Bya Benjamin Jumbe
Omubaka we Bulisa, Stephen Mukitale alabudde nti emboozi yokwongeza ssente zokugulira ababaka mmotoka, egedereddwamu kubajja ku mulamwa.
Kio kyadiridde minisita webyensimbi Matia Kasaija okutegeeza nti bali ku muyiggo gwa buwumbi 165 eri palamenti eyomulundi 11, okugulira ababaka mmotoka nabakulembeze baayo aba waggulu.
Mu mbalirirra etanabeera yankomeredde oba Budget Frame Work Paper, buli mmotoka yomubaka yakuwemmenta…
Bya Ndhaye Moses
Minisitule yebyobulamu egamba nti wadde olukiiko lwaba minisita lwayisizza ekitees, okugula ddagala erigema ssenyiga omukambwe COVID-19, bakyalina amakubo agenjawulo gebalina okuyitamu okufuna ssente ezetagisa obukadde $ 164 okusubola okutuusa eddagala mu gwanga.
Wiiki ewedde gavumenti yalangiridde nti eddagala erigema COVID-19 lyakutuuka mu gwanga wakati wa April ne May omwaka guno, ngabantu obukadde 9 bebalubiridde…
Bya Abubaker Kirunda,
Omuntu omu afiiridde mu lutalo olubadde olwókulwanira omuwala.
Bino bibadde ku kyalo gana Bwigangane ekisangibwa mu gombolola ye Kasokwe mu disitulikiti eye Kaliro.
Omugenzi ategerekese nga Livingstone Kyakobere nga mutuuze we Bwigangane.
Okusinzira ku sentebe wekitundu kino Henry Wakaisuka, ono olumaze okuttibwa omulambo gusuuliddwa mu kisiko
Ono yalumbidwa ekibinja kya bavubuka mu makage nga bamunenya okwagala omuwala…
Bya Prossy Kisakye,
Abatuuze okuva mu Town Council y’e Kayabwe mu disitulikiti y’e Mpigi beraliikirivu olw’abatuuze bannaabwe ababuzibwawo entakera olw'ensonga ezitannamanyika.
Bano nga bakulembeddwamu Hassan Kasujja ng’ono avuganya ku kifo kya Meeya wa Kayabwe Town Council era nga talina kibiina.
bategeezezza nti kumpi buli lukya wabaawo omuntu abuzibwawo naye ng’ab’ebyokwerinda tebavangayo kunnyonnyola.
Kasujja agamba abasinze okukwatibwa be bavubuka abawagira…
Bya Benjamin Jumbe ne Juliet Nalwooga,
Omukulembeze weggwanga YK Museveni eranga ye ssabaddumizi weggye lye ggwanga erya UPDF akalatidde abakikirira amaggye mu palamenti abalondebwa olunaku olweggulo okuteeka essira kunsonga ssemasonga 7 eziri mu manifesto ya NRM
Muno mwemuli okukola enguudo, okutumbula ebyobulamu ne byenjigiriza, okwongeza emisaala gya bannasayansi ne birala.
Bino yabyogedde ayogerako eri akakiiko akatwala eggye lye…
Bya Ivan Ssenabulya,
Senkagale wekibiina kya National Unity Platform, Robert Kyagulanyi asabye abakulembeze abakalondebwa okuyita ku kaada ye kibiina kye okuba obumu
Ono agamba nti olugendo lwenkyukakyuka tanaluvako wabula nga kibetagisa okusigala obumu okulugusa
Kyagulanyi sabye abakulembeze okuzaamu abalonzi babwe amaanyi nga babaliisa enjiri eyenkyukakyuka
Bino abyogedde bwababadde asisinkanye abakulembeze abasoba mu 700 abawangula akalulu ku kaada ya NUP…
File photo: Owe byokulonda mu NRM
Bya Ndaye Moses,
Akakiiko ke byokulonda mu kibiina kya NRM kasambaze ebigambibwa nti obuvuyo obweyorekera mu kamyufu ke kibiina bwebwavaako NRM obutafuna buwagizi bungi mu kulonda kwa bonna
Okusinzira ku sentebe wa kakiiko kano Dr. Tanga Odoi, abantu 2171 bebetaba mu kamyufu ke kibiina ku kifo kyobubaka bwa palamenti
501 kubbo bategeeza nti…
Bya Ruth Anderah,
Akulira ebyobulamu mu disitulikiti eye Kotido,Dr Phillip Olinga avunanibwa omusango ogwokwezibika obukadde bwe nsimbi 46 ezamuweebwa okutegeka emisomo gya basawo egikwata ku kizaala ggumba.
Dr. Olinga bwalabiseeko mu masso gomulamuzi Sarah Namusobya owa kkooti ewozesa abalyake yegaanye emisango egimusomedwa
Oludda oluwaabi lugamba nti Dr. Olinga omusango yaguza nga November/2014 ne March 2015 e Kotido.
alagibwa okudda…
Bya Prossy Kisakye,
Abakyala abesimbewo mu bifo ebyobukulembeze mu kulonda kwomulundi guno tebasobola kutuusa ddoboozi lyabwe eri abalonzi olwa kampeyini ezakolebwa mungeri ya sayansi
Bino bifulumidde mu alipoota ekoledwa ekibiina ki Collaboration on International ICT Policy for East and Southern Africa (CIPESA) ngeno yakolebwa nékigendererwa ekyokumanya abakyala abali mu byobufuzi engeri gyebakozesamu emikutu egyomutimbagano ne ngeri abantu…
File Photo: Mayega nga yogera
Bya Shamim Nateebwa,
Katikkiro wa Buganda Charles Peter mayiga, asabye olukiiko oludukanya ettendekero erya buganda royal institute okwetanira technologia aliko okusobola okutuusa obwetaavu bwa bayizi.
Bino abyogeredde ku matikira gábayizi ku ttendekero lino agomulundi ogwekumi ne taano era nasaba abayizi okuteka ebibasomesebwa mu nkola
Mungeri yemu Mayiga ajjukiza bannauganda okwongera okuwuliriza abakugu byebawabula mu…
