Bya Ivan Ssenabulya,
Senkagale wekibiina kya National Unity Platform Robert Kyagulanyi mukakafu nti bannauganda bakukolera wamu okwetakuluzako gavumenti ya NRM.
Kyagulanyi akalambidde nti yeyawangula akalulu kobwa pulezidenti akaliwo nga 14th January 2021 wabula obuwanguzi bwe bwamunyagibwako.
Ono agambye nti yadde nga bakyagenda mu maaso nokwebuuza eri abakulembeze be kibiina wabula akkiriza nti kooti eramula amazima ye munnauganda.
Akakiiko ke…
Bya Magembe Ssabiiti ne Abubaker Kirunda,
Akulira okulonda mu district ye Mubende Kunihira Christine alangiridde Eng Innocent Ssekiziyivu ku kifo kya mayor wa Mubende municipality ng’ono afunye obululu 5786 nadirirwa Natigo Geoffrey afunye obululu 5196.
Eng Ssekiziyivu atubulidde nga essira bwagenda okuliteka mu kulakulanya ekibuga omuli okukola enguudo, okuyoola kasasiro, okutumbula eby’obulamu ne byenjigiriza saako okusikiriza bamusiga nsimbi…
Bya Benjamin Jumbene Prossy Kisakye,
Omukulembeze weggwanga Yoweri Museveni alabudde bannauganda okwewala obuvuyo
Mu kwogerako eri eggwanga nga asinzira ku mikolo egya mmenunula egyomulundi ogwa 35 egikwatiddwa mu makage e Entebbe, Museveni AGAMBYE NTI gavt tegenda kugnya muntu yenna kutiisatiisa bannauganda yadde okuleetawo embeera eya kavuyo.
Akinoganyiza nti omuntu yenna anagezako okuleta esagaliko wakwejusa ekyamuzaza
Mungeri yemu museveni avumiridde…
Bya Shabibah Nakirijja, Derek Kissa, Barbra Nalweyiso, Malikh Fahad
Abantu bakyakungaanye mu weema, mu bungi wali e Kololo ku tally center, ekifo awabalirwa obululu.
Abamu abakalangirirwa, owa NUP Paul Mugambe alangirirddwa kubwa meeya wa divison ye Nakawa.
Ono awangulidde ku bululu emitwalo 3 mu 2,754 ngadirirrwa owa NRM Buruhan Byaruhanga afunye obululu emitwa 2 mu 671.
Mu gombolola yamasekati…
Bya Malikh Fahad
Akulira ebyokulonda mu disitulikiti ye Kalungu Anne Namatovu olwaleero agenda kuddamu okubala obululu ku kifo kyomubaka wa palementi, owa Kalungu East.
Eno minisita webyobulimi, obuvubi nobulunzi Vincent Ssempijja yawangulwa owa NUP Francis Katabaazi mu kulonda okwaliwo nga 14 January.
Omulamuzi wa kooti e Masaka Charles Yeteise yeyalagidde okubala obululu kudibwemu oluvanyuma lwomusango ogwatwaliddwayo minisita Ssempiija…
Bya Ruth Anderah
Kooti enkulu eragidde, abasirikale abaagumba mu maka ga Robert Kyagulanyi bagamuke mbagirawo nebitundu awo ebirinanyewo.
Kyagulanyi eyevuganuya ku bukulembeze bwe gwanga mu kalulu akawedde, eddembe lye libadde lyalinyirirrwa okusinziira ku kooti, era bubadde busibe.
Ono yasemba okuva mu maka ge e Magere ku lunnaku lwokulonda nga 14 January, okuva olwo abasirikale babadde tebamuganya kufuluma, okubadde…
Frank Muhereza
Famile ya Owobusobozi Bisaka abadde akulira enzikiriza ya Faith of Unity daaki bakaksizza okufa kwe.
Okufa kwa Bisaka kubadde kwawulirwa dda wonna, wabulanga abantu be babadde bakyelemye okukakasa amwulire gano.
Kati akulira ebymwulire mu diini eno Omukwenda Turyamureba akakasizza akawungeezi akayise, wabula awatabadde kulaga ebisingangawo ebikwata ku kufa kwe.
Turyamureba agambye nti omulambo gwa Bisaka gugenda kuletebwa…
Bya Benjamin Jumbe
Gavumenti ya NRM etegezezza nti ddala yewaddeyo okulwanyisa obwavu mu bantu.
Bino webijidde ngebibalo biraga nti bann-Uganda bagenze baddyo mu bwavu mu kabanga akayise.
Ebibalo okuva mu kitongole kya Uganda Bureau of statistics biraga nti obwavu mu gewanga bweyongedde okuva ku 19.7 % nga bwegwali mu mwaka gwebyensimbi 2012/13 kankano okudda ku 21.4% mu 2016/2017,…
Bya Gertrude Mutyaba
Empologoma ya Buganda, Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 atenderezeza emirimo amakula omusumba we Masaka eyawummula, John Baptist Kaggwa.
Omusumba Kaggwa agalamiziddwa mu seminary e Bukalasa mu disitulikiti ye Kalungu, ngobukaba bwomutanda bumusomeddwa Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga.
Kululwe Katikiro Mayiga alaze obuvumu obubadde
bukozesebwa omusumba KAGGWA obutabademu kyekubira, wakati mu kwogerera abanyigirizibwa nokulyowa emyoyo.
Omukolo guno…
Bya Ruth Anderah
Omusajja aliko obulemu bwobutawulira addukidde mu kooti enkulu mu Kampala, ngayagala eyise ekiragiro ekiyimiriza okulonda kwa kansala omusajj owabaliko obulemu, mu disitulikiti ye Luwero okugenda okuberawo nga 27 February 2021.
Mu mpaaba ye gyeyatadde mu kooti, Herbert Ssekabira agamba nti bamujja mu lwokaano, akakiiko kebyokulonda wabula mungeri emenya amateeka.
Kino agamba nti kyakolebwa ssentebbe wakakiiko…
