Akatale ka USAFI kassibwaawo okuzzaamu abatembeeyi abagobwa ku makubo.
SSalongo Erias Lukwago agamba nti ettaka okuli akatale kano liriko enkayaana okuva ababiloole lwebagobwaawo nagagga Kassim Ssessimba
Abasuubuzi bbo bajja beeyongera okwettanira emidaala nga gwafuuse dda mugano eri aba Boda abakozeewo edda siteegi.
Abantu 16 bafunye ebisago bya maanyi mu kabenje akagudde e Busega.
Akabenje kano keetabidddwaamu motoka pickup double cabin ne’kimotoka kya canter.
Abakoseddwa bonna bava mu maka gamu nga babadde bagenda mu kyaalo.
Omu ku bafuney ebisago, Amina Namuddu agamba nti dereeva wa canter emmotoka emulemeredde okukkakkana ng’ayingiridde double cabin yaabwe
Mu bali mu mbeera embi ddala kuliko Ramallah Nagayi,…
Poliisi emalirizza okusengula abantu abaali besenza ku ttaka ly’ekitongole ky’eggaali y’omukka
Bano babadde bamazeeko emyaka egisoba mu esatu era nga bangi ddala bava mu maka agasoba mu 100
Akulembeddemu omulimu gw’okubasengula, Moses Kirunda ategeezezza nga bano bwebabanabidde mu maaso oluvanyuma lw’okutegeera nti batandise okweyita ba nnanyini.
Wabula abasenguddwa nabo bagamba nti tebaweereddwa budde bumala guva ku ttaka lino…