Bya Shamim Nateebwa,
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atongoza olukiiko lwa bantu 5 olugenda okukulemberamu okuteekateeka amazalibwa ga Ssabasajja Kabaka ag’omulundi ogwa 66 ag’okukuzibwa nga 13 Kafuumulampawu omwaka guno.
Olukiiko olutongozedwa lukulirwa Owek Prosperous Nankindu Kavuma, amyukibwa Owek Hajji Hamis Kakomo, omuwandiisi ye Josephine Nantege Ssemanda ate Owek Dr Richard Kabanda ne ssetebe wa bavubuka ba…
Bya Prossy Kisakye,
Eyavuganya kuntebe eyomukulembeze weggwanga mu kalulu akakagwa John Katumba avudeyo nategeza nga bwagenda okugenda mu kkooti awawabire ssabapoliisi nga agamba nti ye yamuvirako obutayitamu.
Ono mu kwogerako ne bannamawulire mu kampala, ategeezeza nti ebikolwa bya poliisi okumutekako obukambwe obusukiridde ekyamuvirako nobutatuuka mu bifo ebimu okwogera na balonzi be kye kyamuvirako obutawangula Entebbe yobwa pulezidenti.
Katumba…
Bya basasi baffe
Ekibiina kya NRM kiwangudde ebifo byonna 5 ebyababaka babavubuka mu palamenti, oluvanyuma lwokulonda okwabaddewo olunnaku lwe ggulo.
Olunnaku lwe ggulo abavubuka abali mu 7000 bebetabye mu kulonda kuno mu bitundu bye gwanga ebyenjawulo.
Mu kusooka Phionah Nyamutoro yeyawangula ekifo kyomubaka wabavubuka omuwala.
Kati okuva mu kulonda kwe ggulo owa NRM Agnes Kirabo yawangudde Ivan Bwowe nobululu…
Bya Ritah Kemigisa
Ennyonyi ya Uganda Airlines, kika kya Airbus A330 neo eyokubiri, amakya ga leero etuuse mu gwanga.
Ennyonzino Airbus bbiri, zitunuliddwa, zezigenda okusabaza abantu okubatwala mu bibuga ebinene ebiri ku mutendere gwensi yonna.
Ennyonyi eno bajituumye Mt Rwenzori, eyaniriziddwa ssabaminisita we gwanga Dr Ruhakana Rugunda ngekoleddwako omukolo gwamazzi okujaniriza.
Kati minisita webyentambula Gen Katumba Wamala agambye nti…
Bya Juliet Nalwooga,
Poliisi egamba nti ekizudde nti obubaka obusasanidde emikutu egyomutimbagano nga butiisatiisa bannauganda bwe busindikibwa bannauganda abali emitala wa mayanja
Obutambi bwa vidiyo obugambibwa okuba nti busasanyizibwa bawagizi ba kibiina kya NUP, butegeeza bannauganda nga bwebalina okugula emmere bagiteke mu mayumba gabwe kuba ngennaku zomwezi 3rd ne 7th February tebalina kuva mu maka gaabwe kuba…
Bya Prossy Kisakye,
Okulonda kwa 2021 kwogedwako nga okutalimu mazima na bwenkanya yadde nga abamu bakulaba nga okwali okwemirembe
Bino bifulumidde mu alipoota etuumiddwa engeri okulonda okwakagwa gye kwakosamu obwenkanya ne nfuga eyamateeka.
Alipoota eno ekoledwa ekibiina kya bannamateeka ki Legal Aid service providers Network (LAPSNET).
Bwabadde afulumya alipoota eno akulira ekibiina kino Sylvia Namubiru, agambye nti okulonda kuno…
Bya Ruth Anderah
Akulembera ekibiina kya NUP era eyavuganya ku bukulembeze bwe gwanga Robert Kyagulanyi Ssentamu atusiizza omusango gwe, ngawakanya okulondebwa kwa Yoweri Museveni owa NRM ku bukulembeze bwe gwanga.
Kyagulanyi awakanya ebyalangirirwa akakiiko kebyokulonda nti Museveni yawangulira ku 58.38% yye nafuna 35.08.
Mu bimu ku biwandiiko omuli empaaba yaabwe, Kyagulanyi awawabidde Yoweri Museveni, akakiikokebyokulonda ne ssabawolereza wa…
Bya Barbra Nalweyiso
Abavubuka okuva mu masekati ge gwanga, abakunganidde ku ttendekero lyabasomesa erya Mubende National Teachers College bavudde mu mbeera nebawakanya ssente emitwalo 53 egyabawereddwa okubayambako ennaku 3 zenagenda okumala eno, mu kulonda kwabavubuka.
Bano bagamba nti ssente zino ntono nnyo, waula kibakubye wala akakiiko kebyokulonda ate okubategeeza nti bagenda kubasasula mu bitundutundu.
Bano okwemulugunya baakutadise lunnaku…
Bya Ivan Ssenabulya
Gavumenti erabudde bann-Uganda abatekateeka okugenda mu muggalo, wakati wennaku zomwezi 3 ne 7 February 2021, nga bawakanya okulolendebwa kwa Yoweri Museveni, nga bangi balumiriza nti okulonda kwalimu okubba okutabangawo.
Bino webijidde ngamwulire gano gagenze gasasana ku mikutu muyunga bantu, nokusaba abantu bonna basigale awaka mu mirembe wabula nokulabula eri abo abanajja ku nguudo nokukola…
By Ritah Kemigisa
Akulembera ekibiina kya NUP era eyavuganya ku bukulembeze bwe gwanga Robert Kyagulanyi awandiise ebbaluwa eraga okwemulugunya kwe eri ab’omukutu gwa NBS TV, ngabalumiriza okwetaba mu bubbi obwetobeka mu kulonda kwa bonna.
Agambye nti mu mawulire gebalaganga ku lunnaku lwokulonda ne nnaku ezadirirra, bafulumyanga ebibalo ebikyamu, ebitalaga wonna webyali biva nti Yoweri Museveni yakulembedde natuuka…