Bya Prossy Kisakye
Obwakabaka bukoze omukago n’ekitongole ekirwanisa endwadde z’emitima ekya Health Hearts Foundation, n’ekigendererwa ky’okukolera awamu okulwanisa z’omutima mu bantu ba kabaka.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yatongoza omukaga guno nasaba abantu okufa ku bulamu bwabwe nga basosowoza eby’obulamu.
Mungeri yeemu Katikkiro asabye abantu okwegendereza ennyo ebintu bye balya okugoba endwadde nyingi omuli ne z’omutima.
Ssenkulu wa…
Bya Damali Mukhaye,
Nampala wa gavumenti Ruth Nankabirwa agambye nti akakiiko akafuzi akekibiina ekiri mu byinza aka central Executive Committee (CEC) kakutuula balonde omuntu agenda okuvuganya kuntebbe yobwa sipiika bwa palamenti
Mu kwogerako ne bannamawulire ku palamenti, Nakabirwa, agambye nti ababaka bonna abali ku kaada ya NRM abegwanyiza ekifo kino bazooka kuyita mu kakunnunta ka CEC mwebalonda…
Bya Benjamin Jumbe
Abantu 7 ku buli bantu 10, nga bakola 68% baali basubidde nti okulondsa kwa bonna okuwejja kujja okugobererwa ddukaddulka nokulwanagana.
Kino baali bagamba nti kijja kuva ku gwebawangudde obutakiriza ebivudde mu kulonda.
Bino bijidde mu alipoota empya eya AFRo-BAROMATER oluvanyuma lwokunonyereza kwebakola wakati wa Decemba ku nkomerero yomwaka oguwedde nemu January 2021, ngokulonda tekunaberawo.
Omukwanaganya wemirimu…
Bya Ruth Anderah
Abalamuzi ba kooti ensukulumu 9, nga bakulembeddwamu Ssabalamuzi we gwanga Alfonse Owiny-Dollo wiiki eno baakuwa ensonga zaabwe, zebesigamako okukiriza akulembera ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu, okujjayo omuwasngo gwebyokulonda.
Kitegezeddwa nti ennamula eno yakuweebwa ku lunnaku olwokuna, ssi lwaleero nga bwekyasoose okulagibwa.
Mu musango guno Kyagulanyi yali yawawabira Yoweri Museveni owa NRM, akakiiko kebyokulonda ne…
Bya Damalie Mukhaye
Abasomesa ku ttendekero ekkulu, Makerere University betemyemu ku nsonga zakediimo kaabwe kebalangirirra.
Eno abamu basomesa atanga abalala bagenda mu maaso nekyalangirirrwa ekibiina ekibagatta, okuteeka wansi ebikola.
Omwezi oguwedde abasomesa bonna mu matendkero ga gavumenti aga waggulu bateeka wansi ebikola, okutuusa nga gavumenti ebsasaudde ssente zaabwe obuwumbi 129, eze nyongereza ku msala gyabwe nga bwekyakanyizbwako.
Wabula abakulu…
Bya Ruth Anderah,
Kkooti enkulu mu Kampala egobye okusaba kwa bawagizi be kibiina ki NUP 49 abaali bawakanya ekyokubawozesa mu kkooti ya maggye
Omulamuzi Esta Nambayo ategezeza nti Ali Bukeni alias Nubian Li, Eddie Ssebuufu alias Eddie Mutwe ne banabwe abalala bavunanibwa mu mateeka mu kkooti ya maggye e makindye kuba basangibwa ne byokulwanyisa
Okulamulakwe akwesigamiza ku…
Bya Benjamin Jumbe,
Gavumenti esabidwa okwanguyirizako okuyisa ebbango lye tteeka erikwata ku mmere ne ndya erya food and nutrition bill okusobola okunogera eddagala ekizibu kye byokulya ebitali ku mutindo.
Omulanga guno gukoleddwa ekibiina kyobwannakyewa ki PELUM Uganda omwegatira ebibiina byobulimi mu ggwanga, oluvanyuma lwa Kenya okusooka okuwera kassoli alimibwa wano olwomutindo omubi.
Mungeri yemu abalimi okuva Adjumani ne…
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina kye byóbufuzi ekya Democratic Party kilaze obwenyamivu kungeri ebbanja lya Uganda gye lyeyongedde okukula
Bano bagamba nti ensimbi Uganda zeyewola emitala wa mayanja ne mu banka za waka lisuse obwomulamuzi.
Okusinzira ku banka ya Uganda enkulu, mu mbalirira ye ggwanga eri mu bubage eyomwaka gwe byensimbi ogujja ebbanga lya Uganda lyakweyongera okutuuka ku busse…
Bya Rita Kemigisa,
Poliisi ezzemu ne kwata senkagale wekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi bwabadde atwala ekiwandiiko eri omuddumizi wámaggye Gen David Muhoozi ne minisita owe byokwerinda nga yemulugunya ku bawagizi abawambibwa
Mu lukungana lwa bannamawulire lwatuziza enkya ya leero Kyagulanyi asoose kulangirira nga bwagenda okutwala ekiwandiiko kino eri Omuddumizi wa maggye nga ayagala abantube bayimbulwe yonna gye…
Bya Prossy Kisakye,
Akakiiko ka palamenti akakola ku mbalirira yeggwanga kafumuudde minisita we byensimbi Matia Kasaija oluvanyuma lwokulemererwa okulaga ebiwandiiko ebikakasa ensimbi obukadde 130 obwa doola zebagala okubaweebwa ngenyongeza mu mbalirira.
Ensimbi zino zakuliyirira bannyini ttaka ewagenda okuyita omudumu gwa mafuta, okugula emigabo 15% mu kampuni ya mafuta eya East African Oil company
Wabula bwalabiseeko eri akakiiko Kasaija…