Bya Ritah Kemigisa
Akulembera NUP Robert Kyagulanyi Sentamu olwaleero aliko olukalala olulala lwafulumizza lwabantu 423 bagamba nti babuzibwao, era tebamnyikiddwako mayitire.
Olunnaku lwe ggulo minisita wensonga zomunda mu gwanga Jeje Odong, yabadde alaze olukalala lwabantu 177 eri palamenti nategeeza nti abasing bakyakumibwaku kambi yamagye e Makindye ku misango egyenajwulo.
Wabula aolukalala luno ababaka baluwakanyizza, nga nebibalo byabadde tebigatta.
Kati…
Bya Ruth Anderah
Kooti ensukulumu etulako abalamuzi 9, ngekubirizibwa Ssabalamui we gwanga Alfonse Owiny-Dollo bakirizza akulembera ekibiina kua NUP, era eyvuganya ku bukiulembeze bwe gwanga Robert Kyagulanyi Ssentamu okujjayo omusango gwabadde yawaaba.
Mu musango guno Kyagulanyi abadde awakanya ebyava mu kulonda kwa bonna okwanga 14 January 2021, Museveni bweyalondebwa ku kisanja ekyomukaaga.
Kati ssabalamuzi agambye nti kooti yakulamula…
Bya Daily Monitor
Abakozi b’oku Radio 4 era bakazanyirizi, Bizonto bazeemu nebakwatibwa.
Abakwate kuliko Mercel Mbabali, Simon Peter Ssabakaki, Julius Sserwanja ne Gold Kimatono baali bakwatibwa mu July womwaka oguwedde 2020 olwemizannyo gyabwe, abobuyinza gyebagamba nti jisiga obukyayi nokwawulayawula mu bantu.
Kati omwogezi wekitebbe kyaba mbega e KIbuli Charles Twine, akakasizza nti bazeemu nebakwatibwa, era bagenda kusimbibwa mu…
Bya Prosy Kisakye
Ba kansala abakiika ku lukiiko lwa Munisipalai ye Nansana bagobye ekiwandiiko ekireteddwa ssentebe w’akakiiko k’ebyensimbi, ekibadde kiraga emisolo egigenda okugerekebwa mu mwaka gw’ebyensimbi 2021/22.
Patrick Kalema ayagala bayise emisolo gino, olwogitekebwe mu Mbalirira egenda okusomwa wabula bakansala okubadde Kiyita Daniel Mivule, Balinya Husein nabalala kyebawakanyizza.
Abakiise bawakanyizza omusolo guno nga bagamba nti gunyigiriza omuntu wa…
Bya Juliet Nalwoga ne Ritah Kemigisa
Ab’ekibiina kya National Unity Platform bategezezza nti tebamatidde nolukalala, lwabanatu ababuzibwawo abebyokwerinda olwalagidwa palamenti olunnaku lwe ggulo.
Bano bagamba nti bakyalina bibuuzo bingi ku nsonga eno.
Olunnaku lwe ggulo minisita owensonga zomunda mu gwanga Jejje Odongo daaki yalaze olupapula oluliko abantu 177 nebibakwatako, okuli emisango egyabakwsa na wa webali.
Wabula omwogezi wekibiina kya…
ByaRita Kemigisa,
Minisita avunanyizibwa kunsonga ezomunda mu ggwanga Jeje Odongo kyadaaki aleese lisiti ya bantu abawambibwa abebyokwerinda mu biseera bya kulonda.
Lisiti eriko abawambe 177 era abasing obungi baggalirwa mu barracks ya maggye e Makindye.
Olukalala luno lulaga erinnya lyomuwambe, olunaku lwebamuwamba, gye bamuwambira ensonga eyamuwambya ne gyakuumirwa.
Minisita Odongo mu kwanja olukalala lwa bawambe eri ababaka ba palamenti…
Bya Benjamin Jumbe,
Abakugu mu byokunonyereza ku byenfuna balaze obwelalikirivu kungeri embalirira ye nsimbi zebitongole ebyenkizo gyeyasalidwamu.
Kino kidiridde gavt okukendeza ensimbi eri ekitongole ekye byobulamu ne kye byenjigiriza mu mbalirira eri mu bubage.
Bwabadde ayogerera mu lukungana olwokukubaganya ebirowoozo kunsonga za bantu ebenkizo mu ggwanga, akulira ekitongole ki Economic Policy Research Centre, Dr Ibrahim Kasirye agambye nti…
Bya Ivan Ssenabulya,
Omwami wa Kabaka mu ssaza lye Kyaggwe Elijah Bogere Lubanga ali mu kattu oluvanyuma lw’abakulembeze ku mitendera egyawansi okwekobana ne batunda ettaka lya Ssabasajja.
Bino webijidde ngettaka lye’Kitawuluuzi ku kyalo Kasana ka Musisi mu gomboloola ye Kasawo mu district ye Mukono, lyabaluseeko enkayana.
Ssekiboobo agambye nti yekubidde enduulu emirundi mingi mu bakamaabe, okuyita mu kitongole…
File Photo: Kadaga mu palamenti
Bya Moses Ndaye,
Ababaka mu lukiiko lwe ggwanga olukulu basabiddwa okwanguyirizako okukola ennongosereza mu tteeka lya Bayinginiya basobole okulwanyisa abafere aberimbika mu mulimo gwabwe
Minisita omubeezi owebye mirimu Peter Lockeris agambye nti mu tteeka lino gavt yakusobola okuwanirira bayinginiya bonna okukola omulimo gwabwe nobukugu
Bino abyogedde ali ku mukolo ogwokukuza olunaku lwabayinginiya munsi yonna…
Bya Prossy Kisakye,
Poliisi mu disitulikiti yé Sheema eriko abantu 4 betadeko obunyogoga ku bigambibwa nti babadde begumbulidde omuze ogwokutunda eddagala lye bisolo effu.
Abakwate kuliko Tumwebaze Eldad, Wilson Kafeero, Kakuru Denis ne Olive Kafeero.
Bano okukwatibwa kyadiridde ekitongole ekivunanyizibwa ku bye ddagala mu ggwanga ekya national drug authority okufuna okwemulugunya okuva mu balunzi ku ddagala erye biccupuli…