Amawulire
Gwebanyiga ebbeere mu kooti
Akulira abakyala mu kibiina kya FDC Ingrid Turinawe olutalo lwokumunyiga amabeere alututte mu kooti. Ono awaabye aduumira poliisi mu kampala n’emiriraano Andrew Felix Kaweesi ng’ayagala amusasule obukadde bitaano. Turinawe agamba nti ekikolwa kino kyamuswaza eri bba n’abaana be. Ono era ayagala Kaweesui ayogere mu lujjude […]
Temulinnyisa Bisale
Abagoba ba taxi balabudde ku kuwanika ebisale by’entambula. Kiddiridde baasi za pioneer okuggyibwa ku makubo olw’amabanja gebalian eri ekitongole ekiwooza ekya Uganda revenue authority. Aba taxi bagufudde mugano ng’olunaku lwaleero enguudo zonna ezibaddeko baasi ebisale byongezeddwa Abe Luzira obwedda basasula shs 2500 okuva ku lukumi […]
Ebbula ly’amazzi
Amazzi gafuuse otuzzi e jjinja. Ekidomola ky’amazzi mu kadde kano kya lukumi era ng’ebirabo by’emmere ebisinga bimaze okuggalwaawo. Ebbula lino livudde ku masanyalaze okuvaako ku kyuuma ekikulu ekikulu. Wabula aba water bagamba nti bakola kyonna ekisoboka okutaasa embeera
Omwana asirikidde mu muliro
Omwana ow’emyaka 2 n’ekitundu esirikidde mu muliro ogukutte enyumba mu kibuga kye Kasese. Omwana ono Andrea Ashavin afiiridde mu muliro. Taata w’omwana ono, Conrad Muhindo agamba nti yakumye akasubbaawo n’afuluma okufuna eky’okulya kyokka nga kyamujje enviiri ku mutwe okuwulira ng’abantu bagamba nti waliwo enyumba ekutte […]
Kadaga yekubye endobo
Spiika wa palamenti omukyala Rebecca Kadaga yekubye endobo ku bya palamenti okukoma okunonyereza ku mivuyo mu ofiisi ya ssabaminista Kadaga mu bbaluwa gy’awandikidde ab’akakiiko akanonyereza aka PAC, Kadaga agambye nti yye yayimiriza bantu babiri okulabikako mu kakiiko sso ssi kunonyereza kwonna Akulira akakiiko kassiano Wadri […]
Baasi za Pioneer tezikyatambula
Bannakampala abakozesa baasi za pioneer bubakeredde. Baasi zino ziwambiddwa lwabutasasula misolo. Ab’ekitongole ekiwooza ekya URA bagamba nti kkampuni ya pioneer bagibanja obuwumbi 8 mu misolo. Baasi zino ezibadde zakaweza omwaka bukyanga zitandika zibadde ziyambyeeko ba mufuna mpola okutambulira ku beeyi ensaamusaamu
Sijja kusirika-Niringiye
Omusumba Zac Niringiye alayidde obutasirika ku nsonga z’obuli bw’enguzi. Niringiye abadde azzeeyo ku poliisi ye Wandegeya ku misnago gy’okukuma mu bantu omuliro n’okutambuza ebya kalebule. Ono agambye nti olutalo nguzi lunene nnyo era nga lwetaaga bantu bagumu nga yye. Wabula yenyamidde olw’obutaggulwaako misango mu kooti […]
Namukadde akutte omwana
Omusajja ow’emyaka 85 kata agajambulwe abantu ababadde bataamye obugo lwakukwata bbujje. Namukadde Eliphaz Kigozi omwana gw’akutte wa kibiina kya kubiri. Ono nno ebbujje alilimbye ne shs kikumi z’amuwadde okumugulira sigala kyokka ng’asigadde amugoberera. Omwana ono bw’atuuse mu nsiko n’amugwiira era bwatyo n’amusobyaako. Omusajja ono abantu […]
Asse omwana
Abatuuze b’omu kabuga k’e Kamuli n’abayizi mu ssomero lya St. Theresa baabunye entiisa mmotoka bwe yatomedde omuyizi n’afiirawo. Akabenje kaagudde ku Baligeya Road mmotoka bwe yatomedde omuyizi Jackie Khauda abadde asoma mu kibiina eky’okutaano, eyabadde agenda awaka ng’ava ku ssomero . Abayizi abalala abassomera mu […]
Atemyetemye nyina
Poliisi e Kanungu ekutte omuvubuka wa myaka 20 lwakutta nyina Ono ekimuggye mu mbeera ttaka Omuvubuka ono ategerekese nga Tito Safari, nga mutuuze we Kyandago mu district ye Kanugu nyina omutemyetemye okutuusa lw’amusse. Omuvubuka ono kitaawe yafa era nga buli lukya abadde apeeka nyina amuweeko ettaka […]