Amawulire
Ekitongole ekiramuzi kyetaaga abalamuzi mu kkooti ento abasoba mu 2000
Bya Mike Sebalu, Ssabalamuzi wa Uganda Alfose Owiny Dollo agamba nti ng’esiga eddamuzi lyetaaga abalamuzi abali ku daala lya Court Ento 2000 n’abalamuzi abawaggulu 150 ekizibu ky’obungi bw’emisango egitudde nga tegiwulirwa bwekiba nga kinanogerwa edaggala. Kino kijidde mu kiseera ng’olunaku lwa ggyo President Museveni yalonze […]
Omulimo gwókuzimba Fulayiova mu Kampala gwakugwa mwaka gujja
Bya Prossy Kisakye, Ekitongole ekivunaanyizibwa ku nguudo mu ggwanga ekya Uganda National Roads Authority-UNRA kyongezaayo obudde bw’okumalirizako omulimu gwókuzimba Kampala flyover okutuuka omwaka ogujja mu mwezi ogwokusatu 2023. Okusinziira kwakulira ekitongole ya UNRA Allan Kagina, flyover eno ebadde yakumalirizibwa mu mwezi ogujja ogwa December kyokka […]
Abagezesebwa mu busawo bayimiriza akeediimo kabwe
Bya Mike Sebalu, Abasawo abali mu kugezesebwa okuva mu butendeke obw’enjawulo wansi w’ekibiina ekibagatta ki Federation for Uganda Medical Interns balangiridde nga bwebayimirizza okwekalakasa kwokuteeka wansi ebikora kwebabaddemu okumala ennaku 9. Okediimo kano bakatandika 06/11 okwetoloola amalwaliro ga Gavumenti mu Uganda yonna. Bano bateeka wansi […]
Gavt efulumiza kalenda yébyensoma omwaka 2023-2024
Bya Damali Muhkaye, Minisitule y’ebyenjigiriza efulumizza kalenda y’ebyenjigiriza eyomwaka 2023-2024 egenda okugobererwa amatendekero gonna aga pulayimale, siniya n’ebyemikono okwetoloola eggwanga. Bwabadde afulumya kalenda eno mu maka gomuk weggwanga e Nakasero, Dayirekita owebyenjigiriza ebyawamu Ismail Mulindwa agambye nti abayizi bagenda kuddamu ttaamu esooka omwaka ogujja mu […]
Sipiika asabye Gavumenti kutteeka lya Banka zóbusiraamu
Bya Prossy Kisakye, Sipiika wa palamenti Anita Among asabye gavumenti okwanjulira palamenti mu wiiki bbiri, ennongoosereza mu tteeka erifuga bbanka z’obusiraamu okukkiriza enkola y’obusiraamu ey’okutereka mu bbanka okuteekebwa mu nkola mu Uganda. Kino kiddiridde omubaka wa Bukooli Central, Solomon Silwanyi okutegeeza nti palamenti ey’ekkumi yayisa […]
Gavt eleeta etteeka kungeri yókufunamu ettaka
Bya Benjamin Jumbe, Gavumenti eyolekedde okuleeta ebbago ly’etteeka erikwata kungeri omuntu gyalina okufunamu ettaka mu bbanga eritali ly’ewala. Bino byogeddwa minisita ow’ebyettaka Persis Namuganza, bwabadde aggulawo olukung’aana lweggwanga olw’ettaka olw’omulundi ogwókubiri olwa National Land Forum 2022 olutandise mu Kampala olwaleero. Mu kusooka gavumenti yagezaako okutaganjula […]
Minisita atangaziza ku kiragiro kya pulezidenti ku butale
Bya Prossy Kisakye, Minister wa Kampala Minsa Kabanda azeemu nakinogaanya nti essaawa eno obutale bwonna 16 mu Kampala teri musubuzzi akkirizibwa kusasula nsimbi eri abo ababadde beeyiita abakulembezze babwo. Kabanda bwabadde mulukungana lwamawulire akawungezi kaleero ku office ye mu Kampala ategeezeza abannawulire nti Pulezidenti yalagira […]
Abébyenjigiriza bakulwanyisa ebirowoozo ebingi mu bayizi
Bya Rita Kemigisa, Minisitule eby’enjigiriza ng’ekolaganira wamu ne Government ya Norway, balina enteekateeka eteekawo enkola egenda okulwanyisa ebilowoozo mu baana b’amasomero okwetoloola eggwanga. Kiddiridde omuwendo abaana b’amasomero abafa nga betuga okweyongera okwetoloola eggwanga lyonna. Bw’abadde atongoza enkola eno mu Kampala, Christian De Luca okuva mu […]
Abatuuze kibawedeko bwebagudde kuntaana 5 ezabbiddwamu obuwanga
Bya Abubaker Kirunda, Ensisi ebutikidde abatuuze ku kyalo Bugoto A mu gombolola y’e Bukaboli e Jinja bwe bagudde kuntaana 5 ezabiddwamu obuwanga bwa bafu. Mustafa Mulyalya omutuuze mu kitundu kino ategeezezza nti omugenzi omu yali yafa emyaka amakumi abiri egiyise. Mulyalya agamba nti abatuuze baatiisiddwa […]
Ebibiina byábakozi bigobye Sentebe Wilson Owere
Bya Damali Mukhaye, Ebibiina by’abakozi okwetoloola eggwanga bigobye abadde mukama wabwe Wilson Owere ng’abamulumiriza obutaba na busobozi bubakulembera. Okumugoba mu ntebe wekigidde nga olunaku lweggulo kkooti yayisiza ekiragiro ekilemesa olukiiko tabamiruka olwe kibiina omwegatira abakozi mu ggwanga okutuula. Omumyuka wabadde Ssentebe wekibiina kya NOTU, Stephen […]