Amawulire
Lunaku lwa Kondomu
Lunaku lwa bupiira bukali mpitawo mu nsi yonna. Yadde abamu babukozesa, abalala beekwasa ebintu bingi omuli n’eky’okuba nti bubasiiwa Ate abalala bagamba mbu tebanyumira kigwo nga babwambadde era nga kino kyekisinga okweralikiriz abali mu byobulamu. Akulira ekibiina ekigatta abasawo mu ggwanga Dr Magaret Mungherera wano […]
Tumukunde talina musango
Oludda oluwolereza Brig Henry Tukunde lwongeddwaamu amaanyi. Munnamateeka ow’erinnya Macdusman Kabega olwaleero yegasse Oscar Kambona mu kufundikira omusnago guno. Kabega agambye nti tewali nsonga lwaki Tumukunde avunaanibwa kubanga mu biseera ebyo buli kyeyayogera yakikola mu kitiibwa kye ng’omubaka wa palamenti Kyokka era Kabega agamba nti […]
Loodi meeya yejeeredde
Loodi meeya wa kampala, Erias Lukwago agyiddwaako emisango gy’okukuma mu bantu omuliro ku byokwekalakaasa kwa 2009. Okwekalakaasa kuno kwaddirira gavumenti okugaana ssabassajja kabaka okugenda mu ssaza lye elye Kayunga Omulamuzi Eliana Khainza agambye nti Lukwago emugyeeko emisnago oluvanyuma lw’oludda oluwaabi okulemererwa okuleeta yadde omujulizi omu […]
Ebya Tumukunde bikaaye
Abawagizi b’eyali akulira ekitongole ekikessi Brig Henry Tumukunde bagumbye ku kooti y’amaggye enkya ya leero. Bano bagamba nti omuntu waabwe aluddewo nnyo okusalirwa . Basoose kubagaana kuyingira mu kooti kyokka nga bamaze nebabakkiriza okuyingira wakati mu by’okwerinda kasiggu. Tumukunde avunaanibwa kwogera bigambo biseketereera gavumenti bweyali […]
Abayizi 5 bakwatiddwa
Katemba ku ttendekero e Makerere tanaggwa. Abayizi bataano bakwatiddwa bwebabadde bagezaako owkekalakaasa enkya ya leero. Abayizi bano bawakanya enkola ya university eragira buli muyizi okusasula ebitundu 60 ku buli kikumi ku fiizi. Abakwatiddwa bayizi abakola amateeka. Bbyo ebibiina ne ofiisi ezisinga ku ttendkero lino bikyaali […]
Kasooli azadde leenya
Omusajja eyabba kasooli wa mutuuze munne mu nnimiro asaliddwa gwakulongoosa. Juma tenywa yakwatidwa lubona n’eminwe gya kasooli 20 gyeyali akudde mu nnimiro ya Lastin Oketcho. Omulamuzi Grace Alum, amusalidde ekibonerezo kya kumala emyeezi ebiri ng’ayera enguudo ze Budondo. Ono nno teyegaanye misnago kyokka ng’asabye ekibonerezo […]
Ebikwekweto ku batembeeyi
Aba Kampala capital city authority ng’eri wamu ne poliisi emenye obuyumba obwazimbibwa okumpi ne Arua Park. Obuyumba obumenyeddwa mubaddemu aba Mobile money, abatunda emmere nga n’abe bigaali tebabatalizza. Ekikwekweto ekibadde kikulembeddwaamu, aduumira poliisi mu Kampala n’emiriraano, James Ruhweza n’abakwasisa amateeka mu KCCA. Mu kiwekweto kino […]
NRM yeesomye ku Nebanda
Ab’ekibiina kya NRM baanirizza ebyavudde mu kulonda kwe Butalejja . Bano bagamba nti basanyufu nti yadde abavuganya baboogeredde ebigambo bingi, omuntu waabwe yasobodde okuwagula Omwogezi w’ekibiina kino Mary karooro Okurut asuubizza ng’ekibiina kya NRM bwekitagenda kuyiwa bantu be Butalejja Nebanda yawangudde n’obululu 27,388 nga yaddiddwaako […]
Nebanda awangudde
Munna NRM Andiru Florence Nebanda awangudde akalulu ke butalejja okudda mu bigere bya baaba we Cerinah Nebanda Munna NRM yawangudde n’obululu obuweza mitwaalo ebiri mu kasanvu ate ng’owa FDC yavuddeyo n’obululu enkumi ssatu. Abawagizi ba Nebanda ekiro kyonna basuze bajaguza nga bakuba embuutu n’okuzina akadodi […]
Paapa alekulidde
Abakristu mu Uganda beekanze olw’amawulire g’okuekulira kwa paapka Benedicto owe 16. Paapa ono ayogeddeko eri abakristu mu nsi yonna okusinzira e Vatican nga bw’agenda okulekulira ku nkomerero y’omwezi guno Paapa ono ow’emyaka 85 tekinnategerekeka lwaki alekuliddde kubanga mu byafaayo abasing bazze bafa bufi Paapa ono […]