Bya Gertrude Mutyaba,
Omulabirizi wa West Buganda Henry Katumba Tamale asabye banna Uganda okwagala ennyo obuwangwa bwabwe.
Katumba asinzidde ku lutikko e Kitovu mu kusabira Omugenzi eyali omusumba we Masaka John Baptist Kaggwa naagamba nti okusosola mu mawanga kyekisinze okuleeta obuzibu mu ggwanga.
Ono era asabye banna byabufuzi okukomya omuze ogw'okweremeza mu bukulembeze balekere n’abalala bakulembere.
Omumyuka w'omukulembeze we…
Bya Ivan Ssenabulya,
Senkagale wekibiina kya National Unity Platform Robert Kyagulanyi aka Bobi Wine ategezeza nga abawagizibe abasoba 3000 bwebatamanyidwako mayitire
Kyagulanyi alumiriza abakuuma ddembe okuwamba abantu bano bwewali wasigadeyo ennaku mbale okulonda kubeewo
Mu kwogerako ne bannamawulire olunaku lweggulo Kyagulanyi yategezeza nti abatwalibwa mu kkooti batono nyo kwabo ababuzibwawo
File Photo: Abayizi be makerere nga bekalakasa
Bya Damali Mukhaye,
Akakiiko kavunanyizibwa ku byensoma mu ggwanga aka National Council for higher education kalabudde amatendekero agawaggulu okwewala okudamu okusomesa abayizi ngómukulembeze weggwanga tanabakkiriza
Okusinzira ku bbaluwa ewandikibwa akulira akakiiko kano prof Mary Okwakol agambye nti abafunye abakulu ba matendekero bangi nga basaba bademu okusomesa abayizi nga bagamba nti betegese…
Bya Benjamin Jumbe,
Minisita avunanyizibw akunsonga zomukulembeze weggwanga Esther Mbayo naye ekya NRM okuwangulwa mu bitundu bya Buganda akitadde kwe ekelezia katolika nobwakakabaka bwa Buganda
Bwabadde ayogerako ne bannamaulire ku bikwata ku mikolo egya mmenunula egyomulundi ogwa 35 egiberawo buli nga 26th January Mbayo agambye nti abakungu mu gavt ya ssabasajja ne ssabasumba Dr Cyrian Kizito LWanga…
Bya Prossy Kisakye,
Ekelezia katolika eyogedde ku mugenzi eyali omusumba we ssaza lye Masaka eyawumula, John Baptist Kaggwa, ngómusajja abadde akyókulabirako mu kubulira enjiri ya kristu songa abadde ayagala nyo e mirembe.
Omusumba kaggwa yassa omukka ogwenkomerero ku lunaku olwokusatu olwa ssabiiti eno era nga yafa kirwadde kya covid-19.
Bwabadde mu kusabira omwoyo gwómugenzi wali ku lutiko e…
Bya Ruth Anderah,
Kooti etuula ku City Hall mu kampla eyongezaayo omusango gw’okulya munsi olukwe oguvunanibwa Lt Gen Henry Tumukunde okutuuka nga 17 February 2021,
Omulamuzi we ddaala erisooka Valerian Tuhimbise agambye nti ku lunnaku olwo, lwajja okulamula omusango gwono mwayagalira okuwuliriza emisango ejimuvunanibwa kuyimirizibwe.
Tumukunde avunanibwa okulya munsi olukwe n’okusangibwa n’ebyokulwanyisa mu bukyamu.
Emisango yajizza nga 5 March…
Bya Prossy Kisakye,
Poliisi e Mukono etandise okunonyereza ku butemu nokubba omwana ebyakolebwa mu gombolola ye Nama.
Okusinzira ku berabideko nagaabwe, omugenzi ye Nakiguli Carolyn, ngóno yattiddwa nomwana we bweyabadde agenze okusenya enku na baana be babiri.
Kigambvibwa nti bano battugiddwa Anita Harriet 30 ate omwana omulala yakuulita naye.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya kampala ne miriraano, Patrick…
File Photo : Tumukunde ngali mubyambalo by majje
Bya Ruth Anderah,
Henry Tumukunde, eyavuganya ku bukulembeze bwe gwanga alangiridde nti agenda mu kooti okuwakanya ebyava mu kulonda kwa bonna, okwaliwo nga 14 Janary 2021.
Bino abitegezezza bannamawulire, bwabadde yeyanjudde ku kooti ya City Hall ku misango gye egy’okulya mu nsi olukwe.
Tumukunde agambye nti ali mu ntekateeka ey’okuddukira mu…
Bya Ivan Ssenabulya ne Rita Kemigisa,
Lord Mayor wa Kampala Eriasa Lukwago asuubiziza okuba engabo ya banaku mu kampala
Bino abyogedde amangu ddala nga yakalangirirwa ku buwanguzi ku kifo kyobwa loodi meeya bwa kampala mu kulonda okwabadeyo olunaku lweggulo.
Lukwago, yeyamye okuwereza bannakampala na ddala abo abanaku banyigirizibwa
Lukwago alangiriddwa ku buwanguzi, bwamezze banne abalala11 bwebadde mu lwokaano.
ono awangulidde…
Mityana:
Akulira ebyokulonda mu distulikiti ye Mityana Steven Makubuya amakya ga leero alangiridde Patrick Mugisha Nshimye owa NUP nga ssentebbe wa distulikiti ye Mityana.
Ono awangulidde ku bululu emitwalo 4 mu 3,703 ngowa NRM abadde ssentebbe wa distulikiti eyo Joseph Luzige yafunye obululu emitwalo 2 mu 1,216.
Abdul Muyimbwa yakutte kifo kyakusattu nobululu 3,382.
Distrulikiti ye Mityana erina amagombolola…
