu mukago gwa CORD ng'ono alondedde ku ssomero lya Kibera Primary school.
Ng'ayogerako eri bannamawulire oluvanyuma lw'okusuula akalulu, Odinga agambye nti musanyufu olw'abantu abangi abajjumbidde okulonda okwetoolola eggwnaga lyonna era ng'olunaku luno lukulu nnyo eri bannakenya.
N'omukyala mu…
Okulonda mu ggwnaga lya Kenya kugenda mu maaso ng'abeesimbyeewo babiri bamaze okusuula akalulu.
Kuno bano kwekuli Ssabaminista Raila Odinga okuva mu mukago gwa CORD ng'ono alondedde ku ssomero lya Kibera Primary school.
Ng'ayogerako eri bannamawulire oluvanyuma lw'okusuula akalulu, Odinga agambye nti musanyufu olw'abantu abangi abajjumbidde okulonda okwetoolola eggwnaga lyonna era ng'olunaku luno lukulu nnyo eri bannakenya.
N'omukyala mu…
Abayizi mu ttendekero ekkulu e makerere batandise okulonda omukulembeze waabwe omuggya
Akulira akakiiko akalondesa, Allan Akankwasa agamba nti okulonda kutandise ku ssaawa bbiri ez'okumakya era nga kukyatambula bulungi
abayizi emitwaalo 40,000 beebasuubirwa okulonda ate ng'abayizi 8 beebali mu lwokaano.
Kuno kuliko Munna FDC Anne Odeke, Owa UPC Caucus Okello, Boniface Oketta owa NRM ne Martin Ssegawa owa DP.
Okulonda…
Omulambo gw'abadde amyuka katikiro asooka era nga ye minister w'ensonag z'amawnaga ga East africa Eriya Kategeya gusuubirwa akadde konna mu ggwanga
Omwogezi wa gavumenti Mary Karooro Okurut agamba nti nga gwakatuuka gwakutwalibwa e Mulago gwekebejjebwe .
Olunaku lw'enkya gwakuleetbwa mu palamenti abantu bagukubeko eriiso evvanyuma n'ababaka okusiima emilimu gy'akoledde eggwanga lino.
Ku lunaku lw'okusatu,…